LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g17 Na. 2 lup. 4-6
  • Kiki Bayibuli ky’Eyogera ku by’Obusamize?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kiki Bayibuli ky’Eyogera ku by’Obusamize?
  • Zuukuka!—2017
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENSIBUKO Y’EBY’OBUSAMIZE
  • Kkiriza Obuyambi bwa Yakuwa Osobole Okuziyiza Emyoyo Emibi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Ziyiza Emyoyo Emibi
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Kabi Ki Akali mu by’Obusamize?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Ebitonde eby’Omwoyo—Engeri Gye Bitukwatako
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Zuukuka!—2017
g17 Na. 2 lup. 4-6
Omwami ne mukyala we nga balaba akalango ka firimu ekwata ku by’obusamize ku ttivi

Wadde nga mu firimu nnyingi batera okulaga nti ebikolwa eby’obusamize tebirina mutawaana, tusaanidde okukimanya nti bya kabi

OMUTWE OGULI KUNGULU | KIKI EKIRI EMABEGA KIKI EKIRI EMABEGA W’AMAANYI AGATALI GA BULIJJO?

Kiki Bayibuli ky’Eyogera ku by’Obusamize?

WADDE ng’abantu abasinga obungi leero eky’okulaba firimu n’okusoma ebitabo ebirimu eby’obusamize oba abantu abakozesa amaanyi agatali ga bulijjo bakitwala ng’ekitalina mutawaana gwonna, yo Bayibuli eraga nti kya kabi nnyo. Bayibuli etulagira okwewala eby’obusamize. Ng’ekyokulabirako, Ekyamateeka 18:10-13 wagamba nti: “Tewalabikanga mu ggwe omuntu yenna . . . akola eby’obulaguzi, oba akola eby’obufumu, oba anoonya obubonero okulagulwa, oba omusamize, oba omulogo, oba eyeebuuza ku mulubaale, oba alagula ebiribaawo mu maaso, oba eyeebuuza ku bafu.” Lwaki? Bayibuli egattako nti: “Kubanga buli akola ebintu ebyo Yakuwa amukyayira ddala . . . Tobangako kya kunenyezebwa mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.”

Lwaki Bayibuli evumirira nnyo eby’obusamize?

ENSIBUKO Y’EBY’OBUSAMIZE

Bayibuli eraga nti Katonda bwe yali tannatonda nsi, yatonda obukadde n’obukadde bw’ebitonde eby’omwoyo, oba bamalayika. (Yobu 38:4, 7; Okubikkulirwa 5:11) Buli omu ku bamalayika abo Katonda yamuwa eddembe ery’okwesalirawo, ng’asobola okusalawo okukola ekirungi oba ekibi. Abamu ku bamalayika abo baasalawo okujeemera Katonda ne baleka ebifo byabwe mu ggulu ne bajja ku nsi okugitabangula. N’ekyavaamu ensi ‘yajjula ebikolwa eby’obukambwe.’—Olubereberye 6:2-5, 11; Yuda 6.

Bayibuli egamba nti bamalayika abo ababi babuzaabuza obukadde n’obukadde bw’abantu. (Okubikkulirwa 12:9) Era olw’okuba bakimanyi nti abantu baagala nnyo okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, ekyo nakyo bakikozesa okubabuzaabuza.—1 Samwiri 28:5, 7; 1 Timoseewo 4:1.

Oluusi amaanyi agatali ga bulijjo galabika ng’agayamba abantu. (2 Abakkolinso 11:14) Naye ekituufu kiri nti bamalayika ababi be bali emabega w’amaanyi ago nga balina ekigendererwa eky’okulemesa abantu okumanya amazima agakwata ku Katonda.—2 Abakkolinso 4:4.

N’olwekyo, Bayibuli eraga nti kya kabi nnyo okukolagana n’emyoyo emibi. Eyo ye nsonga lwaki abantu abaali baagala okufuuka abagoberezi ba Yesu bwe baamanya ensibuko y’ebikolwa eby’obusamize, ‘abo abaakolanga eby’obufumu baaleeta ebitabo byabwe ne babyokya,’ wadde nga byali bya ssente nnyingi.—Ebikolwa 19:19.

Omukazi ng’asoma ekitabo ekyogera ku bantu abalina amaanyi agatali ga bulijjo

“Okuba nti abawala bangi leero beeyongedde okukkiririza mu by’obusamize kivudde ku kuba nti mu bitabo ne mu firimu nnyingi mulimu abakazi abalabika obulungi abakozesa amaanyi agatali ga bulijjo.”—Gallup Youth Survey, 2014

Ne leero waliwo bangi abeekutudde ku bikolwa eby’obusamize n’eby’okwesanyusaamu ebirimu eby’obusamize. Ng’ekyokulabirako, Mariaa bwe yali wa myaka 12, yateranga okuteebereza ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso era ne bituukirira. Yakozesanga kaadi n’ategeeza bayizi banne ebinaabaawo mu maaso. Olw’okuba bye yabagambanga byatuukiriranga, Maria yeeyongera okwettanira ennyo eby’obulaguzi.

Maria yali alowooza nti Katonda yali amuwadde ekirabo ekyo okuyamba abantu. Agamba nti: “Naye waliwo ekintu ekyansobera. Nnalinga nsobola okusoma kaadi ne ntegeeza abalala ebinaabatuukako mu biseera eby’omu maaso. Naye nnali sisobola kuzikozesa kumanya byandintuuseeko mu biseera eby’omu maaso.”

Maria yalina ebibuuzo bingi bye yali yeebuuza, era bw’atyo yasaba Katonda amuyambe. Oluvannyuma Abajulirwa ba Yakuwa baamutuukirira ne batandika okumuyigiriza Bayibuli. Maria yakimanya nti obusobozi bwe yalina obw’okulagula ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso bwali tebuva eri Katonda. Era yakimanya nti abo abaagala okuba mikwano gya Katonda balina okweggyako ebintu byonna ebirina akakwate n’eby’obusamize. (1 Abakkolinso 10:21) Kiki kye yakola? Maria yeggyako ebintu byonna bye yakozesanga mu kulagula. Kati Maria ayamba abantu abalala okumanya amazima agali mu Bayibuli.

Michael bwe yali ng’akyali mutiini, yanyumirwanga nnyo okusoma ebitabo ebyogera ku bantu abakozesa amaanyi agatali ga bulijjo. Agamba nti: “Nnanyumirwanga nnyo okusoma ku baana ab’emyaka gyange abaalina amaanyi agatali ga bulijjo.” Mpolampola, Michael yeeyongera okwagala ennyo okusoma ku bitabo ebyogera ku by’obufuusa ne ku maanyi ga Sitaani. Agamba nti: “Okwagala ennyo okumanya ebikwata ku maanyi ago kyandeetera okulabanga firimu n’okusoma ebitabo ebikwata ku maanyi ago.”

Kyokka Michael bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yakiraba nti yalina okwegendereza ebintu bye yali asoma. Agamba nti: “Nnakola olukalala lw’ebintu byonna ebyalina akakwate n’eby’obusamize ne mbyeggyako. Nnayiga ekintu ekikulu ennyo. Mu 1 Abakkolinso 10:31 tusoma nti: ‘Mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.’ Kati bwe mba sinnasoma kitabo kyonna nsooka kwebuuza, ‘Okusoma ekitabo kino kinandeetera obutaweesa linnya lya Katonda kitiibwa?’ Bwe kiba kityo, nneewala okukisoma.”

Omukazi ng’ali ku mukutu gwa jw.org

Bayibuli ttaala emulisa ekkubo lyaffe. Bayibuli etuyamba okumanya ani ali emabega w’ebikolwa eby’obusamize. (Zabbuli 119:105) Kyokka era etubuulira n’ekintu ekirala ekituleetera essanyu. Etugamba nti ekiseera kijja kutuuka ensi yonna ebe nga tekyalimu myoyo mibi. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 37:10, 11 wagamba nti: “Mu kaseera katono, ababi tebalibaawo;olitunula we baabeeranga, naye tebalibaawo. Naye abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”

a Amannya mu kitundu kino gakyusiddwa.

Eby’Obusamize Kye Ki?

Ebimu ku bintu eby’obusamize abantu bye beenyigiramu bye bino: okulaguzisa emmunyeenye, okuloga, n’okusawula. Mu bitundu by’ensi bingi abantu boogera n’emyoyo emibi okuyitira mu mulaguzi oba mu musawo ow’ekinnansi. Abamu beenyigira mu by’obulaguzi nga baagala okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Kino bakikola nga batunuulira emmunyeenye, nga banoonya obubonero, oba nga batunula mu bibatu.

Ebitabo, magazini, ne firimu nnyingi biraga nti eby’obusamize binyuma era nti tebirina kabi. Abanoonyereza abamu bagamba nti firimu ne programu za ttivi bye bimu ku bintu ebisinze okuleetera abantu okukkiririza mu maanyi agatali ga bulijjo.

Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?

Okumanya ebisingawo, soma essuula 10 ey’akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? Kakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa era osobola okukawanula ku mukutu gwaffe ogwa jw.org/lg. Osobola n’okukozesa code eno.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share