Abajulirwa ba Yakuwa nga babuulira mu Ghana
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Ekibuuzo: Abantu abamu balowooza nti Bayibuli tekyali ya mugaso, ate abalala bagamba nti ekyali ya omugaso. Ggwe olowooza otya?
Ekyawandiikibwa: 2Ti 3:16, 17
Eky’Okugaba: Akatabo kano kalaga amagezi amalungi agali mu Bayibuli era n’ebiyinza okukuyamba okunyumirwa okugisoma.
YIGIRIZA AMAZIMA
Ekibuuzo: Ddala enkomerero eri kumpi?
Ekyawandiikibwa: Mat 24:3, 7, 14
Amazima: Obunnabbi buno bulaga nti enkomerero enaatera okutuuka. Naye ago mawulire malungi, kubanga ekyo kitegeeza nti Katonda anaatera okuggyawo ebizibu ebiri mu nsi.
DDALA KATONDA AFAAYO GYE TULI?
Ekibuuzo: Abantu abamu balowooza nti ebintu tebyatondebwa wabula nti byajjawo byokka. Ggwe olowooza otya?
Eky’Okugaba: [Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 5.] Ekitundu kino kiwa obukakafu obulaga nti Katonda ye yatonda ebintu byonna
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.