LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g16 Na. 4 lup. 6
  • 3 Tokoowa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 3 Tokoowa
  • Zuukuka!—2016
  • Similar Material
  • Osobola Okutuuka ku Biruubirirwa Byo eby’eby’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Okwemanyiiza Okukola Ebintu Ebikuganyula
    Zuukuka!—2016
  • 1 Tosuubira Bitasoboka
    Zuukuka!—2016
  • Weeteerewo Ekiruubirirwa eky’Okufuna Omuyizi wa Baibuli
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
See More
Zuukuka!—2016
g16 Na. 4 lup. 6
Omukazi ng’alamba ku kalenda

OMUTWE OGULI KUNGULU | ENGERI GY’OYINZA OKWEMANYIIZA OKUKOLA EBINTU EBIKUGANYULA

3 Tokoowa

Omukazi ng’alamba ku kalenda

Waliwo abagamba nti omuntu kimutwalira ennaku 21 okwemanyiiza okukola ekintu ekirungi. Naye ekituufu kiri nti, abantu abamu kibatwalira ennaku ntonoko okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe, ate abalala kibatwalira ekiseera kiwanvu ddala. Ekyo kyandikumazeemu amaanyi?

Lowooza ku mbeera eno: Ka tugambe nti oyagala okutandika okukola dduyiro emirundi esatu buli wiiki.

  • Wiiki esooka, otuuka ku kiruubirirwa kyo.

  • Wiiki ey’okubiri, oyosaamu olunaku lumu.

  • Wiiki ey’okusatu, otuuka ku kiruubirirwa kyo.

  • Wiiki ey’okuna, olemererwa okukola dduyiro wadde olunaku olumu.

  • Wiiki ey’okutaano, otuuka ku kiruubirirwa kyo, era okuva olwo toddamu kwosa kukola dduyiro.

Kiba kikutwalidde wiiki ttaano okwemanyiiza okukola dduyiro. Kiyinza okulabika ng’ekiseera ekiwanvu, naye bw’omala okutuuka ku kiruubirirwa kyo ekyo, kikuleetera essanyu lingi olw’okuba weemanyiizizza okukola ekintu ekikuganyula.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Omutuukirivu ayinza okugwa emirundi musanvu, naye addamu n’ayimuka.”​—Engero 24:16.

Bayibuli etukubiriza obutakoowa. Ekikulu si gye mirundi emeka gy’oba ogudde, wabula gye mirundi emeka gy’oba oyimuse.

Ekikulu si gye mirundi emeka gy’oba ogudde, wabula gye mirundi gy’oba oyimuse

KY’OYINZA OKUKOLA

  • Bw’ogwa, tokitwala nti olemereddwa ddala. Emirundi egimu oyinza okulemererwa okukola ekyo ky’oyagala okukola.

  • Ebirowoozo byo bisse ku mirundi gy’osobodde okukola ekituufu. Ng’ekyokulabirako, bwe kiba nti oyagala kulongoosa mu ngeri gy’oyogeramu n’abaana bo, weebuuze: ‘Ddi lwe nnasembayo okuwulira nga njagala okuboggolera omwana wange naye ne simuboggolera? Mu kifo ky’ekyo, kiki kye nnakola? Ekyo nnyinza ntya okuddamu okukikola?’ Okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo kisobola okukuyamba okumalirira okukola ekituufu mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku mirundi gy’oba olemereddwa okukola ekituufu.

Wandyagadde okumanya engeri Bayibuli gy’esobola okukuyamba ng’oyolekagana n’ebintu ebikweraliikiriza, ng’oyagala okufuna essanyu mu maka, oba ng’oyagala okufuna essanyu erya nnamaddala? Yogerako n’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa oba genda ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, jw.org/lg.

EBYAWANDIIKIBWA EBIRALA EBISOBOLA OKUKUYAMBA

“Amaaso go gatunulenga butereevu mu maaso.”​—Engero 4:25.

“Nneerabira ebintu eby’emabega ne nduubirira eby’omu maaso, nga nfuba okutuuka ku kiruubirirwa.”​—Abafiripi 3:13, 14.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share