Jjanwali 21-27
EBIKOLWA 25-26
Oluyimba 73 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Pawulo Ajulira Kayisaali era Oluvannyuma Abuulira Kabaka Agulipa”: (Ddak. 10)
Bik 25:11—Pawulo yakozesa eddembe lye yalina mu mateeka n’ajulira Kayisaali (bt-E lup. 198 ¶6)
Bik 26:1-3—Pawulo yalwanirira bulungi amazima ng’ali mu maaso ga Kabaka Agulipa (bt-E lup. 198-201 ¶10-16)
Bik 26:28—Pawulo bye yayogera byakwata nnyo ku Kabaka (bt-E lup. 202 ¶18)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Bik 26:14—‘Omuwunda’ kye ki? (“Okusamba emiwunda” awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 26:14, nwtsty; “Omuwunda,” nwtstg)
Bik 26:27—Lwaki Kabaka Agulipa teyaddamu Pawulo bwe yamubuuza obanga akkiririza mu bannabbi? (w03 12/1 lup. 15 ¶14)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Bik 25:1-12 (th essomo 5))
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 2)
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 4 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe akatabo Bye Tuyiga. (th essomo 3)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa Gukkirizibwa mu Mateeka mu Quebec”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 51
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 122 n’Okusaba