Omubuulizi ng’abuulira omukunguzi w’amajaani mu Cameroon
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Ekibuuzo: Wabaddewo abantu abagezezzaako okusaanyaawo Bayibuli, olowooza singa Bayibuli si Kigambo kya Katonda yandibadde ekyaliwo?
Ekyawandiikibwa: Is 40:8
By’oyinza okwogera: Akatabo kano kalaga engeri Bayibuli gy’ezze ekuumibwamu.
OMUNAALA GW’OMUKUUMI (olupapula olusembayo)
Ekibuuzo: Nnandyagadde okumanya endowooza yo ku kibuuzo kino. [Musomere ekibuuzo ekisooka ku lupapula 16.] Abamu balowooza nti abantu be baagunjaawo amadiini. Abalala balowooza nti Katonda akozesa amadiini okutuyamba okumumanya. Ggwe olowooza otya?
Ekyawandiikibwa: Yak 1:27, obugambo obuli wansi
By’oyinza okwogera: Ekitundu kino kirimu ebirala Bayibuli by’eyogera ku nsonga eno. Nnandyagadde okukomawo tukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu kitundu kino.
AMAWULIRE AMALUNGI OKUVA ERI KATONDA!
Ekibuuzo: Bwe tusoma obunnabbi buno obuli mu Bayibuli tuba ng’abasoma ebyo ebiba mu mpapula z’amawulire. Kiruwa ku bino kye wali owuliddeko oba kye wali olabye?
Ekyawandiikibwa: 2Ti 3:1-5
By’oyinza okwogera: Akatabo kano kalaga nti ebintu ebyo ebiriwo mawulire malungi eri abantu abaagala Katonda. [Mulage essomo 1, akatundu 2.]
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.