LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr18 Noovemba lup. 1-6
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2018
  • Subheadings
  • NOOVEMBA 5-11
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2018
mwbr18 Noovemba lup. 1-6

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

NOOVEMBA 5-11

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 20-21

“Onjagala Okusinga Bino?”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 21:15, 17

Yesu n’agamba Simooni Peetero: Emboozi eno yaliwo wakati wa Yesu ne Peetero nga wayiseewo ennaku ntono oluvannyuma lwa Peetero okwegaana Yesu emirundi esatu. Yesu yabuuza Peetero ekibuuzo emirundi esatu ng’ayagala okukakasa obanga ddala Peetero amwagala. Peetero yatuuka ‘n’okunakuwala.’ (Yok 21:17) Mu Yok 21:15-17, omutume Yokaana yakozesa ebigambo by’Oluyonaani bibiri: a·ga·paʹo, ekitegeeza ‘okwagala,’ ne phi·leʹo, ekitegeeza ‘okwagalira ddala.’ Yesu yabuuza Peetero emirundi ebiri nti: “Onjagala?” Emirundi gyombi Peetero yakakasa Yesu nti ‘amwagala.’ Awo Yesu n’abuuza Peetero omulundi ogw’okusatu nti: “Onjagala?” oba ekiyinza okuvvuunulwa nti: ‘Onjagalira ddala.’ Era Peetero n’akikkaatiriza nti amwagala. Ku buli mulundi Peetero gwe yamala okukakasa Yesu nti amwagala, Yesu yakikkaatiriza nti okwagala okwo kwandikubirizza Peetero okuliisa oba ‘okulunda’ endiga za Yesu, nga bano be bayigirizwa be. (Yok 21:16, 17; 1Pe 5:1-3) Yesu yaleka Peetero okukakasa emirundi esatu nti amwagala, era n’amuwa obuvunaanyizibwa obw’okulabiriranga endiga ze. Mu ngeri eyo, Yesu yamalawo okubuusabuusa kwonna okwandibaddewo obanga yali asonyiye Peetero olw’okumwegaana emirundi esatu.

onjagala okusinga bino?: Mu Luyonaani, ebigambo bya Yesu ebyo biyinza okutegeerwa mu ngeri za njawulo. Abeekenneenya abamu bagamba nti Yesu ayinza okuba nga yabuuza Peetero nti: “Onjagala okusinga bano?” kwe kugamba, “onjagala okusinga bw’oyagala abatume bano abalala?” oba “onjagala okusinga abatume bano abalala bwe banjagala?” Kyokka, Yesu ayinza okuba nga yali ategeeza nti “onjagala okusinga ebintu bino?” kwe kugamba, ebyennyanja bye baali bavubye oba ebintu bye baakozesanga mu mulimu gw’okuvuba. N’olwekyo, okutwalira awamu Yesu yali abuuza Peetero nti: ‘Onjagala okusinga bw’oyagala ebintu? Bwe kiba bwe kityo, liisanga endiga zange.’ Ekibuuzo ekyo kituukirawo bwe tulowooza ku byafaayo bya Peetero. Wadde nga Peetero yali omu ku bayigirizwa ba Yesu abaasooka (Yok 1:35-42), teyasalawo mangu kugoberera Yesu ekiseera kyonna. Ebiseera ebimu yaddangayo ku mulimu gwe ogw’okuvuba. Oluvannyuma Yesu yayita Peetero okuva ku mulimu ogw’okuvuba n’amugamba afuuke ‘omuvubi w’abantu.’ (Mat 4:18-20; Luk 5:1-11) Kyokka Yesu bwe yamala okufa, Peetero yaddayo ku mulimu gwe ogw’okubuva, era abatume abalala baamwegattako. (Yok 21:2, 3) N’olwekyo, kirabika wano Yesu alaga Peetero obukulu bw’okusalawo: Peetero yandikulembezza omulimu gwe ogw’okuvuba ebyennyanja ng’ebyo bye baali bakutte, oba yandikulembezza omulimu gw’okuliisanga abagoberezi ba Yesu mu by’omwoyo?—Yok 21:4-8.

omulundi ogw’okusatu: Peetero yali yeeganye Mukama we emirundi esatu, era ne Yesu yamuwa akakisa emirundi esatu akakase nti amwagala. Peetero bwe yakakasa Yesu nti amwagala, Yesu yamugamba okwoleka okwagala okwo mu bikolwa ng’akulembeza obuweereza obutukuvu. Peetero ng’ali wamu n’abayigirizwa abalala, yandirisizza, n’anyweza, era n’alunda endiga za Kristo. Wadde nga baali baafukibwako amafuta, baalina okuliisibwa mu by’omwoyo.—Luk 22:32.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 20:17

Lekera awo okunneekwatako: Ekigambo ky’Oluyonaani haʹpto·mai kiyinza okutegeeza “okukwata” oba “okwekwata ku; okwerippa ku.” Mu Bayibuli ezimu ebigambo bya Yesu ebyo bivvuunulwa nti: “Tonkwatako.” Kyokka, Yesu yali tagaana Maliyamu Magudaleena kumukwatako, kubanga bwe yamala okuzuukira waliwo abakazi ‘abaamukwata ku bigere,’ naye teyabagaana. (Mat 28:9) Kirabika Maliyamu Magudaleena yalowooza nti Yesu yali anaatera okuddayo mu ggulu. Okwagala okw’amaanyi kwe yalina eri Yesu kwe kwamuleetera okumukwata n’amunyweza nga tayagala agende. Yesu okusobola okukakasa Maliyamu nti yali tannatuusa kuddayo mu ggulu, yamugamba agende abuulire abayigirizwa be nti azuukidde.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 20:28

Mukama wange era Katonda wange!: Abeekeneenya ba Bayibuli abamu bagamba nti Tomasi yayogera ebigambo ebyo nga yeewuunya okulaba Yesu, era yali abyogera ku Katonda, Kitaawe wa Yesu, so si ku Yesu. Abalala bagamba nti okusinziira ku Luyonaani, ebigambo ebyo birina kuba nga byayogerwa ku Yesu. Kyokka ennyiriri endala eziriraanyeewo zisobola okutuyamba okumanya amakulu g’ebigambo “Mukama wange era Katonda wange.” Okuva bwe kiri nti emabegako Yesu yali agambye abayigirizwa be nti, “Ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, eri Katonda wange era Katonda wammwe,” tewali kiraga nti Tomasi yali alowooza nti Yesu ye Katonda omuyinza w’ebintu byonna. (Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 20:17.) Tomasi yali yawulirako Yesu ng’asaba ng’ayita ‘Kitaawe’ nti “Katonda omu ow’amazima.” (Yok 17:1-3) N’olwekyo, Tomasi ayinza okuba nga yayita Yesu nti “Katonda wange” olw’ensonga zino: Yali atwala Yesu nga “katonda” so si Katonda omuyinza w’ebintu byonna. (Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 1:1.) Oba ayinza okuba nga yayogera ne Yesu mu ngeri y’emu ng’abaweereza ba Katonda ab’edda gye baayogeranga ne Bamalayika abaabanga batumiddwa gye bali, nga bwe kiragibwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Tomasi ayinza okuba nga yali amanyiiko ku bantu abaayogeranga ne bamalayika nga balinga aboogera ne Yakuwa Katonda kennyini. (Geraageranya Lub 16:7-11, 13; 18:1-5, 22-33; 32:24-30;Bal 6:11-15; 13:20-22.) N’olwekyo, Tomasi ayinza okuba nga yayita Yesu “Katonda wange,” ng’amutwala ng’oyo eyali akiikiridde Katonda ow’amazima era omwogezi wa Katonda.

NOOVEMBA 12-18

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 1-3

“Omwoyo Omutukuvu Gufukibwa ku Kibiina Ekikristaayo”

w86-E 12/1 lup. 29 ¶4-5, 7

Okuwaayo Okuleeta Essanyu

Ku lunaku ekibiina Ekikristaayo lwe kyatandikibwawo mu mwaka gwa 33 E.E., abantu 3,000 abaali baakabatizibwa ‘baabeera wamu, baaliira wamu, era ne basabira wamu.’ Lwaki? Basobole okunyweza okukkiriza kwabwe nga ‘beeyongera okussaayo omwoyo ku ebyo abatume bye baali bayigiriza.’—Bik 2:41, 42.

Abayudaaya n’abakyufu baali bazze mu Yerusaalemi ku Mbaga ya Pentekooti, era baali ba kubeerayo ku nnaku z’embaga eyo zokka . Naye abo abaali bafuuse Abakristaayo baayagala okubeerayo ekiseera kiwanvuko, basobole okweyongera okuyiga ebintu ebirala n’okunyweza okukkiriza kwabwe. Ekyo kyaleetawo obwetaavu bw’emmere n’aw’okusula. Abamu ku bo baali tebalina ssente zibamala ate ng’abalala balina ezifisseewo. N’olwekyo, baagabana ebintu byabwe n’abo abaali mu bwetaavu.—Bik 2:43-47.

Okutunda ebintu byabwe n’okugabana n’abalala ebyo bye baalina, baabikola kyeyagalire. Tewali n’omu yakakkibwa kutunda bintu bye oba kuwaayo, era ekyo tekitegeeza nti abagagga baalina okutunda ebintu byabwe byonna bafuuke abaavu. Wabula, okwagala kwe baalina eri bakkiriza bannaabwe abaali mu bwetaavu, kwe kwabaleetera okutunda ebintu byabwe basobole okubayamba, n’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.—Geraageranya 2 Abakkolinso 8:12-15.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-2-E lup. 61 ¶1

Yesu Kristo

“Omubaka Omukulu ow’obulamu.” Kristo Yesu yawaayo obulamu bwe obutuukiridde nga ssaddaaka okwoleka okwagala okungi ennyo Kitaawe kw’alina eri abantu. Ekyo kyasobozesa abagoberezi ba Kristo abalonde okuba n’essuubi ery’okufugira awamu naye mu ggulu era kyasobozesa abagoberezi be abalala okufuna essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna nga bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda. (Mat 6:10; Yok 3:16; Eph 1:7; Beb 2:5; laba EKINUNULO.) Mu ngeri eyo, yafuuka “Omubaka Omukulu [“Omulangira,” KJ; JB] ow’obulamu” eri abantu. (Bik 3:15) Ekigambo ky’Oluyonaani ekikozesebwa wano okutwalira awamu kitegeeza, “omukulembeze,” era ekigambo kye kimu kikozesebwa ne ku Musa (Bik 7:27, 35) ‘ng’omufuzi’ mu Isirayiri.

cl lup. 265 ¶14

Katonda ‘Omwetegefu Okusonyiwa’

Engeri Yakuwa gy’asonyiwamu eyogerwako mu Ebikolwa by’Abatume 3:19: ‘Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe.’ Ekigambo ekisembayo mu kyawandiikibwa ekyo kivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza ‘okusazaamu oba okuzikiriza.’ Okusinziira ku beekenneenya abamu, kirina amakulu ag’okusangula ebiwandiikiddwa. Ekyo kyasoboka kitya? Bwino eyakozesebwanga mu biseera eby’edda yabangamu langi enzirugavu,amasanda n’amazzi. Mangu ddala oluvannyuma lw’okukozesa bwino oyo, omuntu yalinga asobola okukozesa ekigoye ekibisi n’asangula by’awandiise. Ekyo kifaananyi kirungi ekiraga obusaasizi bwa Yakuwa. Bw’asonyiwa ebibi byaffe, abanga akutte ekigoye ekibisi n’abisangula.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

it-1-E lup. 129 ¶2-3

Omutume

Ani eyalondebwa okudda mu kifo kya Yuda Isukalyoti okuba omutume ow’ekkumi n’ababiri?

Olw’okuba Yuda Isukalyoti yafa nga si mwesigwa, waali wasigaddewo abatume 11 bokka era mu nnaku 40 okuva Yesu lwe yazuukira okutuuka lwe yaddayo mu ggulu, tewali mutume gwe yalonda okudda mu kifo kya Yuda. Kyokka mu bbanga ery’ennaku ekkumi okuva Yesu lwe yaddayo mu ggulu okutuuka ku lunaku lwa Pentekooti, abatume baakiraba nti kyali kyetaagisa okulonda omuntu omulala eyandizze mu kifo kya Yuda, si lwa kuba nti Yuda yali afudde, naye olw’okuba yafa nga si mwesigwa, ng’Ebyawandiikibwa Peetero bye yajuliza bwe biraga. (Bik 1:15-22; Zb 69:25; 109:8; geraageranya Kub 3:11.) Kyokka olw’okuba omutume Yakobo yafa nga mwesigwa, tewali kyawandiikibwa kiraga nti omuntu omulala yalondebwa okudda mu kifo kye.—Bik 12:2.

Okusinzira ku ebyo Peetero bye yayogera, eyandirondeddwa okudda mu kifo ky’omutume wa Yesu Kristo yali alina okuba ng’amanyi bulungi Yesu, era nga yeerabirako n’agage ebintu bye yakola, ebyamagero bye yakola, n’okusingira ddala, okuzuukira kwe. Ekyo kiraga nti oluvannyuma lw’ekiseera, kyandibadde tekisoboka kulonda muntu mulala yenna kudda mu kifo ky’omutume wa Yesu, okuggyako nga Katonda alina ky’akozeewo okusobozesa ekyo okubaawo. Mu kiseera ekyo ng’olunaku lwa Pentekooti terunnatuuka, waaliwo abasajja abaali batuukiriza ebisaanyizo ebyo, era babiri ku bo baaleetebwa okulaba gwe bandironzeeko okudda mu kifo kya Yuda. Kirabika nga balowooza ku Engero 16:33, baakuba obululu era ne balonda Matiya “n’abalirwa wamu n’abatume ekkumi n’omu.” (Bik 1:23-26) N’olwekyo, abalibwa ku batume “ekkumi n’ababiri” abaagonjoola ekizibu ekyali kizeewo ekikwata ku bayigirizwa abaali boogera Oluyonaani (Bik 6:1, 2), era kirabika Pawulo yamubalira ku batume “Ekkumi n’Ababiri” Yesu be yalabikira oluvannyuma lw’okuzuukira, be yayogerako mu 1 Abakkolinso 15:4-8. N’olwekyo, olunaku lwa Pentekooti we lwatuukira waaliwo abatume 12, nga gwe musingi Isirayiri ow’eby’omwoyo kwe yandizimbiddwa.

NOOVEMBA 19-25

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 4-5

“Beeyongera Okwogera Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu”

w08-E 9/1 lup. 15, akasanduuko

Ebigambo Ebitukuvu Ebyayogerwa Oluvannyuma ne Biwandiikibwa—Abakristaayo Abaasooka be Baabiwandiika?

Abatume Baali Tebaasoma?

Abafuzi n’abakadde b’omu Yerusaalemi ‘bwe baalaba Peetero ne Yokaana nga boogera n’obuvumu, era ne bategeera nti tebaali bayigirize era nti bantu ba bulijjo, beewuunya.’ (Bik 4:13) Ddala abatume tebaali bayigirize oba baali tebaasoma? Ekitabo ekiyitibwa The New Interpreter’s Bible kigamba nti: ‘Ebigambo ebyo tebitegeeza nti Peetero [ne Yokaana] baali tebaasoma era nti baali tebamanyi kusoma na kuwandiika. Wabula, biraga enjawulo eyamaanyi eyaliwo wakati w’abatume n’abo abaali babawozesa abaali beetwala okuba aba waggulu.’

w08 5/15 lup. 30 ¶6

Okunokolayo Ebiri mu Kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume

4:13—Peetero ne Yokaana baali tebamanyi kusoma na kuwandiika? Baali bamanyi. Baayitibwa ‘abatali bayigirize era abantu ba bulijjo’ olw’okuba baali tebaatendekebwa mu masomero ga balabbi ag’eby’eddiini.

it-1-E lup. 128 ¶3

Omutume

Bye Baakola mu Kibiina Ekikristaayo. Abatume bwe baafuukibwako omwoyo omutukuvu ku lunaku lwa Pentekooti, kyabanyweza nnyo. Essuula ettaano ezisooka mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, ziraga obuvumu Abatume bwe baayoleka nga babuulira amawulire amalungi agakwata ku Yesu ne ku kuzuukira kwe, wadde ng’abafuzi baabasiba mu makomera, baabakuba, era ne baabatiisatiisa okubatta. Mu nnaku ezaasooka oluvannyuma lwa Pentekooti, olw’obunyiikivu bw’abatume abaali batwala obukulembeze era n’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu, ekibiina Ekikristaayo kyakulakulanira ku sipiidi eyeewuunyisa. (Bik 2:41; 4:4) Mu kusooka baabuuliranga mu Yerusaalemi mwokka, naye oluvannyuma ne baatuuka e Samaliya ne mu bitundu by’ensi byonna ebyali bimanyiddwa mu kiseera ekyo.—Bik 5:42; 6:7; 8:5-17, 25; 1:8.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 514 ¶4

Ejjinja ery’oku nsonda

Zabbuli 118:22 eraga nti ejjinja abazimbi lye bandigaanye lye lyandifuuse “ejjinja ekkulu ery’oku nsonda” (Mu Lwebbulaniya, roʼsh pin·nahʹ). Yesu yajuliza ekyawandiikibwa ekyo era n’alaga nti ye ‘jjinja ekkulu ery’oku nsonda’ (Mu Luyonaani, ke·pha·leʹ go·niʹas, omutwe gw’ensonda) eryogerwako mu bunnabbi obwo. (Mat 21:42; Mak 12:10, 11; Luk 20:17) Ng’ejjinja erisembayo wagulu ku nnyumba bwe lirabibwa amangu, ne Yesu ye jjinja ekkulu ery’ekibiina Ekikristaayo eky’abaafukibwako amafuta ekigeraageranyizibwa ku yeekaalu ey’eby’omwoyo. Peetero naye yalaga nti ebigambo ebiri mu Zabbuli 118:22 bikwata ku Kristo bwe yagamba nti “ejjinja” abantu lye bagaana Katonda lye yalonda, ne lifuuka “ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.”—Bik 4:8-12; laba ne 1Pe 2:4-7.

w13 3/1 lup. 15 ¶4

Peetero ne Ananiya Baalimba—Kiki Kye Tuyigamu?

Ananiya ne mukyala we batunda ebimu ku bintu byabwe basobole okufuna ssente ezinaayamba abantu abaali baakabatizibwa. Ananiya bw’aleeta ssente eri abatume, abagamba nti aleese ssente zonna ezivudde mu bintu bye batunze. Naye alimba! Ssente ezimu azisigazza! Katonda asobozesa Peetero okumanya nti Ananiya alimba, era Peetero amugamba nti: “Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.” Amangu ago, Ananiya agwa wansi n’afa! Oluvannyuma lw’essaawa nga ssatu, mukyala we naye ajja. Nga tategedde kituuse ku mwami we, naye alimba era agwa wansi n’afa.

NOOVEMBA 26–DDESEMBA 2

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 6-8

“Ekibiina Ekikristaayo Ekipya Kifuna Okugezesebwa”

bt-E lup. 41 ¶17

“Tuteekwa Kugondera Katonda”

Mu kibiina Ekikristaayo ekipya mwalimu ekizibu eky’amaanyi. Kizibu ki? Abayigirizwa bangi abaali baakabatizibwa baali tebabeera mu Yerusaalemi, ng’ate baagala okumanya ebisingawo nga tebannaba kuddayo waabwe. Abayigirizwa abaali babeera mu Yerusaalemi baawaayo ssente kyeyagalire okusobola okukola ku bwetaavu bw’emmere n’ebintu ebirala. (Bik 2:44-46; 4:34-37) Mu kiseera ekyo, wajjawo ekizibu eky’amaanyi. Bannamwandu abaali boogera Oluyonaani “tebaaweebwanga mmere eyagabibwanga buli lunaku.” (Bik 6:1) Kyokka, bannamwandu abaali boogera Olwebbulaniya bo baawebwanga emmere. Kirabika ekizibu kyali kya busosoze. Ensonga eyo yali esobola okuleetawo enjawukana az’amaanyi.

bt-E lup. 42 ¶18

“Tuteekwa Kugondera Katonda”

Abatume abaali bakola ng’akakiiko akafuzi ak’ekibiina ekyali kyeyongera okukula, baakiraba nti tekyali kya magezi ‘okuleka omulimu gw’okuyigiriza ekigambo kya Katonda ne bakola ogw’okugaba emmere.’ (Bik 6:2) Okusobola okugonjoola ekizibu ekyo, abatume baagamba abayigirizwa okulonda abasajja musanvu “abajjudde omwoyo omutukuvu n’amagezi,” babakwase “omulimu ogwo.” (Bik 6:3) Abasajja abaalina ebisaanyizo baali beetaagisa okukola omulimu ogwo kubanga kirabika gwali tegukoma ku kugaba mmere kyokka, naye era gwali guzingiramu okutereka ssente, okugula ebintu, n’okukola embalirira. Abasajja bonna abaalondebwa baalina amannya ag’Oluyonaani, era ng’ekyo kirabika kyasanyusa bannamwandu abaali bayisiddwa obubi. Oluvannyuma lw’okusaba, abatume baakwasa abasajja omusanvu abaali balondeddwa ‘omulimu gw’okugaba emmere.’

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

bt-E lup. 45 ¶2

Siteefano—Yali “Ajjudde Ekisa n’Amaanyi ga Katonda”

Waliwo ekyewuunyisa ku ngeri Siteefano gy’alabikamu mu kiseera kino. Abalamuzi bwe bamutuunulira, balaba nti “mu maaso alinga malayika.” (Bik 6:15) Bamalayika baleeta obubaka obuva eri Yakuwa Katonda, n’olwekyo baba balabika nga bavumu, nga bakkakkamu, era nga ba mirembe. Ne Siteefano bw’atyo bw’alabika, era n’abalamuzi abamulinako ekiruyi bakiraba. Kiki ekimuyambye okuba omukkakkamu?

bt-E lup. 58 ¶16

Okubuulira “Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu”

Abakristaayo leero balina enkizo ey’okwenyigira mu mulimu ng’ogwo ogwakolebwa Firipo. Ebiseera bingi, babuulira embagirawo, gamba nga baliko gye balaga. Emirundi mingi bwe basanga omuntu ayagala okuwulira amawulire amalungi, kiba tekiguddeewo bugwi. Ekyo kisuubirwa kubanga Bayibuli eraga nti bamalayika bayambako mu mulimu gw’okubuulira, amawulire amalungi gasobole okutuuka “eri buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” (Kub. 14:6) Ekyo ne Yesu yakyogerako. Mu lugero lwe olw’eŋŋaano n’omuddo, Yesu yagamba nti mu kiseera eky’amakungula, kwe kugamba, mu mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu, “abakunguzi be bamalayika.” Yagattako nti bamalayika bajja ‘kuggya mu Bwakabaka bwe ebintu byonna ebyesittaza n’abantu abakola eby’obujeemu.’ (Mat. 13:37-41) Mu kiseera kye kimu, bamalayika bajja kukuŋŋaanya abo abajja okufuga mu Bwakabaka bwa Katonda mu ggulu, era oluvannyuma bakuŋŋaanye ‘ab’ekibiina ekinene’ Yakuwa b’aleeta mu kibiina kye.—Kub. 7:9; Yok 6:44, 65; 10:16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share