Kiba Kikwetaagisa Okulekera Awo?
Ababuulizi abamu balina ebiseera ebigereke kwe bakoma nga bagenze okubuulira, gamba nga mu ttuntu. Kyo kituufu nti, abamu embeera zaabwe ziyinza okubeetaagisa okumalira mu kiseera ekigereke. Naye ggwe wandirekedde awo okubuulira olw’okuba b’obadde obuulira nabo balekedde awo oba olw’okuba balina ekiseera kye batera okumalirako? Osobola okwenyigira mu ngeri endala ez’okubuulira gamba ng’okubuulira ku nguudo? Osobola okuddira omuntu omu oba babiri ng’oddayo eka? Lowooza ku birungi ebiyinza okuvaamu singa oddamu okusanga omuntu eyasiima obubaka bwaffe oba singa weeyongera okugaba magazini ne bwe ziba bbiri! Bwe weeyongera okubuulira ne bwe ziba ddakiika ntonotono, oba oyongera okuwaayo “ssaddaaka ez’okutendereza.”—Beb. 13:15.