LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • th essomo 10 lup. 13
  • Okukyusakyusa mu Ddoboozi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okukyusakyusa mu Ddoboozi
  • Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Similar Material
  • Okukyusakyusa mu Ddoboozi
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Eddoboozi Erisaanira
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okwogera n’Ebbugumu
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okwogera nga Weekakasa
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
See More
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
th essomo 10 lup. 13

ESSOMO 10

Okukyusakyusa mu Ddoboozi

Ekyawandiikibwa

Engero 8:4, 7

MU BUFUNZE: Fuba okuggyayo ensonga n’okwoleka enneewulira etuukirawo ng’okyusakyusa mu ddoboozi lyo ne sipiidi gy’oyogererako.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Kyusakyusa mu ddoboozi. Yongeza oba kendeeza ku ddoboozi lyo ng’oggumiza ensonga enkulu era ng’okubiriza abakuwuliriza okubaako kye bakolawo. Yongeza eddoboozi ng’osoma ekyawandiikibwa ekirimu obubaka obw’omusango. Kendeeza ku ddoboozi okuleetera abakuwuliriza okwesunga ky’ogenda okuzzaako, oba okwoleka okutya oba okweraliikirira.

    Eky’okukola

    Toyongeza ddoboozi lyo buli kiseera, n’owulikika ng’akabuwalidde abakuwuliriza. Weegendereze engeri gy’okyusakyusaamu eddoboozi lyo oleme kuwulikika ng’omuntu eyeeraga.

  • Kyusakyusa mu ngeri eddoboozi lyo gye liwulikikamu. Ng’osinziira ku mateeka agafuga olulimi lwo, yongeza eddoboozi lyo okwoleka ebbugumu oba okulaga obunene bw’ekintu oba okulaga nti kiri wala. Kkakkanya ku ddoboozi lyo okwoleka ennaku oba okweraliikirira.

  • Kyusakyusa mu sipiidi gy’oyogererako. Yongeza ku sipiidi gy’oyogererako okusobola okwoleka essanyu. Kendeeza ku sipiidi gy’oyogererako ng’otuuse ku nsonga enkulu.

    Eky’okukola

    Sipiidi gy’oyogererako togikyusa mbagirawo, kubanga ekyo kijja kuwugula abakuwuliriza. Toyogerera kumukumu kubanga by’oyogera biyinza obutategeerekeka.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share