Mwannyinaffe asoma Bayibuli era n’agifumiitizaako
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
ZUUKUKA!
Ekibuuzo: Olowooza Bayibuli Kigambo kya Katonda, oba kitabo butabo ekirimu endowooza z’abantu?
Ekyawandiikibwa: 2Ti 3:16
By’oyinza okwogera: Akatabo kano kalimu obukakafu bwa mirundi esatu obulaga nti Bayibuli Kigambo kya Katonda.
YIGIRIZA AMAZIMA
Ekibuuzo: Olowooza obulamu tusaanidde kubutwala tutya?
Ekyawandiikibwa: Kub 4:11
Amazima: Okuva bwe kiri nti obulamu kirabo Katonda kye yatuwa, tusaanidde okubutwala nga bwa muwendo. Tufuba okwewala ebintu ebiyinza okuteeka obulamu bwaffe, oba obw’abalala mu kabi.
KIKI EKISOBOZESA AMAKA OKUBAAMU ESSANYU?
Ekibuuzo: Weetegereze ekibuuzo ekiri ku kapapula kano n’ebimu ku by’okuddamu. Ggwe ekibuuzo ekyo wandikizzeemu otya?
Ekyawandiikibwa: Luk 11:28
By’oyinza okwogera: Akapapula kano kalaga engeri okukolera ku magezi ago gye kiyinza okuyambamu amaka, era n’ensonga lwaki tusobola okukkiriza ekyo Bayibuli ky’egamba.
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.