LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g16 Na. 4 lup. 5
  • 2 Weegendereze Embeera Gye Weeteekamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 2 Weegendereze Embeera Gye Weeteekamu
  • Zuukuka!—2016
  • Similar Material
  • 1 Tosuubira Bitasoboka
    Zuukuka!—2016
  • Ennyanjula
    Zuukuka!—2016
  • Ennyanjula
    Zuukuka!—2017
  • Okwemanyiiza Okukola Ebintu Ebikuganyula
    Zuukuka!—2016
See More
Zuukuka!—2016
g16 Na. 4 lup. 5
Engoye ezikolerwamu dduyiro, engatto, eccupa y’amazzi, ne kaleediyo ebyategekeddwa eggulo limu

OMUTWE OGULI KUNGULU | ENGERI GY’OYINZA OKWEMANYIIZA OKUKOLA EBINTU EBIKUGANYULA

2 Weegendereze Embeera Gye Weeteekamu

  • Oyinza okuba omaliridde okwewala emmere etali nnungi eri omubiri gwo, naye oboolyawo ne baleeta ekitole kya ice cream ne kikusaaliza.

  • Wasalawo obutaddamu kunywa ssigala, naye mukwano gwo akimanyiiko nti oyagala okuva ku muze ogwo ajja gy’oli n’akuwa omunwe gwa ssigala.

  • Wabadde n’enteekateeka ey’okukola dduyiro leero, naye olaba ng’okutandika okunoonya engatto z’onooddukiramu mulimu gwa maanyi!

Kiki kye weetegerezza mu mbeera ezo? Emirundi mingi embeera gye tweteekamu oba abantu be tubaamu bayinza okukifuula ekizibu oba ekyangu gye tuli okukulaakulanya ebintu ebirungi oba okweggyamu emize emibi.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka, naye atalina bumanyirivu agenda bugenzi mu maaso n’agwa mu mitawaana.”​—Engero 22:3.

Bayibuli etukubiriza okulengerera ewala ebintu. Bwe tukola tutyo, tusobola okwewala embeera eziyinza okutulemesa okutuuka ku biruubirirwa byaffe era ne tweteeka mu mbeera eziyinza okukifuula ekyangu gye tuli okutuuka ku biruubirirwa byaffe. (2 Timoseewo 2:​22) N’olwekyo, kikulu okwegendereza embeera gye tweteekamu.

Teekawo embeera ekifuula ekizibu gy’oli okukola ekikyamu ate ng’ekifuula kyangu gy’oli okukola ekituufu

KY’OYINZA OKUKOLA

  • Teekawo embeera ekifuula ekizibu gy’oli okukola ekintu ekikyamu. Ng’ekyokulabirako, bwe kiba nti oyagala kulekera awo okulya emmere etali nnungi eri omubiri gwo, fuba okulaba nti emmere eyo togireeta waka. Bw’okola bw’otyo, ne bw’oyoya emmere eyo, kikubeerera kizibu okugirya kubanga tebaawo.

  • Teekawo embeera ekifuula ekyangu gy’oli okukola ekintu ekituufu. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’oteekateeka okukola dduyiro ku makya, engoye z’onookoleramu zitegeke ggulo limu. By’ogenda okukozesa bwe biba okumpi awo, kiba kyangu okukola ky’oba wateeseteese okukola.

  • Weegendereze abo b’ofuula mikwano gyo. Emirundi mingi tutera okweyisa ng’abantu be tubeera ennyo nabo. (1 Abakkolinso 15:33) N’olwekyo, weewale okubeera n’abantu abayinza okukulemesa okwekutula ku mize gy’ogezaako okweggyamu, era ofube okubeera n’abantu abakukubiriza okukola ebintu ebirungi.

EBYAWANDIIKIBWA EBIRALA EBISOBOLA OKUKUYAMBA

“Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi.”​—Engero 13:20.

“Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi.”​—Engero 21:5.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share