OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Emiganyulo Egivudde mu Kubuulira nga Tukozesa Akagaali mu Nsi Yonna
Okusinziira ku Ebikolwa essuula 5, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baagendanga mu yeekaalu awaabanga abantu abangi okusobola okubabuulira amawulire amalungi. (Bik 5:19-21, 42) Leero, waliwo ebirungi bingi ebivudde mu kubuulira mu bifo eby’olukale nga tukozesa obugaali.
MULABE VIDIYO EMIGANYULO EGIVA MU KUBUULIRA NGA TUKOZESA OBUGAALI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Enkola ey’okubuulira nga tukozesa obugaali yatandika ddi?
Lwaki ebiseera ebisinga akagaali kasinga emmeeza?
Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Mi Jung You?
Ekyokulabirako kya Jacob Salomé kiraga kitya emiganyulo egiri mu kubuulira nga tukozesa akagaali?
Ekyokulabirako kya Annies n’omwami we kituyigiriza ki ku ngeri gye tusaanidde okubuuliramu nga tukozesa akagaali?