LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 9/15 lup. 3-7
  • Engeri Ensi Eno Embi gy’Ejja Okuzikirizibwamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri Ensi Eno Embi gy’Ejja Okuzikirizibwamu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KIKI EKINAABAAWO NG’ENKOMERERO ENAATERA OKUTANDIKA?
  • “KABAKA” ALOWOOZA NTI TEWALI KABI KAJJA KUMUTUUKAKO
  • OKULUMBA ABANTU BA KATONDA
  • AMAWANGA GAJJA KUWALIRIZIBWA OKUMANYA YAKUWA
  • TEWALI BUFUZI BULALA KIRIMAANYI BUJJA KUDDAWO
  • EKIJJA OKUTUUKA KU MULABE WA KATONDA OMUKULU
  • EBINTU EBINAABAAWO NG’EMIREMBE TEGINNAJJA
  • Amagedoni Mawulire Malungi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Yakuwa Abikkula “Ebintu Ebiteekwa Okubaawo Amangu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Olutalo Kalumagedoni Lunaabaawo Ddi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 9/15 lup. 3-7

Engeri Ensi Eno Embi gy’Ejja Okuzikirizibwamu

“Temuli mu kizikiza ne kiba nti olunaku olwo lulibasangiriza nga bwe lwandisangirizza ababbi.”​—1 BAS. 5:4.

OSOBOLA OKUNNYONNYOLA?

Bintu ki ebitannaba kulabika ebyogerwako mu byawandiikibwa bino?

  • 1 Abassessaloniika 5:3

  • Okubikkulirwa 17:16

  • Danyeri 2:44

1. Kiki ekinaatuyamba okuba obulindaala n’okugumira ebizibu?

WALIWO ebintu eby’entiisa binaatera okubaawo ku nsi. Obunnabbi bwa Bayibuli obutuukiriziddwa bukakasa bulungi ensonga eyo. N’olwekyo, tulina okuba obulindaala. Kiki ekinaatuyamba okuba obulindaala? Omutume Pawulo atukubiriza ‘okuteeka amaaso gaffe ku bintu ebitalabika.’ Tusaanidde okukuumira ebirowoozo byaffe ku mpeera ey’obulamu obutaggwaawo, ka kibe nti tunaabufunira mu ggulu oba ku nsi. Pawulo yawandiika ebigambo ebyo okusobola okukubiriza bakkiriza banne okuteeka ebirowoozo byabwe ku mpeera gye bandifunye bwe bandisigadde nga beesigwa eri Katonda. Okukola ekyo kyandibayambye okugumira ebizibu n’okuyigganyizibwa.​—2 Kol. 4:8, 9, 16-18; 5:7.

2. (a) Kiki kye tulina okukola okusobola okunyweza essuubi lyaffe? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino n’ekiddako?

2 Ebigambo bya Pawulo bituyigiriza nti bwe tuba ab’okunyweza essuubi lyaffe, tetulina kumalira birowoozo byaffe ku bintu bye tulaba kati, wabula tulina okubissa ku bintu ebitannaba kulabika. (Beb. 11:1; 12:1, 2) Mu kitundu kino n’ekiddako, tugenda kulaba ebintu kkumi ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso ebirina akakwate n’essuubi lyaffe ery’obulamu obutaggwawo.

KIKI EKINAABAAWO NG’ENKOMERERO ENAATERA OKUTANDIKA?

3. (a) Kiki ekyogerwako mu 1 Abassessaloniika 5:2, 3, ekijja okubaawo mu kiseera eky’omu maaso? (b) Kiki abakulembeze b’amawanga kye bajja okukola, era baani abayinza okubeegattako?

3 Mu bbaluwa ye eri Abassessaloniika, Pawulo yayogera ku kimu ku bintu ebijja okubaawo mu kiseera eky’omu maaso. (Soma 1 Abassessaloniika 5:2, 3.) Yayogera ku ‘lunaku lwa Yakuwa.’ “Olunaku lwa Yakuwa” Pawulo lwe yayogerako kye kiseera ekijja okutandika n’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba era kikomekkerezebwe n’olutalo Kalumagedoni. Kyokka, olunaku lwa Yakuwa bwe lunaaba lunaatera okutandika, abakulembeze b’amawanga bajja kulangirira nti “Mirembe n’obutebenkevu!” Ekyo kiyinza okukolebwa omulundi gumu oba wayinza okuyitawo ebbanga nga balangirira emirembe. Amawanga gayinza okulowooza nti ganaatera okugonjoola ebizibu byago ebisinga okuba eby’amaanyi. Ate bo abakulembeze b’amadiini banaakola ki? Okuva bwe kiri nti nabo ba nsi, bayinza okwegatta ku bafuzi b’ensi mu kulangirira emirembe. (Kub. 17:1, 2) Mu kukola ekyo, abakulembeze b’amadiini bajja kuba nga bannabbi ab’obulimba abaali mu Yuda abaali bagamba nti ‘Mirembe, mirembe; so nga tewali mirembe.’​—Yer. 6:14; 23:16, 17.

4. Obutafaananako bantu bangi mu nsi, kiki kye tumanyi?

4 Ka babe baani abaneetaba mu kwogera nti “Mirembe n’obutebenkevu!” ekyo bwe kinaabaawo, kijja kulaga nti olunaku lwa Yakuwa lugenda kutandika. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba nti: “Ab’oluganda, temuli mu kizikiza ne kiba nti olunaku olwo lulibasangiriza nga bwe lwandisangirizza ababbi, kubanga mwenna muli baana ba kitangaala.” (1 Bas. 5:4, 5) Obutafaananako abantu bangi mu nsi, ffe Bayibuli etuyambye okutegeera amakulu g’ebintu ebiriwo leero. Obunnabbi obukwata ku kwogera nti “Mirembe n’obutebenkevu!” bunaatuukirizibwa butya? Ekyo tujja kukimanya mu kiseera ekituufu. N’olwekyo, ka tube bamalirivu ‘okusigala nga tutunula era nga tutegeera bulungi.’​—1 Bas. 5:6; Zef. 3:8.

EBINTU BITAANO EBIJJA:

  1. Okulangirira ‘Emirembe n’obutebenkevu!’

  2. Amawanga okulumba “Babulooni Ekinene” n’okukizikiriza

  3. Okulumba abantu ba Yakuwa

  4. Olutalo Kalumagedoni

  5. Okusuulibwa kwa Sitaani ne badayimooni mu bunnya

“KABAKA” ALOWOOZA NTI TEWALI KABI KAJJA KUMUTUUKAKO

5. (a) “Ekibonyoobonyo ekinene” kinaatandika kitya? (b) Ani alinga “kabaka” alowooza nti tewali kabi kajja kumutuukako?

5 Oluvannyuma lw’okulangirira emirembe n’obutebenkevu, kiki ekinaddirira? Pawulo yagamba nti: “Bwe baliba bagamba nti: ‘Mirembe n’obutebenkevu!’ olwo okuzikiriza okw’amangu ne kulyoka kubatuukako.” “Okuzikiriza okw’amangu” kujja kutandika n’okuzikirizibwa kwa “Babulooni Ekinene,” nga gano ge madiini gonna ag’obulimba, agoogerwako nga “malaaya.” (Kub. 17:5, 6, 15) Okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba, nga mw’otwalidde ne Kristendomu, y’ejja okuba entandikwa ‘y’ekibonyoobonyo ekinene.’ (Mat. 24:21; 2 Bas. 2:8) Ekyo kijja kwewuunyisa abantu bangi. Lwaki? Kubanga ekiseera ekyo we kinaatuukira, malaaya oyo ajja kuba yeetwala nga “kabaka” era ng’alowooza nti tajja ‘kukungubaga n’akatono.’ Naye ajja kukizuula nti abadde yeerimbalimba. Ajja kuzikirizibwa mu bwangu ng’alinga azikiriziddwa “mu lunaku lumu.”​—Kub. 18:7, 8.

6. Ani anaazikiriza amadiini ag’obulimba?

6 Ekigambo kya Katonda kiraga nti ‘ensolo ey’amayembe ekkumi’ ejja kulumba malaaya. Ebyo bye tusoma mu kitabo ky’Okubikkulirwa bituyamba okukitegeera nti ensolo eyo kye kibiina ky’Amawanga Amagatte. ‘Amayembe ekkumi’ gakiikirira gavumenti zonna eziwagira ‘ensolo eyo emmyufu.’a (Kub. 17:3, 5, 11, 12) Biki ebinaava mu bulumbaganyi obwo? Amawanga agali mu kibiina ky’Amawanga Amagatte gajja kutwala eby’obugagga bya malaaya, gaanike obubi bwe n’obwenzi bwe, gamulye, era ‘gamwokere ddala omuliro.’ Bwe kityo, amadiini ag’obulimba gajja kusaanirawo ddala.​—Soma Okubikkulirwa 17:16.

7. Kiki ekinaaleetera ‘ensolo’ okulumba “malaaya”?

7 Obunnabbi bwa Bayibuli bulaga ekyo ekinaaviirako ensolo okulumba malaaya. Yakuwa ajja kukiteeka mu mitima gy’abafuzi b’ensi “okutuukiriza ekirowoozo kye,” kwe kugamba, okuzikiriza malaya. (Kub. 17:17) Okuva bwe kiri nti amadiini gakuma omuliro mu bantu okulwana entalo, amawanga gayinza okulowooza nti okuzikiriza malaaya oyo kijja kuyamba mu kuleeta emirembe. Mu butuufu, abakulembeze b’amawanga bwe banaalumba malaaya, bajja kulowooza nti batuukiriza ‘kirowoozo kyabwe.’ Naye Katonda yajja okuba ng’abakozesa okuzikiriza amadiini gonna ag’obulimba. Bwe kityo, ekiwayi ekimu eky’enteekateeka ya Sitaani kijja kulumba ekiwayi ekirala, era ekyo Sitaani tajja kusobola kukiziyiza kubaawo.​—Mat. 12:25, 26.

OKULUMBA ABANTU BA KATONDA

8. Obulumbaganyi bwa “Googi ow’omu nsi ya Magoogi” kye ki?

8 Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba, abaweereza ba Katonda bajja kweyongera ‘okutuula nga tebaliiko kye batya’ era nga ‘babeera awatali bbugwe.’ (Ez. 38:11, 14) Kiki ekinaatuuka ku bantu abo abasinza Yakuwa era abalabika ng’abatalina bukuumi bwonna? Kirabika “amawanga mangi” gajja kubalumba nga gaagala okubatuusaako akabi. Ekyo ekinaabaawo, Bayibuli ekyogerako ng’obulumbaganyi bwa “Googi ow’omu nsi ya Magoogi.” (Soma Ezeekyeri 38:2, 15, 16.) Tusaanidde kuba na ndowooza ki ku bulumbaganyi obwo?

9. (a) Kintu ki Abakristaayo kye basinga okutwala ng’ekikulu? (b) Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe?

9 Tukimanyi nti abantu ba Katonda bajja kulumbibwa, naye ekyo tekituleetera kutya nnyo. Mu kifo ky’okukulembeza obulokozi bwaffe, ekintu kye tusinga okutwala ng’ekikulu kwe kuba nti erinnya lya Yakuwa lijja kutukuzibwa era kyeyoleke kaati nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Emirundi egisukka mu 60 mu kitabo kya Ezeekyeri, Yakuwa yagamba nti: “Mulimanya nga nze Yakuwa.” (Ez. 6:7, NW) Twesunga nnyo okulaba engeri obunnabbi bwa Ezeekyeri obwo gye bunaatuukirizibwamu kubanga tuli bakakafu nti “Yakuwa amanyi okununula abo abamwemalirako okuva mu kugezesebwa.” (2 Peet. 2:9) Nga bwe tulindirira ebintu ebyo, tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okunyweza okukkiriza kwaffe tusobole okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa ka tube nga twolekagana na kizibu ki. Kiki ekinaatuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe? Tusaanidde okunyiikirira okusaba, okusoma Bayibuli, okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, n’okunyiikirira omulimu gw’okubuulira. Ebintu ebyo bijja kutuyamba okunyweza essuubi lyaffe ery’obulamu obutaggwaawo, eriringa “essika.”​—Beb. 6:19; Zab. 25:21.

AMAWANGA GAJJA KUWALIRIZIBWA OKUMANYA YAKUWA

10, 11. Olutalo Kalumagedoni lunaatandika lutya, era kiki ekijja okubaawo mu kiseera ekyo?

10 Kiki ekijja okubaawo ng’abaweereza ba Yakuwa balumbiddwa? Yakuwa ajja kukozesa Yesu n’eggye ery’omu ggulu okuyamba abantu be. (Kub. 19:11-16) Olwo lwe lujja okuba “olutalo olugenda okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna” oluyitibwa Kalumagedoni.​—Kub. 16:14, 16.

11 Ng’ayogera ku lutalo mw’ajja okulwanyisiza Googi, Yakuwa yagamba nti: “Awo ensozi zange zonna ndiziyitira ekitala okumulwanyisa, bw’ayogera Mukama Katonda: ekitala kya buli muntu kirirwana ne muganda we.” Abo abali ku ludda lwa Sitaani bajja kutya nnyo era batabulwetabulwe batandike okuttiŋŋana. Yakuwa yagamba nti: ‘Nditonnyesa ku Googi ne ku ggye lye ne ku mawanga amangi agali naye omuliro n’ekibiriiti.’ (Ez. 38:21, 22) Biki ebinaava mu lutalo olwo?

12. Kiki amawanga kye gajja okuwalirizibwa okumanya?

12 Amawanga gajja kukimanya nti Yakuwa y’alagidde gazikirizibwe. Nga bwe kyali ku nnyanja emmyufu ng’Abamisiri bawondera Abaisiraeri, oboolyawo abantu ba Sitaani nabo bajja kugamba nti ‘Yakuwa alwanirira’ abantu be. (Kuv. 14:25) Amawanga gajja kuwalirizibwa okumanya ekyo kyennyini Yakuwa ky’ali. (Soma Ezeekyeri 38:23.) Ekiseera ekisigaddeyo ebintu ebyo bibeewo kyenkana wa?

TEWALI BUFUZI BULALA KIRIMAANYI BUJJA KUDDAWO

13. Kiki kye tumanyi ku kitundu eky’okutaano eky’ekifaananyi ekyogerwako mu kitabo kya Danyeri?

13 Obunnabbi obuli mu kitabo kya Danyeri butuyamba okukimanya nti Kalumagedoni anaatera okutuuka. Danyeri ayogera ku kifaananyi ekinene Nebukadduneeza kye yalaba mu kirooto. (Dan. 2:28, 31-33) Ekifaananyi ekyo kikiikirira obufuzi kirimaanyi obulwanyisizza obutereevu abantu ba Katonda, abaaliwo edda n’abaliwo leero. Mu bufuzi obwo mwe muli Babulooni, Bumeedi ne Buperusi, Buyonaani, ne Rooma. Obufuzi kirimaanyi obusembayo bwebwo obuliwo mu kiseera kyaffe. Okusinziira ku bunnabbi bwa Danyeri, obufuzi obwo bukiikirirwa ebigere n’obugere eby’ekifaananyi ekinene. Mu kiseera kya Ssematalo I, Bungereza n’Amerika zaatandika okukolagana mu ngeri ey’enjawulo. N’olwekyo, ekitundu eky’okutaano eky’ekifaananyi ekyogerwako mu kitabo kya Danyeri kikiikirira Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika. Okuva bwe kiri nti ebigere kye kitundu ekisembayo wansi ku kifaananyi ekyo, ekyo kiraga nti teri bufuzi bulala kirimaanyi bujja kuddawo. Ate era ebigere n’obugere bya kyuma ekitabuddwamu ebbumba. Ekyo kiraga nti Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bunafu bw’obugeraageranya ku obwo obwabusookawo.

14. Bufuzi ki kirimaanyi obunaaba bufuga mu kiseera olutalo Kalumagedoni we lunaatandikira?

14 Obunnabbi obwo era bulaga nti ejjinja eddene, erikiikirira Obwakabaka bwa Katonda, lyatemebwa mu lusozi mu 1914. Olusozi olwo lukiikirira obufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna. Ejjinja eryo linaatera okukuba ebigere by’ekifaananyi. Ku Kalumagedoni ebigere by’ekifaananyi n’ebitundu byakyo ebirala bijja kubetentebwa. (Soma Danyeri 2:44, 45.) N’olwekyo, Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bwe bujja okuba nga bufuga mu kiseera olutalo Kalumagedoni we lunaatandikira. Nga kijja kutusanyusa nnyo okulaba ng’obunnabbi obwo butuukiridde!b Naye kiki Yakuwa ky’anaakola Sitaani?

EKIJJA OKUTUUKA KU MULABE WA KATONDA OMUKULU

15. Oluvannyuma lwa Kalumagedoni, kiki ekijja okutuuka ku Sitaani ne badayimooni?

15 Okusookera ddala, Sitaani ajja kulaba ng’enteekateeka ye yonna esaanyizibwawo. Oluvannyuma, naye kennyini agenda kwolekezebwa obwanga. Omutume Yokaana atubuulira ekyo ekijja okubaawo. (Soma Okubikkulirwa 20:1-3.) Yesu Kristo, “malayika . . . alina ekisumuluzo eky’obunnya,” ajja kukwata Sitaani ne badayimooni abasuule mu bunnya, babeere eyo okumala emyaka lukumi. (Luk. 8:30, 31; 1 Yok. 3:8) Eyo y’egenda okuba entandikwa y’okubetenta omutwe gw’omusota.c​—Lub. 3:15.

16. Sitaani okusuulibwa mu “bunnya” kitegeeza ki?

16 “Obunnya” Sitaani ne badayimooni mwe bajja okusuulibwa kye ki? Ekigambo ky’Oluyonaani aʹbys·sos Yokaana kye yakozesa kitegeeza ekinnya ekiwanvu ennyo oba ekinnya ekitalina ntobo. Bwe kityo, obunnya kifo ekitasobola kutuukibwamu muntu mulala yenna okuggyako Yakuwa ne malayika we “alina ekisumuluzo eky’obunnya.” Sitaani ajja kukuumirwa mu kifo ekyo ng’alinga afudde, abe nga takyasobola ‘kubuzaabuza mawanga.’ Mu butuufu, Sitaani ayogerwako ‘ng’empologoma ewuluguma’ bw’anaaba mu “bunnya,” ajja kuba talina ky’asobola kukola!​—1 Peet. 5:8.

EBINTU EBINAABAAWO NG’EMIREMBE TEGINNAJJA

17, 18. (a) Bintu ki ebitannaba kulabika bye twetegerezza mu kitundu kino? (b) Kiki ekinaatandika oluvannyuma lw’ebintu ebyo okubaawo?

17 Ebintu ebikulu ennyo era eby’entiisa binaatera okubaawo. Twesunga nnyo okulaba engeri obunnabbi obukwata ku kulangirira ‘Emirembe n’obutebenkevu!’ gye bunaatuukirizibwamu. Oluvannyuma, tujja kulaba okuzikirizibwa kwa Babulooni ekinene, obulumbaganyi bwa Googi ow’omu Magoogi, olutalo Kalumagedoni, n’okusuulibwa kwa Sitaani ne badayimooni mu bunnya. Oluvannyuma lw’ebintu ebyo, ng’obubi bwonna buweddewo, Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi bujja kutandika. Mu kiseera ekyo, wajja kubaawo ‘emirembe mingi.’​—Zab. 37:10, 11.

18 Mu kitundu kino twetegerezza ebintu bitaano ebitannaba kulabika. Naye era waliwo n’ebintu ebirala ebitannaba kulabika bye tusaanidde ‘okussaako amaaso gaffe.’ Ebintu ebyo tujja kubiraba mu kitundu ekiddako.

a Laba ekitabo Revelation​—Its Grand Climax at Hand! olupapula 251-258.

b Ebigambo “bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna” ebiri mu Danyeri 2:44 bikwata ku bwakabaka oba obufuzi kirimaanyi obukiikirirwa ebitundu by’ekifaananyi ekinene. Kyokka, obunnabbi bwa Bayibuli obulala bulaga nti “bakabaka b’ensi yonna etuuliddwamu” bajja kukuŋŋaanyizibwa okulwana ne Yakuwa ku “lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.” (Kub. 16:14; 19:19-21) N’olwekyo, ng’oggyeko obwakabaka obukiikirirwa ebitundu by’ekifaananyi ekinene, ne gavumenti z’abantu endala zonna zijja kuzikirizibwa ku Kalumagedoni.

c Omutwe gw’omusota gujja kumalirizibwa okubetentebwa ku nkomerero y’emyaka olukumi, nga Sitaani ne badayimooni basuuliddwa mu “nnyanja ey’omuliro n’ekibiriiti.”​—Kub. 20:7-10; Mat. 25:41.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share