Noovemba 26–Ddesemba 2
EBIKOLWA 6-8
Oluyimba 124 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Ekibiina Ekikristaayo Ekipya Kifuna Okugezesebwa”: (Ddak. 10)
Bik 6:1—Kirabika bannamwandu abaali boogera Oluyonaani baali basosolwa mu kibiina (bt-E lup. 41 ¶17)
Bik 6:2-7—Abatume balina kye baakolawo okugonjoola ekizibu ekyo (bt-E lup. 42 ¶18)
Bik 7:58–8:1—Ekibiina kyatandika okuyigganyizibwa ennyo
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Bik 6:15—Mu ngeri ki Siteefano gye yali nga malayika mu maaso? (bt-E lup. 45 ¶2)
Bik 8:26-30—Mu ngeri ki Abakristaayo leero gye bakola omulimu ogulinga ogwo Firipo gwe yakola? (bt-E lup. 58 ¶16)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Bik 6:1-15
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma omuyite ajje mu nkuŋŋaana.
Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ekyawandiikibwa kye weerondedde, oluvannyuma omuwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) lvs lup. 38 ¶16-17
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Okubaako Kye Tuwa Yakuwa”: (Ddak. 15) Kitundu kya kuweebwa mukadde. Musooke mulabe vidiyo, ‘Okubaako Kye Tuwa Yakuwa.’ Soma ebbaluwa okuva ku ttabi eyeebaza ab’oluganda olw’ebyo bye baawaayo mu mwaka gw’obuweereza oguwedde. Yogera ku ngeri gye tuganyulwa mu kuwaayo. Babuulire ensaasaanya y’ekibiina kyammwe eya buli mwezi. Babuulire engeri gye bayinza okuwaayo n’engeri ssente ze bawaayo gye zikozesebwamu. Beebaze olw’omwoyo omugabi gwe booleka.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 43, ¶19-29
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 67 n’Okusaba