Amazima Agakwata ku Kalumagedoni
“Dayimooni . . . zigenda eri bakabaka b’ensi yonna . . . , ne zibakuŋŋaanyiza mu kifo mu Lwebbulaniya ekiyitibwa Kalumagedoni.” (Italiki zaffe.)—OKUBIKKULIRWA 16:14, 16, New Revised Standard Version.
KALUMAGEDONI, linnya lya kifo. Kyokka, kirabika tewabangawo kifo kyonna ku nsi kiyitibwa Kalumagedoni.
Kati olwo, ekigambo “Kalumagedoni” kirina makulu ki”? Lwaki emirundi egisinga obungi kikwataganyizibwa n’ebintu ebibaawo gamba ng’olutalo?
Bakuŋŋaanyizibwa mu Kifo Ekiyitibwa Kalumagedoni
Ekigambo ky’Olwebbulaniya Kalu-Magedoni kitegeeza “Olusozi lw’e Megido.” Wadde ng’olusozi olwo terubangawo ku nsi, ekifo ekiyitibwa Megido weekiri. Kifo ekisangibwa mu bukiikakkono w’ebugwanjuba bw’ekitundu Abaisiraeri ab’edda mwe baabeeranga. Entalo nnyingi ez’amaanyi zaalwanirwanga kumpi n’ekifo ekyo. N’olwekyo, erinnya Megido baatandika okulikwataganya n’olutalo.a
Kyokka, amakulu gennyini aga Megiddo, si ze ntalo ezaalwanirwanga mu kifo ekyo,wabula y’ensonga eyasinziirwangako okuzirwana. Megido kyali kitundu kya Nsi Ensuubize Yakuwa Katonda gye yawa Abaisiraeri. (Okuva 33:1; Yoswa 12:7, 21) Yeeyama okubalwanirira nga balumbiddwa abalabe baabwe, era yakikola. (Ekyamateeka 6:18, 19) Ng’ekyokulabirako, e Megido Yakuwa gye yalwaniririra Abaisiraeri mu ngeri ey’eky’amagero bwe baalumbibwa Yabini Kabaka w’Abakanani ne Sisera omuduumizi w’eggye lye.—Yoswa 4:14-16.
N’olwekyo, ekigambo “Kalu–Magedoni,” oba “Kalumagedoni,” kirina amakulu ag’akabonero. Kikwataganyizibwa n’olutalo wakati w’enjuyi bbiri ez’amaanyi.
Obunnabbi obuli mu Kubikkulirwa bulaga nti mu kiseera ekitali kya wala, Sitaani ne badayimooni be bajja kukubiriza gavumenti z’abantu okukuŋŋaanya amagye gaazo n’ekigendererwa eky’okusaanyaawo abaweereza ba Katonda n’okukomya omulimu gwabwe. Obulumbaganyi obwo bujja kuviirako obukadde n’obukadde bw’abantu okufa, Katonda bw’anaaba azikiriza abalabe abo.—Okubikkulirwa 19:11-18.
Lwaki Katonda Bayibuli gw’eyogerako nga “ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa ennyo ekisa,” ajja kuzikiriza abantu bangi nnyo? (Nekkemiya 9:17) Okusobola okutegeera obulungi ensonga eyo, twetaaga okuddamu ebibuuzo bino ebisatu: (1) Ani anaatandika olutalo olwo? (2) Lwaki Katonda ajja kulwenyigiramu? (3) Abantu banaaganyulwa batya mu lutalo luno?
1. ANI ANAATANDIKA OLUTALO OLWO?
Katonda si y’ajja okutandika olutalo olwo, wabula ajja kulwanirira abantu be baleme kusanyizibwawo abalabe baabwe. Abanaatandika olutalo olwo be “bakabaka b’ensi yonna etuuliddwamu,” nga bano be bafuzi b’ensi. Kiki ekinaabaleetera okulumba abaweereza ba Katonda? Sitaani y’ajja okukubiriza abafuzi b’ensi n’amaggye gaabwe okulumba abo abasinza Yakuwa Katonda.—Okubikkulirwa 16:13, 14; 19:17, 18.
Olw’okuba mu nsi ezimu essira liteekeddwa nnyo ku ddembe ly’okwogera n’okusinza, abantu tebasuubira nti gavumenti ziyinza okukugira oba okusaanyaawo eddiini yonna. Kyokka, obulumbaganyi ng’obwo, bwaliwo mu kyasa ekya 20 era ne kaakano weebuli.b Wadde kiri kityo, waliwo ebintu bibiri ebiraga enjawulo ey’amaanyi eri wakati w’obulumbaganyi obwaliwo n’obwo obunaabaawo ku Kalumagedoni. Ekisooka, obulumbaganyi obwo bujja kubaawo mu nsi yonna. Ekyokubiri, Yakuwa bw’anaaba alwanirira abantu be, ajja kukikola ku kigero kinene nnyo n’okusinga bwe yakola mu biseera eby’edda. (Yeremiya 25:32, 33) Olutalo luno Bayibuli erwogerako nga, “olutalo olugenda okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.”
2. LWAKI KATONDA AJJA KULWENYIGIRAMU?
Yakuwa alagira abo abamusinza okuba ab’emirembe n’okwagala abalabe baabwe. (Mikka 4:1-3; Matayo 5:43, 44; 26:52) N’olwekyo, bwe banaaba balumbiddwa abalabe baabwe, tebajja kukwata byakulwanyisa kwerwanako. Yakuwa Katonda bw’ataabeeko ky’akolawo, abantu be bajja kuzikirizibwa kivumise erinnya lye. Singa abalabe ba Katonda basaanyaawo abantu be, kiba kijja kulaga nti Katonda talina kwagala, si mwenkanya, era munafu. Ekintu ng’ekyo tayinza kukikkiriza kubaawo!—Zabbuli 37:28, 29.
Katonda tayagala kuzikiriza muntu yenna, era eyo ye nsonga lwaki abalabula nga bukyali. (2 Peetero 3:9) Okuyitira mu Bayibuli, Katonda ajjukiza abantu bonna nti yalwanirira abantu be mu biseera eby’edda bwe baalumbibwa. (2 Bassekabaka 19:35) Ate era Bayibuli erabula nti Sitaani n’abafuzi b’ensi bwe banaalumba abantu ba Katonda, Yakuwa ajja kuddamu okulwanirira abantu be. Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda kyalaga dda nti Yakuwa ajja kuzikiriza abantu ababi. (Engero 2:21, 22; 2 Abassessaloniika 1:6-9) Mu kiseera ekyo, abalabe abo bajja kukitegeera nti balwanyisa Omuyinza w’Ebintu Byonna.—Ezeekyeri 38:21-23.
3. ABANTU BANAAGANYULWA BATYA MU LUTALO LUNO?
Obukadde n’obukadde bw’abantu bajja kulokolebwa mu lutalo Kalumagedoni. Mu butuufu, eyo y’ejja okuba entandikwa y’emirembe ku nsi.—Okubikkulirwa 21:3, 4.
Ekitabo kya Okubikkulirwa kiraga nti “ekibiina ekinene” eky’abantu bajja kuwonawo mu lutalo olwo. (Okubikkulirwa 7:9, 14) Nga bakolera ku bulagirizi bwa Katonda, abantu abo bajja kufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda, ng’ekigendererwa kye bwe kyali.
Tumanyi ekiseera obulumbaganyi obwo lwe bunaakolebwa ku bantu ba Katonda?
[Obugambo obuli wansi]
a Kya bulijjo abantu okukwataganya ekifo n’olutalo. Ng’ekyokulabirako, ekibuga Hiroshima ekya Japan ekyakubwa bbomu eya nukiriya, kati kyafuuka ekifo ekikwataganyizibwa n’entalo ez’eby’okulwanyisa bya nukiriya.
b Ekitta bantu ekyaliwo mu bufuzi bw’Abanazi mu Ssematalo Owokubiri, kyakulabirako ekiraga gavumenti eyagezaako okusaanyaawo amadiini n’amawanga. Ate era gavumenti ya Soviet Union yakugira nnyo amadiini. Laba ekitundu ekirina omutwe, “Abantu ab’Emirembe Balwanirira Erinnya Lyabwe Eddungi,” ekyafulumira mu Watchtower eya Maayi 1, 2011, eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Mu biseera eby’edda, Yakuwa Katonda yalwanirira abantu be ng’azikiriza abalabe be
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Yakuwa ajja kuddamu alwanirire abantu be mu lutalo Kalumagedoni