Ababuulizi babuulira nga bakozesa brocuwa Amawulire Amalungi mu Azerbaijan
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
ZUUKUKA!
Ekibuuzo: Tuyinza tutya okukozesa obulungi ebiseera byaffe?
Ekyawandiikibwa: Mub 4:6
By’oyinza okwogera: Akatabo kano kawa amagezi ku ngeri gye tuyinza okukozesa obulungi ebiseera byaffe.
YIGIRIZA AMAZIMA
Ekibuuzo: Olowooza obulamu bulina kigendererwa ki?
Ekyawandiikibwa: Zb 37:29
Amazima: Katonda yatonda abantu nga ba kubeera ku nsi emirembe gyonna.
AMAWULIRE AMALUNGI OKUVA ERI KATONDA!
Ekibuuzo: Olowooza amawulire amalungi tuyinza kugaggya wa? [Mulage vidiyo, Wandyagadde Okuwulira Amawulire Amalungi?]
Ekyawandiikibwa: Is 52:7
By’oyinza okwogera: Akatabo kano kalimu “amawulire amalungi” okuva eri Katonda.
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.