Bannyinaffe nga bakozesa brocuwa Amawulire Amalungi mu Madagascar
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
kibuuzo: Olowooza ensi yandibadde etya singa buli omu yali akolera ku kyawandiikibwa kino?
Ekyawandiikibwa: Beb 13:18
By’oyinza okwogera: Bayibuli etukubiriza okuba abeesigwa mu bintu byonna. N’olwekyo, obwesigwa bwetaagisa mu buli kimu kye tukola. Eyo ye nsonga akatabo kano gye koogerako.
OMUNAALA GW’OMUKUUMI (olupapula olusembayo)
Ekibuuzo: Wandizzeemu otya ekibuuzo kino? [Musomere ekibuuzo ekisooka.] Abantu abamu bakkiriza nti bwe tufa tuba tetufiiridde ddala, ate abalala bagamba nti okufa ye nkomerero y’omuntu. Ggwe olowooza otya?
Ekyawandiikibwa: Mub 9:5 Akatabo kano kalimu ensonga endala ezikwata ku kibuuzo ekyo.
By’oyinza okwogera: Ekitundu kino kinnyonnyola ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eno. Nkusaba okisome, bwe nnakomawo tukikubaganyeeko ebirowoozo
AMAWULIRE AMALUNGI OKUVA ERI KATONDA!
By’oyinza okwogera: Nkukyaliddeko okukutegeeza ku nteekateeka gye tulina ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere. Akatabo kano kalaga engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo abantu bye batera okwebuuza.
Ekibuuzo: Otera okusoma ku Bayibuli? Ka nkulage engeri gye kiri ekyangu okusoma Bayibuli nga tukozesa akatabo kano. [Musome akatundu akali wansi w’ekibuuzo ekisooka 1 mu ssomo 2.]
Ekyawandiikibwa: Kub 4:11
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ekyokulabirako waggulu okutegeka ennyanjula yo