Kabi Ki Akali mu by’Obusamize?
Okuva mu buvubuka bwe, omukyala ayitibwa Barbaraa yalootanga, yawuliranga amaloboozi, era yali mukakafu nti yali awuliziganya n’ab’eŋŋanda ze abaafa. Ye n’omwami we Joachim, baasomanga ebitabo ebikwata ku by’obusamize ne bafuuka bakugu mu kulaguzisa bukaadi. Bukaadi obwo bwabalaga nti baali ba kufuna ssente nnyingi mu bizineesi yaabwe, era ne bazifuna. Lumu, bukaadi bwabalaga nti abantu ab’omutawaana baali bagenda kujja mu maka gaabwe, era ne bubalaga n’engeri gye basaanidde okwekuumamu.
WADDE ng’eby’obusamize biyinza okulabika ng’ebyava ku mulembe, ababikkiririzaamu beeyongedde. Abantu bangi okwetooloola ensi beesiba yirizi, bagenda mu basamize babalagule oba bafune obukuumi. Ekitundu ekirina omutwe, “Laptop and Lucifer” ekyafulumira mu magazini y’omu Bugirimaani eyitibwa Focus kyagamba nti: “Intaneeti ereetedde abantu okwongera okwagala eby’obusamize.”
Omanyi ekyo Bayibuli ky’eyogera ku by’obusamize? Ky’eyogera ku nsonga eyo kiyinza okukwewuunyisa.
Bayibuli ky’Eyogera ku by’Obusamize
Etteeka Katonda lye yawa abantu be mu Isiraeri ey’edda ligamba nti: “Tewalabikanga gy’oli muntu yenna . . . akola eby’obufumu, newakubadde alaguza ebire, newakubadde omulogo, newakubadde omuganga, newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emmandwa, newakubadde abuuza abafu. Kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama.” (Ekyamateeka 18:10-12) Lwaki Katonda yagaana abantu be okwenyigira mu by’obusamize?
Ng’ekyokulabirako ekiri ku ntandikwa y’ekitundu kino bwe kiraga, bangi bakkiriza nti abalamu basobola okwogera n’abafu era nti obubaka bwe bafuna okuyitira mu by’obusamize buva eri abafu. Ekyo amadiini mangi kye gayigiriza kye kireetera abantu okuba n’enzikiriza ng’eyo. Gayigiriza nti omuntu tafiira ddala, wabula yeeyongera okuba omulamu mu ttwale ery’emyoyo. Kyokka, Bayibuli ekiraga bulungi nti: “Abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) Eraga nti abafu balinga abali mu tulo otw’amaanyi, tebamanyidde ddala kigenda mu maaso.b (Matayo 9:18, 24; Yokaana 11:11-14) Bwe kiba nga bwe kityo bwe kiri, oyinza okwebuuza nti, lwaki waliwo abagamba nti boogera n’abantu abaafa? Baba boogera n’ani?
Okwogera n’Emyoyo
Ebiri mu bitabo by’Enjiri biraga nti,Yesu bwe yali ku nsi yayogeranga n’emyoyo. Makko 1:23, 24 woogera ku ‘mwoyo omubi’ ogwagamba Yesu nti: “Nkimanyidde ddala nti ggwe Mutukuvu wa Katonda.” Omwoyo ogwo gwali gumanyi Yesu. Tewali kubuusabuusa nti naawe emyoyo gikumanyi. Naye ggwe ogimanyi?
Katonda bwe yali tannatonda bantu, yasooka kutonda obukadde n’obukadde bw’abaana be ab’omwoyo oba bamalayika. (Yobu 38:4-7) Bamalayika balina obulamu bwa waggulu okusinga obw’abantu. (Abebbulaniya 2:6, 7) Ba maanyi era bagezi nnyo, era baatondebwa okukola Katonda by’ayagala. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be: mmwe abazira ab’amaanyi, abatuukiriza ekigambo kye.”—Zabbuli 103:20.
Bayibuli eraga nti nga wayiseewo ekiseera, bamalayika abamu baatandika okukolagana n’abantu mu ngeri enkyamu. Baalina kigendererwa ki? Kya kuggya bantu ku Katonda. Malayika eyasookera ddala okukola ekyo, yalimba Adamu ne Kaawa abantu abaasooka, n’abaggya ku Mutonzi waabwe. Mu kukola bw’atyo, yeefuula Sitaani Omulyolyomi, awaayiriza era aziyiza Katonda.—Olubereberye 3:1-6.
Oluvannyuma, bamalayika abalala ‘baaleka ebifo byabwe ebituufu bye baalina okubeeramu’ mu ggulu, ne bajja ku nsi ne beeyambaza emibiri gy’abantu era ne bawasa abakazi abalabika obulungi. (Yuda 6; Olubereberye 6:1, 2) Bamalayika abo abajeemu awamu n’abaana baabwe abawagguufu, baabonyaabonya nnyo abantu, ensi yonna “n’ejjula eddalu.” Wandiba ng’omanyi bulungi ebyo ebiri mu Bayibuli ebikwata ku ngeri Katonda gye yazikirizaamu omulembe ogwo ogwali omubi ng’akozesa amataba ag’omu kiseera kya Nuuwa.—Olubereberye 6:3, 4, 11-13.
Amataba bwe gajja bamalayika baawalirizibwa okweyambula emibiri gy’abantu ne baddayo mu ggulu. Naye Omutonzi teyabakkiriza kudda “mu bifo byabwe” bye baabeerangamu. Wabula, akyabakuumira mu mbeera embi egeraageranyizibwa ku kubeera mu ‘bunnya obukutte ekizikiza.’ (2 Peetero 2:4, 5) Bamalayika abajeemu Bayibuli ebayita “dayimooni.” (Yakobo 2:19) Dayimooni ezo y’ensibuko y’amaanyi ag’eby’obusamize.
Dayimooni Kye Zaagala
Ekiruubirirwa ky’emyoyo emibi egyogera n’abantu okusookera ddala kwe kubaggya ku kusinza Yakuwa, Katonda ow’amazima. Ebintu ebyewuunyisa abasamize bye bakola oba amaanyi ge bagamba nti balina bireetera buleetezi bantu kuwugulibwa ne batafuna kumanya kutuufu kukwata ku Katonda n’okuba n’enkolagana ennungi naye.
Ekigendererwa kya dayimooni ekyokubiri tusobola okukitegeerera ku ekyo Sitaani omukulembeze waazo kye yagamba Yesu okukola. Sitaani yasuubiza Yesu “obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo.” Kiki Sitaani kye yali ayagala Yesu akole? Yali ayagala Yesu ‘avunname amusinze.’ Ekyo kiraga bulungi nti Sitaani ne dayimooni baagala okusinzibwa. Naye Yesu yanywerera ku Katonda ne ku kusinza okw’amazima.—Matayo 4:8-10.
Leero, emyoyo emibi tegitera kwogera na bantu butereevu nga bwe gyayogera ne Yesu. Mu kifo ky’ekyo, gigezaako okubuzaabuza abo abatamanyi bukodyo bwagyo nga giyitira mu bintu ebirabika ng’ebitali bya bulabe, gamba nga, okwesiba yirizi, okulaguzisa bukaadi, n’okulaguzisa emmunyeenye. Tokkiriza kubuzaabuzibwa bintu ng’ebyo, era tolowooza nti tebirina bulabe bwonna. Nga giyitira mu by’obusamize, emyoyo emibi gikola ebintu ebyewuunyisa okubuzaabuza abantu nga girina ekigendererwa eky’okubalemesa okusinza Yakuwa. Bwe giremererwa okutuuka ku kiruubirirwa kyagyo mu ngeri eyo, gitera okutulugunya n’okubonyaabonya abo abalina akakwate n’eby’obusamize. Bwe kiba nti otera okutawaanyizibwa emyoyo emibi, kiki ky’oyinza okukola okugyekutulako?
Engeri y’Okwekutula ku by’Obusamize
Tobuzaabuzibwa, emyoyo egyogera n’abantu balabe ba Katonda, era girindiridde okuzikirizibwa. (Yuda 6) Gyefuula kye gitali era mirimba, gyefuula abantu abaafa. Wandiwulidde otya singa okizuula nti oyo ayagala okufuuka mukwano gwo yeefuula ky’atali era ayagala kukuggya ku biruubirirwa byo ebirungi? Wandikoze ki singa okizuula nti oyo gw’okolagana naye ku Intaneeti mugwenyufu? Okukolagana ne dayimooni kya kabi nnyo n’okusingawo. Weetaaga okukola kyonna ekisoboka okwekutula ku dayimooni. Kiki ky’oyinza okukola?
Oluvannyuma lw’okumanya ekyo Ebyawandiikibwa kye biyigiriza ku by’obusamize, abamu ku bantu abaabeeranga mu Efeso baalaba nti kyali kyetaagisa okusaanyaawo ebitabo byabwe ebyali byekuusa ku by’obusamize wadde nga byali bya ssente nnyingi. ‘Baabyokera mu maaso g’abantu bonna.’ (Ebikolwa 19:19, 20) Leero, ebintu ebyekuusa ku by’obusamize tebizingiramu bitabo byokka, yirizi n’ebintu ebiringa ebyo, naye bizingiramu n’ebyo ebibeera ku mikutu gy’empuliziganya. Weewale ekintu kyonna ekirina akakwate n’eby’obusamize.
Jjukira abafumbo abaayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino. Okusinziira ku ekyo bukaadi bwabwe kye bwabalaga, baali balowooza nti abantu abaali bagenda okujja mu maka gaabwe baali babi, era nti baali tebalina kubawuliriza wadde okukkiriza ekintu kyonna okuva gye bali. Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa babiri, Connie ne Gudrun, bwe bajja mu maka gaabwe ne babagamba nti babaleetedde amawulire amalungi agakwata ku Katonda, Joachim ne Barbara baasalawo okubawuliriza. Baayogera ku by’obusamize, era Connie ne Gudrun baabalaga ekyo Ebyawandiikibwa kye byogera ku nsonga eyo. Baatandika okuyiga Bayibuli obutayosa.
Nga wayiseewo ekiseera kitono, Joachim ne Barbara beggyako ebintu byonna ebirina akakwate ne dayimooni. Abajulirwa ba Yakuwa baabannyonnyola nti ekyo kye baakola kyali tekijja kusanyusa myoyo mibi. Mu butuufu, Joachim ne Barbara baafuna ebizibu era dayimooni zaabalumbanga. Buli kiro baabanga mu kutya okutuusa lwe baasengukira mu nnyumba endala ne balyoka bafuna obuweerero. Mu mbeera eyo enzibu, abafumbo abo bazzibwangamu nnyo amaanyi buli lwe baafumiitirizanga ku bigambo ebiri mu Abafiripi 4:13 awagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” Olw’okufuba kwabwe, Yakuwa yabayamba, era emyoyo emibi gyatuusa ekiseera ne girekera awo okubabonyaabonya. Leero, Joachim ne Barbara basanyufu nnyo olw’okuba basinza Yakuwa, Katonda ow’amazima.
Abo bonna abaagala okufuna emikisa gya Yakuwa, Ebyawandiikibwa bibakubiriza nti: “Mugonderenga Katonda; naye muziyizenga Omulyolyomi naye anaabaddukanga. Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yakobo 4:7, 8) Bw’oba oyagala okwekutula ku dayimooni, Yakuwa Katonda asobola okukuyamba. Joachim ne Barbara bwe balowooza ku ngeri Katonda gye yabayambamu okwekutula ku by’obusamize, bakkiriziganya n’ebigambo ebiri mu Zabbuli 121:2, NW, ebigamba nti: “Obuyambi bwange buva eri Yakuwa.”
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya gakyusiddwa.
b Okumanya ebisingawo ku mbeera y’abafu, laba essuula 6, “Abafu Bali Ludda Wa?,” eri mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 11]
Eby’obusamize biremesa abantu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 12]
“Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”—YAKOBO 4:8