Olutalo Kalumagedoni Lunaabaawo Ddi?
“Ne ndaba era laba! ekibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala, nga bava mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi . . . [nga bava] mu kibonyoobonyo ekinene.”—OKUBIKKULIRWA 7:9, 14.
EBIRIWO biraga nti olutalo Kalumagedoni lunaatera okubaawo. Bye biruwa?
Abantu abaweereza Yakuwa era abakolera ku mitindo gya Bayibuli weebali okwetooloola ensi yonna. Katonda ayamba obukadde n’obukadde bw’abantu okuva mu mawanga gonna, ebika, n’ennimi, okukola oluganda olw’ensi yonna oluli obumu. Abajulirwa ba Yakuwa be bali mu luganda olwo.—Yokaana 13:35.
Mu kiseera ekitali kya wala, Sitaani ajja kukuŋŋaanya amagye ge akole olulumba ssinziggu ku bantu ab’emirembe era abalabika ng’abatalina bukuumi. (Ezeekyeri 38:8-12; Okubikkulirwa 16:13, 14, 16) Ekyo tuyinza kukikakasiza ku ki? Bayibuli eraga obunnabbi obwandituukiriziddwa obutuyamba okumanya ddi olutalo Kalumagedoni we lunaabeererawo. Obunnabbi obusinga obungi butuukirizibwa mu kiseera kino.
Obunnabbi bw’Olaba nga Butuukirizibwa
Abayigirizwa ba Yesu baamubuuza engeri abantu gye banditegeddemu nti “amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu” ganaatera okutuuka. (Matayo 24:3) Yesu yabaddamu nti: “Eggwanga lirirumba eggwanga eddala, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala, walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebitali bimu.” Yagattako nti: “Bino byonna y’entandikwa y’okulumwa.” (Matayo 24:7, 8) Ekiseera ebintu ebyo lwe byandibaddewo omutume Pawulo yakiyita “ennaku ez’oluvannyuma,” era yagamba nti byandibadde ‘biseera bizibu.’ (2 Timoseewo 3:1) Naawe okiraba nti ebintu ebyayogerwako mu bunnabbi obwo bye biriwo leero?
Lwaki ekiseera ekyo kyandibadde kizibu nnyo? Omutume Yokaana awa ensonga. Yalagula nti Sitaani ne badayimooni be bandisuuliddwa ku nsi era bandimazeeko “akaseera katono.” Ate era Yokaana yalaga nti Sitaani ‘yandibadde n’obusungu bungi” mu kaseera ako. (Okubikkulirwa 12:7-12) Okiraba nti leero abantu balina obusungu bungi era bakambwe nnyo, nga kino tekiri mu kifo kimu kyokka, wabula mu nsi yonna?
Ate era Yesu yagamba nti mu kiseera kino ekizibu ennyo omulimu omukulu ennyo gwandibadde gukolebwa. Yagamba nti: “N’amawulire gano amalungi ag’obwakabaka [bwa Katonda] galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Leero, mu nsi ezisoba mu 235, Abajulirwa ba Yakuwa babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda mu nnimi ezisukka mu 500. Magazini zaabwe, Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, ezinnyonnyola Bayibuli ze zikyasinze okubunyisibwa mu nsi yonna. Ate era, Abajulirwa ba Yakuwa bavvuunudde Bayibuli mu nnimi nga 100. Omulimu gwabwe gukolebwa bannakyewa era guyimiriziddwawo n’ebiweebwayo kyeyagalire. Kyandiba nti kaweefube ono ow’enjawulo ow’okubuulira atuukiriza obunnabbi bwa Yesu?
Ate era Bayibuli eyogera ku bintu ebirina okubaawo, olutalo wakati wa Katonda n’abalabe be lulyoke lutandike. Weetegereze ebintu bisatu ebyogerwako mu bunnabbi by’ojja okulaba nga bituukirizibwa.
Obunnabbi bw’Onootera Okulaba nga Butuukirizibwa
Obunnabbi 1. Bayibuli egamba nti amawanga gajja kulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu’ ebya nnamaddala. Bajja kuba balowooza nti banaatera okugonjoola ebizibu eby’amaanyi. Kyokka, ebinaddirira bijja kulaga nti tewali mirembe.—1 Abassessaloniika 5:1-3.
Obunnabbi 2. Ekinaddirira, gavumenti ez’enjawulo zijja kwekobaana zirumbe amadiini gonna agaliwo mu nsi. Mu Bayibuli, gavumenti zino zikiikirirwa ensolo; ate amadiini gonna ag’obulimba gakiikirirwa omukazi atudde ku nsolo. (Okubikkulirwa 17:3, 15-18) Ensolo eno ey’akabonero ejja kukola ekyo Katonda ky’ayagala ekole ng’ezikiriza amadiini gonna ag’obulimba.
Mu ngeri ey’akabonero, omutume Yokaana annyonnyola bw’ati ekigenda okubaawo: “Amayembe ekkumi ge walabye era n’ensolo, birikyawa malaaya, birimuzikiriza, birimuleka bukunya, birirya omubiri gwe era birimwokera ddala omuliro. Katonda yakiteeka mu mitima gyabyo okutuukiriza ekirowoozo kye.”—Okubikkulirwa 17:16, 17.
Obunnabbi 3. Ng’amadiini ag’obulimba gamaze okuzikirizibwa, Sitaani ajja kukumaakuma amawanga galumbe abo abasinza Yakuwa Katonda.—Okubikkulirwa 7:14; Matayo 24:21.
Kiki ky’Osaanidde Okukola?
Bw’oba tonnaba kwekenneenya Bayibuli, kiyinza okukuzibuwalira okukkiriza nti ebintu ebyo ebyogeddwako waggulu bijja kubaawo. Naye tulina ensonga kwe tusinziira okuba abakakafu nti obunnabbi obwo bwonna bujja kutuukirizibwa mu bujjuvu mu kiseera ekitali kya wala. Obunnabbi bwa Bayibuli obumaze okutuukirizibwa butuleetera okuba abakakafu ku ekyo.a
Olaba otya singa ofuna ekiseera okumanya ensonga lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bakakafu nti “olutalo olugenda okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna” lunaatera okutuuka era n’ensonga lwaki tolina kulutya? Basabe mukubaganye ebirowoozo ku Bayibuli osobole okumanya ky’osaanidde okukola okusobola okuba mu abo Katonda b’ajja okuwonyaawo. (Okubikkulirwa 16:14) By’onooyiga biyinza okukuyamba okukyusa endowooza yo gy’olina ku biseera eby’omu maaso.
[Obugambo obuli wansi]
a Okusobola okukakasa nti waliwo obunnabbi bwa Bayibuli obutuukiriziddwa, laba essuula 2 n’essuula 9 ez’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 8]
Kyandiba nti omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa gutuukiriza obunnabbi bwa Bayibuli?