Kiki kye Tusaanidde Okukola nga Tubuulira ku Nguudo?
1. Emu ku ngeri ze tuyinza okukoppamu Yesu y’eruwa?
1 Ng’ali mu buweereza bwe ku nsi, Yesu teyalonzalonzanga kwogera na bantu be yasisinkananga ku nguudo ne mu bifo ebirala ebya lukale. (Luk. 9:57-61; Yok. 4:7) Yali ayagala okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka obubaka bwe obukulu. Leero, okubuulira ku nguudo ngeri nnungi nnyo ey’okuyambamu abantu okufuna amagezi agava eri Katonda. (Nge. 1:20) Okubuulira ku nguudo bwe kuba okw’okuvaamu ebibala, kitwetaagisa okutuukirira abantu era n’okukozesa amagezi.
2. Biki ebizingirwa mu kutuukirira abantu nga tubuulira ku nguudo?
2 Tuukirira Abantu: Kiba kirungi okutuukirira abantu mu kifo ky’okuyimirira oba okutuula mu kifo kimu ng’olinda bayite w’oli. Ssaako akamwenyumwenyu, mutunuulire mu maaso, era yogera naye mu ngeri ey’obukkakkamu era eyoleka omukwano. Bw’oba okola n’ababuulizi abalala, kiba kirungi okutuukirira abantu nga buli omu ali yekka oba ku lulwe. Era kikwetaagisa okumanya engeri gy’oyinza okuddamu okusisinkana omuntu alaze okusiima. Bwe kiba kituukirawo, ng’omaliriza musabe akubuulire engeri gy’oyinza okuddamu okumusisinkana. Ababuulizi abamu batera okubuulira ku luguudo lwe lumu, ne kiba nti kibasobozesa okwogera n’abantu be bamu enfunda n’enfunda ne beeyongera okubayamba okusiima amazima.
3. Tuyinza tutya okukozesa amagezi nga tubuulira ku nguudo?
3 Kozesa Amagezi: Kozesa amagezi ng’osalawo w’onooyimirira ng’oli ku luguudo era ne gw’onootuukirira. Tekyetaagisa kubuulira buli ayitawo. Weetegereze bulungi. Okugeza, singa omuntu aba mu bwangu, oyinza okumuleka n’agenda. Bwe kiba nti oyimiridde mu maaso g’ekifo awakolerwa bizineesi, kozesa amagezi oleme kunyiiza nnannyini bizineesi. Kiba kirungi okubuulira bakasitoma abava okugula ebintu mu kifo ky’abo abagenda obugenzi okugula. Tuukirira abantu mu ngeri etajja kubaleetera kutya oba kwekanga. Ate era kozesa amagezi nga tonnawa muntu kitabo. Singa omuntu aba alaze okusiima kutono, oyinza okumuwa tulakiti mu kifo kya magazini.
4. Lwaki okubuulira ku nguudo kwa muganyulo era kuleeta essanyu?
4 Okubuulira ku nguudo kutusobozesa okusaasaanya ensigo nnyingi ez’amazima mu kiseera kitono. (Mub. 11:6) Abantu abamu be tusanga ku nguudo bayinza okuba nga beebo be tutasanga waka nga tubuulira nnyumba ku nnyumba. Lwaki tokola nteekateeka ezinaakusobozesa okubuulira ku nguudo, emu ku ngeri z’obuweereza ereeta essanyu era evaamu ebibala ebingi?