EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YEREMIYA 12-16
Abayisirayiri Beerabira Yakuwa
Yeremiya yagambibwa okukola ekintu ekitaali kyangu, ekyandiraze nti Yakuwa yali amaliridde okubonereza Yuda ne Yerusaalemi olw’obujeemu bwabwe.
Yeremiya yagula omusipi
Omusipi okubeera mu kiwato kyali kiraga enkolagana ey’oku lusegere eyaliwo wakati wa Yakuwa n’eggwanga lya Isirayiri
Yeremiya yatwala omusipi ku Mugga Fulaati
Yagukweka mu mpampagama y’olwazi, n’addayo e Yerusaalemi
Oluvannyuma yaddayo ku Mugga Fulaati n’aggyayo omusipi
Omusipi gwali gwonoonese
Yakuwa yannyonnyola ensonga lwaki yagamba Yeremiya okukola ekintu ekyo
Yeremiya yali muwulize n’akola ekintu ekyali kirabika ng’ekitono, era Yakuwa yakozesa ekyokulabirako ekyo okusobola okutuuka ku mitima gy’abantu