EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 6-8
Ekibiina Ekikristaayo Ekipya Kifuna Okugezesebwa
Bannamwandu abaali boogera Oluyonaani abaali baakabatizibwa abaasigala mu Yerusaalemi baali basosolwa. Ekyo kyabeesittaza, oba baalindirira Yakuwa okutereeza ensonga eyo?
Oluvannyuma lwa Siteefano okukubibwa amayinja, wajjawo okuyigganyizibwa okw’amaanyi okwawaliriza Abakristaayo abaali mu Yerusaalemi okusaasaanira mu bitundu by’e Buyudaaya n’e Samaliya. Ekyo kyabaleetera okuddirira mu mulimu gw’okubuulira?
Yakuwa yayamba ekibiina ekyo ekipya okunywera n’okweyongera okukulaakulana.—Bik 6:7; 8:4.
WEEBUUZE, ‘Ebigezo bye mpitamu mu bulamu mbikwata ntya?’