EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZEKKALIYA 1-8
‘Weekwate ku Kyambalo ky’Omuyudaaya’
Abantu kkumi okuva mu nnimi zonna ez’amawanga bandikutte ku kyambalo ky’Omuyudaaya nga bagamba nti: “Twagala kugenda nammwe.” Mu nnaku zino ez’enkomerero, abantu okuva mu mawanga gonna beegasse ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta okusinza Yakuwa
Ezimu ku ngeri ab’endiga endala gye bayambamu abaafukibwako amafuta ze ziruwa?
Beenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira
Bawagira omulimu ogwo mu by’ensimbi