EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZEEKYERI 46-48
Emikisa Abayisirayiri Gye Bandifunye nga Bazziddwayo mu Nsi Yaabwe
Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku Yeekaalu kwazzaamu Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse amaanyi, era kwayongera okubakakasa nti bandizzeeyo mu nsi yaabwe. Okusinza okulongoofu kwandizziddwawo.
Okwolesebwa kwalaga nti wandibaddewo enteekateeka ennungi, okukolera awamu, era n’emirembe
- Ensi yandizzeemu okubaza emmere 
- Buli kika kyandifunye ettaka ery’obusika 
Ng’ensi tennagabanyizibwamu, bandisoose kwawulako ekitundu ne ‘kiweebwayo’ eri Yakuwa
Nnyinza ntya okulaga nti nkulembeza okusinza okw’amazima mu bulamu bwange? (w06 5/1 15 ¶13-14)