Okubuulira Obulungi mu Bifo Ebya Lukale
1. Nga bakoppa Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, Abakristaayo leero bafubye kukola ki, era biki ebivuddemu?
1 Okufaananako abayigirizwa ba Yesu abaasooka, Abakristaayo leero bafuba okubuulira abantu amawulire amalungi wonna we bayinza okubasanga. (Bik. 16:13; 17:17; 20:20, 21) Olw’okufuba okubuulira mu bifo ebya lukale, basanga abantu bangi abasiima obubaka bwaffe be batandisanze nga babuulira nnyumba ku nnyumba.
2. Lwaki kyetaagisa okukozesa amagezi bwe tuba tubuulira mu bifo ebya lukale, era tuyinza tutya okubuulira mu ngeri entegeke obulungi mu bifo bino?
2 Kyetaagisa okukozesa amagezi nga tubuulira mu bifo ebya lukale. Kiba kirungi obutabuulira nga tuli bangi mu kifo kimu. Ng’ekyokulabirako, singa ababuulizi bangi babuulira mu kitundu kye kimu oba mu kifo kye kimu awakolerwa bizineesi, abantu abamu bayinza okuwulira nga tubamazeeko emirembe. Kino tekiweesa mulimu gwaffe kitiibwa era kiyinza okutulemesa okugukola obulungi. Kiki ekiyinza okukolebwa okuziyiza kino okubaawo? Ebibiina ebimu ebirina ebifo bya lukale bingi eby’okubuuliramu, bikoze enteekateeka ne kiba nti bibuulirwa abantu kinnoomu so si ng’ekibiina. (1 Kol. 14:40) Okugatta ku ekyo, tujja kubuulira mu ngeri entegeke obulungi singa tukolera mu kitundu kyokka ekiweereddwa ekibiina kyaffe, okujjako nga waliwo enteekateeka ezikoleddwa okuyitira mu Kakiiko Akakola ku Buweereza bw’Ennimiro okuyambako ekibiina ekirala.—Laba Our Kingdom Ministry, aka Noovemba 1998 lup. 6, but. 18-19.
3. Nkola ki abamu gye bakozesezza okutuukirira abantu mu bifo ebya lukale?
3 Okutuukirira Abantu: Yesu bwe yali ayogera n’omukazi ku luzzi, yatandika n’ebigambo bitonotono oluvannyuma n’agenda ng’agaziya emboozi bwe yalaba ng’omukazi oyo ayagala okuwuliriza. (Yok. 4:7-26) Enkola eno ey’okutuukiriramu abantu nnungi mu mbeera ezimu leero. Ababuulizi abamu bakisanze nti okusobola okubuulira obulungi mu bifo ebya lukale kiba kirungi okusooka okubuuza abantu era n’olaga nti obafaako nga tonnaba kubanjulira bubaka bwa Bwakabaka. Abamu basooka kwogera ku kintu ekikwata ku bantu, oluvannyuma ne bazimbira okwo emboozi. Abantu bwe baba boogera ebibali ku mutima, ababuulizi bassaayo omwoyo. Oluvannyuma, batandika okubabuulira ebibazzaamu amaanyi okuva mu Kigambo kya Katonda.—Bar. 15:4.
4. Tuyinza tutya okwongera okuyamba abantu be tusanga?
4 Okwongera Okuyamba Abantu: Buli lwe tufuna omuntu ayagala okuwuliriza, twandikoze enteekateeka ne twongera okumuyamba. Kino tuyinza kukikola tutya? Bw’oba ofundikira emboozi, oyinza okujjayo akatabo k’owandiikamu n’omugamba nti: “Nnyumiddwa nnyo okunyumya naawe. Tuyinza okuddamu okusisinkana nate ne twongera okunyumya?” Oba oyinza okugamba: “Waliwo ekitundu kye nandyagadde osome era ndi mukakafu nti kijja kukunyumira. Nkireete ewuwo oba mu ofiisi yo?” Ababuulizi abamu babuuza bwe bati: “Olina ennamba y’essimu kwe nnyinza okukukubira?” Emirundi mingi ebivaamu biba birungi.
5. Kiruubirirwa ki kye twandibadde nakyo nga tubuulira mu bifo ebya lukale?
5 Abantu bangi abaasangibwa mu bifo ebya lukale bakkiriza okusoma Baibuli. Abantu ng’abo basobola okuyigirizibwa awaka waabwe, ku mulimu gye bakolera, mu kifo ekya lukale ekisaanira, oba ku ssimu. Ka tukifuule kiruubirirwa kyaffe okutandika okuyigiriza abantu Baibuli nga tubuulira bulungi mu bifo ebya lukale.