ESSOMO 9
Okukyusakyusa mu Ddoboozi
BW’OGGUMIZA ebigambo ebiggyayo amakulu kiyamba abakuwuliriza okutegeera emboozi yo n’okuginyumirwa. Kyokka, emboozi yo ejja kunyuma nnyo n’okusingawo singa okyusakyusa mu ddoboozi lyo gamba ng’olyongeza oba ng’olikendeeza, nga oyongeza ku sipiidi gy’oyogererako oba ng’okyusa mu mpulikika yaalyo. Ate era, bw’okola bw’otyo kikusobozesa okulaga abawuliriza endowooza gy’olina ku by’oyogera. Endowooza gy’oyoleka ku ebyo by’oyogerako erina kinene nnyo ky’ekola ku ngeri abawuliriza gye banabitwalamu. Bwe kityo bwe kibeera ng’oli ku pulatifomu oba mu buweereza bw’ennimiro.
Eddoboozi ly’omuntu lyewuunyisa nnyo, olw’okuba liyinza okukyusibwakyusibwa mu ngeri nnyingi. Bw’olikyusakyusa obulungi, emboozi yo eba nnyuvu, by’oyogera bituuka ku mitima gy’abakuwuliriza, era ne kibaleetera okubaako kye bakolawo. Kyokka, kino tekitegeeza nti, olina okusooka okulamba ebigambo w’oneetaagira okukyusakyusaamu ku ddoboozi. Singa okola bw’otyo, tojja kusobola kukyusakyusa ddoboozi lyo mu ngeri nnungi era abawuliriza tebajja kunyumirwa. Ky’osaanidde okukola, kwe kwogera mu ngeri gy’oyogeramu bulijjo.
Singa omwogezi akyusakyusa eddoboozi lye mu ngeri ennungi, abamuwuliriza ebirowoozo bajja kubissa ku by’ayogera so si ku ye. Ate era bategeera bulungi ensonga ezoogerwako.
Okwongeza oba Okukendeeza ku Ddoboozi. Tekirina kuba nti buli luvannyuma lw’akaseera olyongeza oba olikendeeza. Singa okola bw’otyo, amakulu g’ebyo by’oyogera gayinza okubula. Ate era, singa olikangula enfunda nnyingi, kiyinza okuwa abawuliriza ekifaananyi ekibi.
Osaanidde okwongeza oba okukendeeza eddoboozi lyo ng’osinziira ku ekyo ky’oyogerako. Bw’oba osoma ekiragiro, gamba ng’ekyo ekiri mu Okubikkulirwa 14:6, 7 oba ekyo ekiri mu Okubikkulirwa 18:4, oba ebigambo ebyoleka obwesige obw’amaanyi, gamba ng’ebyo ebiri mu Okuva 14:13, 14, kiba kirungi okukangula ku ddoboozi mu ngeri etuukirawo. Mu ngeri y’emu, bw’oba osoma obubaka obw’amaanyi ennyo omuli ebigambo ebivumirira, gamba ng’obwo obuli mu Yeremiya 25:27-38, osaanidde okwongeza oba okukendeeza eddoboozi lyo nga bwe kisaanira, ensonga enkulu zisobole okuvaayo.
Ate era osaanidde okumanya ekigendererwa kyo. Oyagala kukubiriza bakuwuliriza kubaako kye bakola? Oyagala ensonga enkulu ziveeyo bulungi? Okwongeza eddoboozi nga bwe kiba kyetaagisa kiyinza okukuyamba okutuukiriza ebintu ebyo. Kyokka, tekiri nti buli kiseera oba olina kwongeza bwongeza ddoboozi okusobola okubituukiriza. Lwaki? Olw’okuba by’oyogera biyinza okuba nga bikwetaagisa kwoleka mukwano oba nneewulira etuukirawo mu kifo ky’okukangula obukanguzi eddoboozi. Kino tujja kukyetegereza mu Ssomo 11.
Oluusi okukendeezaamu ku ddoboozi kiyinza okuleetera abakuwuliriza okwesunga by’ogenda okuzaako. Kyokka, by’ozzaako oba olina okubyogera n’amaanyi agasingawo. Okwogera mu ddoboozi erya wansi ate ng’oyanguyiriza kisobola okulaga okutya. Ate era, bw’okendeeza ku ddoboozi kiyinza okulaga nti ensonga gy’oyogerako si nkulu nnyo ng’endala. Kyokka singa eddoboozi liba lya wansi mu mboozi yo yonna, kiyinza okulaga nti by’oyogerako tobyekakasa oba nti tobitwala nti bikulu nnyo. Mu butuufu, eddoboozi erya wansi lirina okukozesebwa mu ngeri ey’amagezi.
Kyusakyusa mu Sipiidi. Bwe tuba twogera bulijjo, tetusooka kulowooza ku bigambo bye tunaakozesa. Bwe tuba tusanyuse tutera okwogera nga twanguyiriza. Bwe tuba twagala oyo gwe twogera naye okujjukira ebyo bye tuba tumugamba, tutera kwogera mpolampola.
Kyokka, aboogezi abappya abasinga obungi tebatera kukyusakyusa ku sipiidi gye boogererako. Lwaki? Bassa nnyo essira ku bigambo bye banaakozesa. Bayinza okuwandiika byonna bye banaayogera. Bwe baba tebabiwandiise, bayinza okugezaako okubikwata obukusu. N’ekivaamu boogerera ku sipiidi y’emu. Okusobola okwewala ekizibu kino omuntu aba alina okuyiga okweyambisa obulungi ekiwandiiko okuli ensonga z’ayogerako.
Weewale okukyusa sipiidi kw’oyogerera embagirawo. Bw’okola bw’otyo, kibanga ng’emmese ebadde esooba n’efubutuka omulundi gumu ng’erabye kkapa. Ate era weewale okwogera ng’oyanguyiriza kuba by’oyogera biyinza obutategeerekeka.
Ate era okukyusa mu sipiidi tekitegeeza nti buli luvannyuma lwa kiseera ekigere oba olina okukendeeza oba okwongeza sipiidi gy’oyogererako. Enkola ey’engeri eyo eyinza okuwugula obuwuguzi ebirowoozo by’abakuwuliriza mu kifo ky’okubayamba okuganyulwa. Engeri gy’okyusakyusaamu sipiidi erina okuba ng’etuukana ne ky’oba oyogerako, enneewulira gy’oyagala okwoleka awamu n’ekiruubirirwa ky’oba nakyo. Okusobola okwogera n’ebbugumu, osaanidde okwongeza ku sipiidi gy’oyogererako. Era ne bw’oba ng’oyogera ku nsonga ezitali nkulu nnyo, kisaanira okwongeza ku sipiidi. Bw’okyusakyusa mu sipiidi ng’oyogera, emboozi yo esobola okunyumira abawuliriza. Ku luuyi olulala, bw’oba ng’oyogera ku nsonga enkulu oba ng’otuuse ku ntikko y’emboozi yo, kiba kyetaagisa okukendeeza ku sipiidi gy’oyogerako.
Kyusakyusa mu Mpulikika y’Eddoboozi Lyo. Kuba akafaananyi ng’omuntu asuna endongo okumala essaawa nnamba oba n’okusingawo. Ekiseera kino kyonna, asuna olukoba lumu—okusooka akuba ng’ayanguyiriza ate n’amala n’akendeeza sipiidi. Kyokka, wadde nga akyusakyusa mu sipiidi, abawuliriza tebajja kunyumirwa kubanga eddoboozi ly’olukoba lw’asuna lisigala nga lye limu. Mu ngeri y’emu, omuntu bw’atakyusakyusa mu mpulikika y’eddoboozi lye, abawuliriza tebayinza kunyumirwa by’ayogera.
Okukyusakyusa mu mpulikika y’eddoboozi kisobola okuwa amakulu ag’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, omuntu asobola okubaako ky’aggumiza oba okulaga obunene oba obuwanvu bw’ekintu ng’akyusa mu ngeri eddoboozi lye gye liwulikikamu. Eddoboozi bwe liwulikika nga lyambuka, kiba kitegeeza nti alina ky’abuuza.
Omuntu bw’acamuka eddoboozi lye liyinza okuwulikika nga liri waggulu. Bw’aba omunakuwavu oba ng’atidde eddoboozi lye liyinza okuwulikika nga liri wansi. Omwogezi bw’ayoleka enneewulira ng’ezo mu ddoboozi lye, kimusobozesa okutuuka ku mitima gy’abawuliriza. Bw’oba oyagala okwoleka enneewulira ng’ezo, toyogera bwogezi bigambo. Yogera mu ddoboozi eryolekera ddala engeri gy’owuliramu.
Okweteekateeka. Kati olwo otandika ddi okweteekerateekera okukyusakyusa mu ddoboozi? Ng’otegeka emboozi yo. Singa emboozi yo ogitegeka ng’ekigendererwa kyo kya kunnyonnyola bunnyonnyozi, oba kukubiriza bukubiriza bawuliriza okubaako kye bakola, kiyinza obutakubeerera kyangu kukyusakyusa mu ddoboozi lyo. N’olwekyo, bw’oba otegeka ekiwandiiko okuli ensonga emboozi kw’ezimbirwa, gezaako okulaba nti engeri gy’ogitegekamu eneekusobozesa okukyusakyusa mu ddoboozi lyo ng’ogiwa.
Kiba kitya singa oba owa emboozi n’owulira nti kikwetaagisa okukyusa mu ddoboozi? Kiki ky’oyinza okukola? Kyusaako mu ngeri gy’obadde owaamu emboozi yo. Kino oyinza kukikola otya? Mu kifo ky’okwogera obwogezi, oyinza okusaba abawuliriza babikkule mu Baibuli zaabwe bagoberere ng’osoma ekyawandiikibwa. Oba, ebintu ebimu by’obadde ogenda okubategeeza obutegeeza oyinza okubikyusa n’obifuula ebibuuzo, era oyinza n’okusiriikiriramu katono osobole okubikkaatiriza. Oyinza okuwaayo ekyokulabirako. Aboogezi abalina obumanyirivu beeyambisa nnyo engeri zino. K’obe ng’olina bumanyirivu bwenkana wa, osobola okweyambisa amagezi gano ng’oteekateeka emboozi yo.
Awatali kubuusabuusa omuntu bw’akyusakyusa obulungi eddoboozi lye, abawuliriza bajja kunyumirwa by’ayogera.