Kalumagedoni Entandikwa y’Obulamu obw’Essanyu
EKIGAMBO “Kalumagedoni” kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya “Kalu–Magedoni,” ekitegeeza “Olusozi lw’e Megiddo.” Ekigambo kino kisangibwa mu Okubikkulirwa 16:16, awagamba nti: “Ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Kalu-Magedoni.” Baani abo abakuŋŋaanyizibwa mu kifo ekiyitibwa Kalumagedoni, era lwaki bakuŋŋaanyizibwa? Okubikkulirwa 16:14 walaga nti ‘bakabaka b’ensi zonna’ be bakuŋŋaanyizibwa okwenyigira mu ‘lutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna.’ Omuntu asobola okwebuuza nti, “bakabaka” bano balwanira wa? Lwaki balwana, era balwana n’ani? Banaakozesa eby’okulwanyisa nnamuzisa ng’abantu bangi bwe balowooza? Waliwo abanaawonawo ku lutalo olwo? Baibuli k’etuwe eby’okuddamu.
Bwe kiba nti ekigambo “Kalumagedoni” kitegeeza “Olusozi lw’e Megiddo,” ekyo kitegeeza nti olutalo olwo banaalulwanira Megiddo eky’omu Middle East? Nedda. Ekisooka, teriiyo lusozi luyitibwa Megiddo. Mu kifo awaali ekibuga ekyo, waliwo ffuuti nga 70 zokka obugulumivu. Ng’oggyeko ekyo, ekifo ekyo tekisobola kuggyamu ‘bakabaka ba nsi zonna n’amagye gaabwe.’ (Okubikkulirwa 19:19) Okusinziira ku byafaayo Megiddo baalwanirangayo entalo ssinziggu. N’olwekyo, ekigambo Kalumagedoni kirina amakulu ga kabonero nga kitegeeza olutalo ssinziggu, era ng’oludda lumu lwokka lwe luluwangula.—Laba akabokisi “Lwaki Olutalo lwa Katonda Lukwataganyizibwa ne Megiddo” akali ku lupapula 5.
Kalumagedoni terujja kuba lutalo wakati w’amawanga kubanga Okubikkulirwa 16:14 wagamba nti “bakabaka b’ensi zonna” bajja kwegatta wamu bagezeeko okulwana ne Katonda ku ‘lutalo lw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna.’ Okusinziira ku bunnabbi bwa Yeremiya obwaluŋŋamizibwa, “abo Mukama b’alitta baliva ku nkomerero y’ensi balituuka ku nkomerero yaayo.” (Yeremiya 25:33) N’olw’ensonga eyo, olutalo lwa Kalumagedoni terugenda kuba lutalo lw’abantu nga balwanagana bokka na bokka mu kitundu ekimu eky’omu Middle East. Lujja kuba lutalo lwa Yakuwa, era nga luzingiramu ensi yonna.
Kyokka, weetegereze nti mu Okubikkulirwa 16:16, Kalumagedoni kiyitibwa ‘ekifo.’ Mu Baibuli ekigambo ‘ekifo’ kisobola okutegeeza embeera. Embeera eyogerwako mu kyawandiikibwa kino kwe kuba nti amawanga gonna gajja kuba geegasse wamu okulwana ne Yakuwa. (Okubikkulirwa 12:6, 14) Ku Kalumagedoni amawanga gonna gajja kwegatta okulwanyisa ‘eggye ery’omu ggulu’ nga likulemberwa Yesu Kristo ‘Kabaka wa bakabaka era mukama w’abaami.’—Okubikkulirwa 19:14, 16.
Ate ebyo ebyogerwa ku Kalumagedoni, nti lujja kuba lutalo omunaaba eby’okulwanyisa nnamuzisa oba nti ebyaziyazi ebinene bijja kuva mu bwengula bitomere ensi? Ddala Katonda ow’okwagala asobola okuleka ensi n’abantu abagiriko okuzikirizibwa mu ngeri embi bw’etyo? Nedda. Ye kennyini yayogera kaati nti ensi ‘teyagitonda kuba ddungu’ naye “yagibumba okutuulwamu.” (Isaaya 45:18; Zabbuli 96:10) N’olwekyo ku Kalumagedoni Yakuwa tajja kuzikiriza nsi. Wabula, ajja ‘kuzikiriza abo abagyonoona.’—Okubikkulirwa 11:18.
Olutalo lwa Kalumagedoni Lunaabaawo Ddi?
Okumala ebyasa by’emyaka, ekibuuzo ekibadde kyebuuzibwa ennyo kiri nti, Olutalo lwa Kalumagedoni lunajja ddi? Bwe twekenneenya ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa ne tubikwataganya n’ebyo ebyogerwako mu bitabo bya Baibuli ebirala, kijja kutuyamba okumanya nti ekiseera ky’olutalo olwo kinaatera okutuuka. Okubikkulirwa 16:15 wakwataganya olutalo lwa Kalumagedoni n’okujja kwa Yesu ng’omubbi bw’ajjira mu kiseera ekitamanyiddwa. Yesu bwe yali ayogera ku kujja kwe okuzikiriza enteekateeka eno ey’ebintu, naye yalaga nti ajja kujja ng’omubbi.—Matayo 24:43, 44; 1 Abasessaloniika 5:2.
Okusinziira ku bunnabbi bwa Baibuli obuzze butuukirira, okuviira ddala mu 1914 tubadde mu nnaku ez’oluvannyuma ez’enteekateeka y’ebintu eno embi.a Ennaku ezo zijja kukomekkerezebwa ‘n’ekibonyoobonyo ekinene’ Yesu kye yayongerako. Baibuli tetubuulira ddi ekiseera ekyo lwe kiggwaako, naye etutegeeza nti kijja kuba kiseera kya kazigizigi era nga tekibangawo mu nsi yonna. Ekibonyoobonyo ekyo ekinene, kijja kukomekkerezebwa na Kalumagedoni.—Matayo 24:21, 29.
Olw’okuba Kalumagedoni lwe ‘lutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna,’ tewali asobola kulwongezaayo. Yakuwa yassaawo ‘ekiseera ekigereke’ kw’anaalwanira olutalo olwo era ekiseera ekyo ‘tekijja kulwa.’—Kaabakuuku 2:3.
Katonda ow’Obutuukirivu Alwana Olutalo olw’Obwenkanya
Naye, lwaki Katonda alwana olutalo olw’ensi yonna? Emu ku ngeri za Katonda, kwe kugamba, obwenkanya, bwe bumukubiriza okulwana olutalo lwa Kalumagedoni. Baibuli egamba nti: “Yakuwa ayagala obwenkanya.” (Zabbuli 37:28, NW) Okuviira ddala ku ntandikwa azzenga alaba ebikolwa eby’obutali bwenkanya abantu bye bakola bannaabwe. Awatali kubuusabuusa ebikolwa ebyo bibaddenga tebimusanyusa. N’olw’ensonga eyo awadde Omwana we obuyinza okulwana olutalo olw’okumalawo ababi.
Yakuwa ye yekka asobola okulwana olutalo olw’obwenkanya. Mu lutalo lwe ajja kuzikirizaako babi bokka awonyeewo abatuukirivu. (Matayo 24:40, 41; Okubikkulirwa 7:9, 10, 13, 14) Ate era, yekka y’alina obuyinza okufuga ensi yonna kubanga ye yagitonda.—Okubikkulirwa 4:11.
Byakulwanyisa ki Yakuwa by’agenda kukozesa ng’azikiriza abalabe be? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo tekimanyiddwa. Kye tumanyiiko kiri nti, Katonda asobola okuzikiririza abantu ababi. (Yobu 38:22, 23; Zeffaniya 1:15-18) Kyokka, abaweereza ba Katonda ab’oku nsi tebajja kwenyigira mu lutalo olwo. Okusinziira ku kwolesebwa okuli mu Okubikkulirwa essuula 19, eggye ery’omu ggulu ne Yesu Kristo be bokka abajja okwetaba mu lutalo olwo. Teri n’omu ku baweereza ba Yakuwa ab’oku nsi ajja kulwenyigiramu.—2 Ebyomumirembe 20:15, 17.
Katonda ow’Amagezi Alabula
Waliwo abanaawonawo ku Kalumagedoni? Ku lutalo lwa Kalumagedoni abantu bonna tebajja kuzikirizibwa. Omutume Peetero yagamba nti: “Mukama . . . tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.” (2 Peetero 3:9) Ate omutume Pawulo naye yagamba nti Katonda ‘ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.’—1 Timoseewo 2:4.
Ekyo okusobola okubaawo, Yakuwa akakasizza nti “amawulire amalungi ag’Obwakabaka” gabuulirwa mu nsi yonna mu nnimi ez’enjawulo. Abantu bonna baweereddwa omukisa okuwulira amawulire gano basobole okulokolebwa. (Matayo 24:14; Zabbuli 37:34; Abafiripi 2:12) Abo abakkiriza amawulire ago bajja kuwonawo ku Kalumagedoni era bajja kufuna obulamu mu nsi empya. (Ezeekyeri 18:23, 32; Zeffaniya 2:3; Abaruumi 10:13) Ekyo si kye twandisuubidde Katonda ow’okwagala okutukolera?—1 Yokaana 4:8.
Katonda ow’Okwagala Ayinza Okulwana?
Abantu abamu tebakikkiriza nti Katonda ow’okwagala ayinza okuzikiriza abantu. Naye okusobola okutegeera obulungi ensonga eyo lowooza ku kyokulabirako kino. Singa ennyumba ebeeramu emmese, kiba kikyamu nnyinimu okutta emmese ezo asobole okukuuma ab’omu maka ge obutakwatibwa ndwadde?
Okufaananako nnyinimu oyo, ne Yakuwa okwagala kwe kumukubiriza kuzikiriza ababi ku Kalumagedoni. Alina ekigendererwa eky’okufuula ensi yonna olusuku lwe, n’okufuula abantu bonna abatuukirivu babeere mu mirembe ‘nga tewali n’omu abakanga.’ (Mikka 4:3, 4; Okubikkulirwa 21:4) Kati olwo kiki ky’anaakolera abo abatabangula emirembe gy’abalala? Katonda ateekwa okuzikiriza ababi abo bonna, nga nnanyini bwe yandisse “emmese,” baleme kutabangula mirembe gy’abatuukirivu.—2 Abasessaloniika 1:8, 9; Okubikkulirwa 21:8.
Obusambattuko n’okuyiwa omusaayi ebiriwo leero, bisibuka ku gavumenti z’abantu ezitatuukiridde ne ku mwoyo gwa ggwanga. (Omubuulizi 8:9) Olw’okuba gavumenti ezo zaagala okulemera mu buyinza, tezaagalira ddala Bwakabaka bwa Katonda. Tezisobola kuleka Katonda na Kristo kufuga. (Zabbuli 2:1-9) Gavumenti ezo ziteekwa okuggyibwawo, era mu kifo kyazo waddewo Obwakabaka bwa Yakuwa obutuukiridde obufugibwa Kristo. (Danyeri 2:44) N’olwekyo, olutalo lwa Kalumagedoni luteekwa okubaawo abantu basobole okukakasa ani alina obwannannyini okufuga ensi yonna n’abantu abagiriko.
Yakuwa okulwana olutalo lwa Kalumagedoni akikola ku lwa bulungi bwa bantu. Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu by’abantu era buleete emirembe n’obutebenkevu. Olowooza embeera yandibadde etya singa Katonda tabaako ky’akolawo? Ensi teyandyeyongedde okubaamu obukyayi, ettemu n’entalo nga bwe kibadde mu bufuzi bw’abantu? Mazima ddala olutalo lwa Kalumagedoni lujja kuganyula nnyo abantu!—Lukka 18:7, 8; 2 Peetero 3:13.
Olutalo Olujja Okumalawo Entalo Zonna
Okwawukana ku ntalo zonna ezizze zibaawo, olutalo lwa Kalumagedoni lwo lujja kukomya entalo zonna. Ani atandyagadde kulaba ng’entalo zonna ziggwaawo? Olw’okuba gavumenti z’abantu ziremeddwa okumalawo entalo, kiraga obutuufu bw’ebigambo bya Yeremiya ebigamba nti: “Ai Mukama, mmanyi ng’ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yeremiya 10:23) Ng’eyogera ku ebyo Yakuwa by’ajja okukola, Baibuli egamba nti: ‘Ajja kuggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi, amenye omutego, n’effumu alikutule, n’amagaali agookye omuliro.’—Zabbuli 46:8, 9.
Amawanga bwe galikozesa eby’okulwanyisa nnamuzisa nga gagezaako okuttiŋŋana n’okwonoona obutonde, Omutonzi w’ensi ajja kubaako ky’akolawo ku lutalo lwe olwogerwako mu Baibuli oluyitibwa Kalumagedoni. (Okubikkulirwa 11:18) Olutalo luno lujja kutuukiriza ekyo abantu abatya Katonda kye babaddenga balindirira okuva edda n’edda. Lujja kulaga nti Yakuwa Katonda y’agwanidde okufuga ensi yonna n’ebitonde ebigiriko.
N’olwekyo, abantu abaagala obutuukirivu tebasaanidde kutya lutalo lwa Kalumagedoni. Olutalo olwo, lujja kumalawo obubi bwonna waddewo ensi empya ey’obutuukirivu eri wansi w’Obwakabaka bwa Katonda obufugibwa Masiya. (Isaaya 11:4, 5) Kalumagedoni tejja kuba nkomerero ya buli kintu, wabula y’ejja okuba entandikwa y’obulamu obw’essanyu mu lusuku lwa Katonda ku nsi.—Zabbuli 37:29.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, essuula 11, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Akasnduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
LWAKI OLUTALO LWA KATONDA LUKWATAGANYIZIBWA NE MEGIDDO
Megiddo eky’edda kyali kifo awaalwanirwanga entalo ez’amaanyi. Kyali mu bukiika kkono bwa Isiraeri era ng’omuntu bw’ayima eyo asobola okulengera ebugwanjuba w’Ekiwonvu ky’e Yezureeri ekyali ekigimu ennyo. Ate era kibuga ekyo mwe waasisinkaniranga enguudo ezaavanga mu bitundu eby’enjawulo, era ng’enguudo ezo zaakozesebwanga nnyo abasuubuzi abaavanga mu nsi ez’enjawulo awamu n’abamagye ababanga bagenda okulwana. Profeesa omu ayitibwa Graham Davies yawandiika bw’ati mu kitabo kye ekiyitibwa Cities of the Biblical World—Megiddo: ‘Abasuubuzi n’abatambuze okuva ebuule n’ebweeya kyabanguyiranga okutuuka mu kibuga Megiddo kubanga enguudo eziva mu bitundu eby’enjawulo mwe zaasisinkaniranga. Tekyewuunyisa nti ekibuga ekyo baakirwaniranga nnyo kubanga omuntu eyabanga akiwangudde, ye yabanga n’obwannannyini ku nguudo ezaakozesebwanga abasuubuzi n’abamaggye. N’olw’ensonga eyo, omuntu bwe yabanga akiwangudde, yakikuumanga butiribiri.’
Mu myaka gya 1400 B.C.E, Megiddo kyafuuka ekifo eky’ebyafaayo, kabaka w’e Misiri Thutmose ow’okusatu bwe yawangulirayo bakabaka b’e Kanani. Kyeyongera okumanyika ennyo okutuusiza ddala mu 1918, munnamagye Omungereza ayitibwa Edmund Allenby bwe yawangulirayo eggye lya Butuluuki. Ate era, eyo Katonda gye yayambira Omulamuzi Balaki n’awangula Kabaka Yabini ow’e Kanani. (Ekyabalamuzi 4:12-24; 5:19, 20) Era mu kifo ekyo kyennyini, Omulamuzi Gidiyoni gye yawangulira Abamidiyani. (Ekyabalamuzi 7:1-22) Kabaka Akaziya ne Kabaka Yosiya nabo baabattira Megiddo.—2 Bassekabaka 9:27; 23:29, 30.
Olw’okuba ekifo ekyo baalwanirwangayo nnyo entalo ssinziggu, kiba kituufu okukikwataganya ne Kalumagedoni. N’olwekyo kiba kituukirawo olutalo Katonda mw’anaafufuggalizza abalabe be okuluyita Kalumagedoni.
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Pictorial Archive (Near Eastern History) Est.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Okwetooloola ensi yonna, abantu babuulirwa amawulire amalungi basobole okuwonawo ku Kalumagedoni
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Kalumagedoni y’ejja okuba entandikwa y’obulamu obw’essanyu