Febwali 6-12
ISAAYA 47-51
- Oluyimba 120 n’Okusaba 
- Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera) 
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
- “Okugondera Yakuwa Kivaamu Ebirungi”: (Ddak. 10) - Is 48:17—Okusinza okw’amazima kwesigamye ku kugoberera bulagirizi obuva eri Katonda (ip-2-E 131 ¶18) 
- Is 48:18—Yakuwa atwagala nnyo era ayagala tunyumirwe obulamu (ip-2-E 131 ¶19) 
- Is 48:19—Obuwulize buvaamu emiganyulo mingi (ip-2-E 132 ¶20-21) 
 
- Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8) - Is 49:6—Mu ngeri ki Masiya gy’ali “ekitangaala eri amawanga,” wadde nga bwe yali ku nsi yabuulira mu Isirayiri mwokka? (w07 4/1 5 ¶9) 
- Is 50:1—Lwaki Yakuwa yabuuza Abayisirayiri nti: “Ebbaluwa ey’okugattululwa gye nnawa nnyammwe gwe nnagoba eruwa?” (it-1-E 643 ¶4-5) 
- Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa? 
- Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza? 
 
- Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Is 51:12-23 
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
- Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa, era oluvannyuma lwa buli vidiyo mukubaganye ebirowoozo. Mu Febwali, ababuulizi bayinza okugaba brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! 
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
- Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 7) Oba oyinza okwogera ku by’okuyiga ebiri mu katabo Yearbook. (yb16-E 144-145) 
- Beera Mukwano gwa Yakuwa—Gondera Yakuwa: (Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Beera Mukwano gwa Yakuwa—Gondera Yakuwa. Oluvannyuma, mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino: Nsonga ki esinga obukulu etuleetera okugondera Yakuwa? (Nge 27:11) Abaana bayinza batya okugondera Yakuwa? Abantu abakulu bayinza batya okugondera Yakuwa? 
- Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv sul. 7 ¶10-19, akas. ku lup. 81 
- Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3) 
- Oluyimba 105 n’Okusaba