Ebirala Bye Tuyinza Okukola nga Tubuulira mu Bifo Omuyita Abantu Abangi
1. Ebibiina ebirina ebifo omuyita abantu abangi bikubirizibwa kukola ki?
1 Ebibiina ebirina ebifo omuyita abantu abangi bikubirizibwa okubuulira mu bifo ebyo nga bikozesa emmeeza oba obugaali okuteekebwa ebitabo. Bwe muba mukozesa kagaali, omubuulizi omu asaanidde okutuula oba okuyimirira okumpi nako. Kyokka bwe muba mukozesa mmeeza, ababuulizi babiri be basaanidde okuba okumpi nayo. Ababuulizi abo basaanidde okuba abasanyufu n’okulaga nti bafaayo ku bantu. Omuntu bw’ajja awali ebitabo, omu ku babuulizi ayinza okutandika okwogera naye, oboolyawo ng’amubuuza nti, “Wali weebuuzizzaako ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku nsonga eyo?” Omubuulizi omulala omu oba babiri bayinza okuba mu kifo we balengerera emmeeza oba akagaali okuli ebitabo nga bwe babuulira embagirawo.
2. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti okubuulira mu bifo awayita abantu abangi kuvaamu ebirungi.
2 Enkola eno eyambye ababuulizi okufuna abayizi ba Bayibuli bangi. Omuyizi mu ttendekero erimu yali ayagala okuwandiika ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa, naye nga tamanyi w’ayinza kusanga Kizimbe kya Bwakabaka. Mu wiiki eyaddako yalaba emmeeza y’ebitabo eyali eteekeddwa ku ttendekero we yali asomera. Yakkiriza okuyiga Bayibuli, kati mubuulizi mubatize, era naye abuulira ng’akozesa enkola eyo.
3. Biki ababuulizi abamu bye boogera ku nkola ey’okubuulira mu bifo omuyita abantu abangi?
3 Mwannyinaffe anyumirwa ennyo okukozesa enkola eno agamba nti: “Abantu abamu bajja awali ebitabo okufuna magazini empya. Abamu baba tebawulirangako Bajulirwa ba Yakuwa. Nkiraba nti enkola eno etusobozesa okutuuka ku bantu bangi.” Mwannyinaffe omulala yagamba nti: “Enkola eno nnungi nnyo kubanga abantu be bajja gy’oli. Wadde nga bayinza obutayagala kuyiga Bayibuli, baba baagala okumanya ekigenda mu maaso.”
4. Lwaki kiba kirungi okuteeka emmeeza oba akagaali okuli ebitabo mu kifo kye kimu, era ku ssaawa ze zimu buli wiiki?
4 Kiba kirungi okuteeka emmeeza oba akagaali okuli ebitabo mu kifo kye kimu, ku nnaku ze zimu, era ku ssaawa ze zimu buli wiiki. Ekyo kiyamba abantu okumanya ekifo n’ekiseera we mubeererawo ne basobola okujja okufuna ebitabo oba okubuuza ebibuuzo. Ekibiina kyammwe kirina enteekateeka ey’okubuulira mu bifo awayita abantu abangi? Bwe kiba bwe kityo, naawe osobola okwenyigira mu nkola eno n’ofuna essanyu eriva mu ‘kulangirira buli wamu amawulire g’obwakabaka bwa Katonda.’—Luk. 9:60.