ESSOMO 8
Eddoboozi Erisaanira
SINGA omwogezi akozesa eddoboozi erya wansi, abamu ku abo abamuwuliriza bayinza okutandika okusumagira. Singa omubuulizi ayogera mu ddoboozi erya wansi ennyo ng’ali mu buweereza bw’ennimiro, gw’ayogera naye tajja kutegeera by’ayogera. Ababa baddamu ebibuuzo mu lukuŋŋaana bwe boogera mu ddoboozi eritawulikika bulungi, abalala tebajja kuzzibwamu maanyi. (Beb. 10:24, 25) Ku luuyi olulala, singa omwogezi atumbula eddoboozi we kiteetaagisiza, abamuwuliriza bayinza okuyisibwa obubi.—Nge. 27:14.
Lowooza ku Bakuwuliriza. Baani b’oyogera nabo? Oyogera na muntu omu, maka gonna, kibinja kitonotono eky’abo abagenda mu buweereza bw’ennimiro, eri ekibiina kyonna, oba eri abo abali mu lukuŋŋaana olunene? Kya lwatu, eddoboozi erikozesebwa mu mbeera emu liyinza obutasaanira mu mbeera endala.
Mu mbeera ezitali zimu, abaweereza ba Katonda boogedde eri ebibinja by’abantu. Ku mukolo gw’okutongoza yeekaalu mu Yerusaalemi mu kiseera kya Sulemaani, tewaaliwo byuma bya maloboozi. N’olwekyo, Sulemaani yayimirira ku kituuti n’ayogera mu “ddoboozi eddene” ng’asabira abantu omukisa. (1 Bassek. 8:55; 2 Byom. 6:13) Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, oluvannyuma lw’omwoyo omutukuvu okufukibwa ku bayigirizwa ku lunaku lwa Pentekoote 33 C.E., enkuyanja y’abantu—abamu ku bo nga baagala amazima ate ng’abalala basekerezi—baakuŋŋaanira awaali akabinja k’Abakristaayo mu Yerusaalemi. Mu kiseera ekyo, Peetero “yayimirira . . . n’ayogerera waggulu.” (Bik. 2:14) Mu ngeri eyo, yawa obujulirwa obw’amaanyi.
Osobola otya okumanya obanga eddoboozi ly’okozesa lisaanira? Oyinza okwetegeereza abakuwuliriza. Bw’okiraba nti abamu ku bakuwuliriza tebawulira bulungi by’oyogera, osaanidde okwongeza ku ddoboozi lyo.
Ka kibeere nti oyogera na muntu omu oba bangi, kiba kya magezi okumanya bantu ba ngeri ki abakuwuliriza. Singa gw’oyogera naye aba tawulira bulungi, kiyinza okukwetaagisa okukangula ku ddoboozi. Bw’oyogera ne bannamukadde ne balwawo okukiraga nti bawulidde kyokka ggwe n’oyongera kukangula ddoboozi, kiyinza okubayisa obubi. Ate era, omuntu bw’ayogera mu ngeri eyo ayinza okutwalibwa ng’omukambwe. Mu mawanga agamu, omuntu okwogerera waggulu kiba kyoleka nti munyiivu.
Lowooza ku Maloboozi Agataataganya. Bw’oba ng’oli mu buweereza bw’ennimiro, embeera z’osanga zisobola okukwetaagisa okukangula oba okukendeeza ku ddoboozi lyo. Kiyinza okukwetaagisa okukangula ku ddoboozi olw’ebidduka ebiba biyitawo, abaana abawowoggana, embwa eziboggola, ebidongo ebiggunda, oba ttivi eba etumbuddwa. Ku luuyi olulala, mu bitundu omuli ennyumba eziri okumu okumu, kiyinza okuyisa obubi nnyinimu singa oyogerera waggulu nnyo ne kiba nti ne baliraanwa be bawulira bye mwogera.
Ab’oluganda abawa emboozi mu kibiina oba mu nkuŋŋaana ennene nabo balina okutuukana n’embeera ze baba boogereramu. Okwogerera wabweru kya njawulo ku kuwa emboozi ng’oli mu kizimbe. Mu Latini Amerika, abaminsani babiri bwe baali bawa emboozi ku lubalaza lw’ennyumba y’omuntu ayagala amazima, mu kibangirizi ekyabali okumpi waaliwo ebikujjuko omwali okutulisa ebiriroliro. Ate era okumpi awo waaliwo sseggwanga eyali ekookolima olutata!
Ng’owa emboozi, wayinza okubalukawo ekintu ekiyinza okukwetaagisa okusiriikiriramu okutuusa nga kiweddewo oba okwongeza obwongezi ku ddoboozi lyo. Ng’ekyokulabirako, singa olukuŋŋaana lubeera mu kizimbe ekyaseresebwa amabaati, enkuba ey’amaanyi eyinza okulemesa abawuliriza okuwulira obulungi by’oyogera. Omwana akaaba oba abo abatuuse ekikeerezi bayinza okutaataaganya abawuliriza. Manya eky’okukola ekituufu ekinaasobozesa abakuwuliriza okuganyulwa mu bujjuvu mu by’oyogera.
Bwe wabaawo ebyuma ebyongeza amaloboozi biba bya muganyulo nnyo, naye kino tekitegeeza nti omwogezi talina kutumbula ddoboozi lye bwe kiba nga kyetaagisa. Mu bifo ebimu amasannyalaze gye gatera okuvaako, aboogezi kiba kibeetaagisa okweyongera okwogera awatali kazindaalo.
Lowooza ku Nsonga gy’Oyogerako. Eddoboozi ly’olina okukozesa liyinza okusinziira ku nsonga gy’oyogerako. Ensonga gy’oyogerako bw’eba ng’ekwetaagisa okukozesa eddoboozi ery’amaanyi, ly’oba okozesa. Ng’ekyokulabirako, singa oba osoma Ebyawandiikibwa ebikwata ku kulangirira omusango, eddoboozi ly’okozesa lirina okuba nga lya maanyi okusinga ku eryo ly’okozesa ng’osoma ebyo ebikwata ku kulaga okwagala. Eddoboozi lyo lituukaganye n’ekyo ky’oyogerako, naye weegendereze oleme kubeera ng’eyeeraga.
Lowooza ku Kiruubirirwa Kyo. Bw’oba oyagala okukubiriza abakuwuliriza, kiyinza okukwetaagisa okukozesa eddoboozi ery’amaanyiko. Bw’oba oyagala bakyuse endowooza yaabwe, tekyetaagisa kukozesa ddoboozi lya maanyi. Bw’oba ng’obudaabuda, kiba kirungi okukozesa eddoboozi ery’ekimpowooze.
We Kyetaagisiza Okukangula ku Ddoboozi. Bw’oba ng’oyagala omuntu ali ku mirimu gye okukuwuliriza, kiba kirungi okukangula ku ddoboozi. Kino abazadde bakimanyi, era eyo ye nsonga lwaki bakangula ku ddoboozi nga bayita abaana baabwe ababa bazannya. Era kiyinza okwetaagisa ssentebe okukozesa eddoboozi ery’omwanguka mu lukuŋŋaana lw’ekibiina oba olukuŋŋaana olunene ng’asaba ab’oluganda okukkalira mu bifo byabwe. Ng’ababuulizi bali mu buweereza bw’ennimiro, bayinza okukozesa eddoboozi ery’omwanguka okusobola okweyanjula eri abantu ababali ewalako nga bakola emirimu gyabwe wabweru.
Wadde ng’omuntu akutegedde okutu, kikulu okweyongera okwogera mu ddoboozi eriwulikika obulungi. Omwogezi bw’ayogera empola kiyinza okwoleka nti teyeeteeseteese bulungi oba nti by’ayogera tabyekakasa.
Bw’okozesa eddoboozi ery’omwanguka ng’owa ekiragiro, kiyinza okuleetera abantu okubaako kye bakolawo. (Bik. 14:9, 10) Ate era okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka kiyinza okuziyiza omuntu okwekolako akabi. Mu Firipi, omukuumi w’ekkomera yali anaatera okwetta kubanga yalowooza nti abasibe baali batolose. ‘Pawulo yayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’agamba nti: Teweekolako kabi, kubanga ffenna tuli wano!’ Mu ngeri eyo yaziyizibwa okwekolako akabi. Pawulo ne Siira baabuulira omukuumi w’ekkomera n’ab’omu nnyumba ye, era bonna ne bakkiriza amazima.—Bik. 16:27-33.
Engeri gy’Oyinza Okulongoosamu mu Ddoboozi Lyo. Abantu abamu, kiyinza okubeetaagisa okufuba ennyo okusobola okwogera mu ddoboozi erisaanira. Omuntu ayinza okwogera mu ddoboozi erya wansi olw’okuba eddoboozi lye si lya maanyi. Kyokka, singa yeefubako, asobola okulirongoosa, wadde ng’asigala ayogera mu ddoboozi lya kimpoowoze. Faayo ku ngeri gy’ossaamu ne gy’oyimiriramu. Weemanyiize okutuula n’okuyimirira nga weegolodde bulungi. Tereeza ebibegabega byo, era sika omukka ogumala. Kakasa nti amawuggwe go ogajjuza omukka. Omukka ogwo gw’osise gwe gukusobozesa okwogera mu ddoboozi eddungi.
Ate abalala, ekizibu kye balina kwe kuba nti boogerera mu ddoboozi lya waggulu nnyo. Oboolyawo ekyo kyava ku kuba nti baali bakolera mu kifo awaali ebireekaana. Ku luuyi olulala, bayinza okuba nga baakulira mu maka nga buli muntu ayogerera waggulu. N’olwekyo, abantu ng’abo baba balowooza nti okusobola okubaako kye bategeeza abalala balina okwogera mu ddoboozi erisukuluma ku ly’abalala. Bwe beeyongera okugoberera okubuulirira kwa Baibuli okw’okwambala “omwoyo ogw’ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, [n’]okugumiikiriza,” bajja kusobola okulongoosa mu ddoboozi lye bakozesa nga boogera n’abalala.—Bak. 3:12.
Okuteekateeka obulungi, okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro obutayosa, n’okusaba Yakuwa, bijja kukuyamba okwogera mu ddoboozi erisaanira. K’obeere nti owa mboozi ku pulatifoomu oba ng’oyogera na muntu mu buweereza bw’ennimiro, kakasa nti gw’oyogera naye awulira bulungi by’oyogera.—Nge. 18:21.