Wa w’osobola okufuna obulagirizi obwesigika leero?
Mu nsi eno ekyukakyuka, oyinza otya okuba omukakafu nti ebyo by’osalawo binaavaamu ebirungi? Oyinza otya okuba omukakafu nti ekyo ekitwalibwa ng’ekituufu leero, enkya tekijja kutwalibwa nti kikyamu?
Bayibuli esobola okukuyamba okusalawo mu ngeri etajja kukuviirako kwejjusa. Ekyo kisoboka kitya? Omutonzi waffe ye yawandiisa Bayibuli, era amanyi ebyo bye twetaaga okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala, n’okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.
“Akubuulidde ggwe. .* . ekirungi.”—Mikka 6:8.
Tusobola okwesiga amagezi agali mu Bayibuli kubanga ‘geesigika buli kiseera; geesigika kaakano era n’emirembe n’emirembe.’—Zabbuli 111:8.
Lwaki tosoma Bayibuli n’olaba engeri gy’esobola okukuyambamu mu nsi eno ekyukakyuka?