Weeteerewo Ekiruubirirwa eky’Okufuna Omuyizi wa Baibuli
1 “Muyimuse amaaso mulabe ennimiro nga zimaze okutukula okukungulibwa.” (Yok. 4:35) Ebigambo bya Yesu ebyo, bituukagana bulungi n’embeera Abakristaayo gye balimu leero.
2 Na guno gujwa tukyasanga abantu abaagala okuyiga amakubo ga Yakuwa. Kino kirabikira ku muwendo gw’abayigirizwa abapya ababatizibwa buli mwaka. Bw’oba nga ddala oyagala okufuna omuyizi wa Baibuli, kiki kye wandikoze?
3 Ssaawo Ekiruubirirwa: Okusookera ddala, weeteerewo ekiruubirirwa eky’okufuna omuyizi wa Baibuli. Buulira ng’olina ekiruubirirwa ekyo. Okuva bwe kiri nti omulimu gwaffe ng’Abakristaayo guzingiramu okuyigiriza n’okubuulira, fenna tusaanidde okufuba ennyo okufuna abayizi ba Baibuli.—Mat. 24:14; 28:19, 20.
4 Ebirala eby’Okulowoozaako: Ababuulizi b’Obwakabaka bonna bateekwa okusaba mu bwesimbu. Oluusi tusanga abantu ababa basabye Katonda abayambe okumutegeera. Nga nkizo ya maanyi nnyo okuba nti Yakuwa atukozesa ne tusobola okusanga abantu abalinga abo era ne tubayigiriza!—Kag. 2:7; Bik. 10:1, 2.
5 Mwannyinaffe omu yasaba Yakuwa amuyambe okufuna omuyizi wa Baibuli era n’ateeka tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? mu kifo abalala we basobola okugirabira amangu ku mulimu gy’akolera. Omukyala omu bwe yatoola emu ku tulakiti ezo, yagisoma era n’atandika okujjuzaamu endagiriro ye. Mwannyinaffe oyo yayogera n’omukyala ono era oluvannyuma n’atandika okusoma naye Baibuli.
6 Babuulizi banno abalina obumanyirivu mu kuyigiriza abantu Baibuli basobola okukuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyo eky’okufuna gw’oyigiriza Baibuli. Saba Yakuwa akuyambe era ofube okutuuka ku kiruubirirwa kyo ng’okozesa obuyambi bwonna bw’atuwa. Oboolyawo mu kiseera ekitali kya wala ojja kufuna essanyu eriva mu kuyigiriza omuntu Baibuli.