Okyajjukira?
Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu mwaka guno? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
Tuganyulwa tutya bwe tuwaayo obudde okwogerako ne Yakuwa, okumuwuliriza, n’okumulowoozaako?
Tujja kusalawo mu ngeri ey’amagezi, okuba abasomesa abalungi, okukkiriza kwaffe kujja kweyongera okunywera, era n’okwagala kwe tulina eri Yakuwa kujja kweyongera.—w22.01, lup. 30-31.
Tunaaganyulwa tutya bwe tuneesiga Yakuwa n’abo b’akozesa?
Kino kye kiseera okuyiga okwesiga Katonda, era n’obutabuusabuusa ebyo abakadde bye baba basazeewo n’obulagirizi bwe baba batuwadde. Ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatuuka, tujja kuba beetegefu okugoberera obulagirizi bwonna obunaaba butuweereddwa ne bwe bunaaba nga bulabika ng’obutakola.—w22.02, lup. 4-6.
Malayika yali ategeeza ki bwe yogera ne nnabbi Zekkaliya ku ‘bbirigi eyali mu mukono gwa Gavana Zerubbaberi’? (Zek. 4:8-10)
Okwolesebwa okwo kwakakasa abantu ba Katonda nti yeekaalu eyali ezimbibwa yandimaliriziddwa, era nti yandituukanye n’omutindo gwa Katonda.—w22.03, lup. 16-17.
Tuyinza tutya okuba ‘ekyokulabirako mu kwogera’? (1 Tim. 4:12)
Tulina okwogera ebigambo eby’ekisa era ebiweesa abalala ekitiibwa nga tuli mu buweereza, okuyimba n’omutima gwaffe gwonna, okwenyigira mu nkuŋŋaana obutayosa, okwogera amazima n’okuzimba abalala, era n’obutakozesa bigambo ebivuma.—w22.04, lup. 6-9.
Lwaki ebyo eyogerwa ku nsolo ennya (obwakabaka obw’emirundi ena) ezoogerwako mu Danyeri essuula 7 bifaanana n’ebyo ebyogerwa ku nsolo emu eyogerwako mu Okubikkulirwa 13:1, 2?
Ensolo eyogerwako mu Okubikkulirwa 13 tekiikirira bwakabaka bwa mulundi gumu gwokka, gamba nga Rooma. Wabula, ekiikirira obufuzi bwonna kirimaanyi obuzze bufuga abantu.—w22.05, lup. 9.
Engeri enkulu gye tuyinza okulagamu nti twesiga Yakuwa nti Katonda mwenkanya y’eruwa?
Omuntu bw’atuyisa obubi oba bw’akola ekintu ekitunyiiza, tetusiba kiruyi era tetwesasuza wabula ensonga tuzirekera Yakuwa. Ajja kuggyawo ebizibu byonna bye tufuna olw’ekibi kye twasikira.—w22.06, lup. 10-11.
Kiki ow’oluganda akiikirira abalala mu kusaba mu nkuŋŋaana ky’asaanidde okujjukira?
Okusaba tekusaanidde kukozesebwa kuwabula bawuliriza oba okuyisa ekirango. Ate era tekyetaagisa kukozesa ‘bigambo bingi,’ naddala ng’olukuŋŋaana lugenda kutandika. (Mat. 6:7)—w22.07, lup. 24-25.
Mu ngeri ki abo “abaakolanga ebintu ebibi” gye bajja ‘okuzuukirira omusango’? (Yok. 5:29)
Tebajja kuvunaanibwa okusinziira ku ebyo bye baakola nga tebannafa. Wabula bajja kulamulwa okusinziira ku ndowooza gye banaaba nayo, era n’engeri gye banneeyisaamu oluvannyuma lw’okuzuukira.—w22.09, lup. 18.
Kiki J. F. Rutherford kye yakubiriza abaali bamuwuliriza okukola, mu lukuŋŋaana olwaliwo mu Ssebutemba 1922?
Mu lukuŋŋaana olwaliwo mu Cedar Point, Ohio, mu Amerika, ow’Oluganda Rutherford yagamba nti: “Kabaka kati afuga. Mmwe babaka be abatumiddwa okulangirira obubaka buno. N’olwekyo, mulangirire, mulangirire, mulangirire Kabaka n’Obwakabaka bwe!”—w22.10, lup. 3-5.
Isaaya essuula 30 eyogera ku ngeri ki essatu Yakuwa z’atuyambamu okugumiikiriza?
Essuula eyo eraga nti (1) Yakuwa awuliriza okusaba kwaffe era akuddamu, (2) atuwa obulagirizi, ne (3) atuwa emikisa kati era ajja kutuwa emikisa ne mu biseera eby’omu maaso.—w22.11, lup. 9.
Lwaki tuyinza okugamba nti ebigambo ebiri mu Zabbuli 37:10, 11, 29 byatuukirizibwa mu biseera eby’edda era bijja kutuukirizibwa ne mu biseera eby’omu maaso?
Ebigambo bya Dawudi ebiri mu nnyiriri ezo biraga embeera ennungi eyaliwo mu Isirayiri, gamba nga mu kiseera ky’obufuzi bwa Sulemaani. Yesu yayogera ku lusuku lwa Katonda olujja okubaawo ku nsi mu biseera eby’omu maaso, era yajuliza ebigambo ebiri mu lunyiriri 11. (Mat. 5:5; Luk. 23:43)—w22.12, lup. 8-10, 14.