LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Febwali lup. 1
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ZUUKUKA!
  • YIGIRIZA AMAZIMA
  • AMAWULIRE AMALUNGI OKUVA ERI KATONDA (fg)
  • TEGEKA ENNYANJULA YO
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Febwali lup. 1
Mwannyinaffe omutiini ng’ayogera eri bayizi banne

Mwannyinaffe omutiini ng’ayogera eri bayizi banne

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

ZUUKUKA!

Zuukuka! Na. 1 2017 | Abavubuka—Kiki Ekibaviirako Okwennyamira?

Ekibuuzo: Lipoota ziraga nti omuwendo gw’abavubuka abennyamivu gweyongedde nnyo. Olowooza ekizibu kino kiyinza kunogerwa kitya eddagala?

Eky’okugaba: Akatabo kano kalimu amagezi agasobola okuyamba abavubuka okwaŋŋanga ekizibu ky’okwennyamira, era n’engeri bazadde baabwe gye basobola okubayamba.

YIGIRIZA AMAZIMA

Bayibuli embikkule

Ekibuuzo: Olowooza kiki ekisobola okuyamba abafumbo okufuna essanyu mu bufumbo bwabwe?

Ekyawandiikibwa: Bef 5:33

Amazima: Omwami n’omukyala bwe baba baagalana era nga bawaŋŋana ekitiibwa, obufumbo bwabwe bubaamu essanyu.

AMAWULIRE AMALUNGI OKUVA ERI KATONDA (fg)

Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda

Ekibuuzo: Abantu bangi beebuuza ensi eno gy’eraga. Olowooza embeera eritereera?

Ekyawandiikibwa: Yer 29:11

Eky’okugaba: Ng’ekyawandiikibwa ekyo bwe kiraze, Katonda ayagala tubeere n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Akatabo kano kalimu ebisingawo ebikwata ku bisuubizo bya Katonda, era n’eby’okuddamu mu bibuuzo abantu bye batera okwebuuza.

TEGEKA ENNYANJULA YO

Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share