OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okwagala Kwe Kwawulawo Abakristaayo ab’Amazima—Sanyukira Wamu n’Amazima
LWAKI KIKULU: Tusaanidde okukoppa Yesu nga tuwa obujulirwa ku bigendererwa bya Katonda. (Yok 18:37) Ate era tusaanidde okusanyukira wamu n’amazima, okwogera amazima, n’okulowoozanga ku bintu byonna ebituufu, wadde nga tuli mu nsi ejjudde obulimba n’obutali butuukirivu.—1Ko 13:6; Baf 4:8.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
- Beera mumalirivu obutawuliriza ŋŋambo oba obutazisaasaanya.—1Se 4:11 
- Tosanyuka ng’omulala afunye ebizibu 
- Sanyukira ebirungi n’ebizzaamu amaanyi 
MULABE VIDIYO “MWAGALANENGA”—TOSANYUKIRA BITALI BYA BUTUUKIRIVU, WABULA SANYUKIRA WAMU N’AMAZIMA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
- Mu ngeri ki Debbie gye ‘yasanyukira ebitali bya butuukirivu’? 
- Alice yakyusa atya emboozi ne batandika okunyumya ku kintu ekirungi? 
- Ebimu ku bintu ebirungi bye tusobola okunyumyako bye biruwa? 
Tosanyukira bitali bya butuukirivu, wabula sanyukira wamu n’amazima