Okitobba 14-20
1 PEETERO 1-2
Oluyimba 29 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Mubeerenga Batukuvu”: (Ddak. 10)
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo kya 1 Peetero.]
1Pe 1:14, 15—Bye twegomba era n’enneeyisa yaffe birina okuba nga bitukuvu (w17.02 lup. 9 ¶5)
1Pe 1:16—Tufuba okukoppa Katonda waffe omutukuvu (lvs lup. 77 ¶6)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
1Pe 1:10-12—Tuyinza tutya okukoppa bannabbi ne bamalayika? (w08 11/15 lup. 21 ¶10)
1Pe 2:25—Omulabirizi ayogerwako mu lunyiriri luno y’ani? (it-2-E lup. 565 ¶3)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) 1Pe 1:1-16 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 1)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 3)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 9)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera Mukwano gwa Yakuwa—Tegekanga Bulungi Ebintu Byo: (Ddak. 6) Mulabe vidiyo. Oluvannyuma yita abaana be wateeseteese obabuuze ebibuuzo bino: Yakuwa yakola atya ebintu byonna mu ngeri entegeke obulungi? Biki ebiyonja envubu? Lwaki osaanidde okukuuma awaka nga wayonjo?
“Yakuwa Ayagala Abantu Abayonjo”: (Ddak. 9) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Katonda Ayagala Abantu Abayonjo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 87
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 39 n’Okusaba