EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | LUKKA 12-13
“Muli Ba Muwendo Nnyo Okusinga Enkazaluggya Ennyingi”
Ennyiriri eziriraanye Lukka 12:6, 7 zituyamba zitya okutegeera ebigambo bya Yesu ebyo? Mu lunyiriri 4, Yesu yagamba abayigirizwa be nti tebasaanidde kutya bantu abandibayigganyizza oba abandibasse. Yesu yali ayamba abayigirizwa be okweteekerateekera okuyigganyizibwa kwe baali bagenda okwolekagana nakwo. Yabakakasa nti Yakuwa atwala buli muweereza we nga wa muwendo, era nti ne bwe bandifudde Yakuwa yandibajjukidde n’abazuukiza.
Tuyinza kukiraga tutya nti tufaayo ku abo abayigganyizibwa nga Yakuwa bw’abafaako?
Wa we tuyinza okusanga ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa abasibiddwa mu makomera olw’okukkiriza kwabwe?
Baganda baffe ne bannyinaffe bameka abali mu makomera?