Abamu Balina Ndowooza Ki ku Kalumagedoni?
“Ne zibakuŋŋaanya wamu mu kifo mu Lwebbulaniya ekiyitibwa Kalumagedoni.”—OKUBIKKULIRWA 16:16, English Standard Version.
KIKI ekikujjira mu birowoozo bw’owulira ekigambo “Kalumagedoni”? Oboolyawo, otandika okulowooza ku katyabaga ak’amaanyi ennyo. Wadde ng’ekigambo ekyo kikozesebwa omulundi gumu gwokka mu Bayibuli, emikutu gy’eby’empuliziganya ne bannaddiini bakikozesa nnyo.
Endowooza abantu abasinga obungi gye balina ku Kalumagedoni ekwatagana n’ekyo Bayibuli ky’eyigiriza? Kikulu nnyo okumanya eky’okuddamu. Lwaki? Kubanga amazima agakwata ku Kalumagedoni gasobola okukuyamba obutaba na kutya, okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku Katonda ne ku biseera eby’omu maaso.
Lowooza ku bibuuzo ebisatu bye tugenda okulaba, era ogeraageranye endowooza abantu abasinga obungi gye balina ku Kalumagedoni n’ekyo Bayibuli ky’eyigiriza.
1. KALUMAGEDONI BIZIBU EBY’AMAANYI EBIREETEBWAWO ABANTU?
Bannamawulire n’abekkenneenya batera okukozesa ekigambo “Kalumagedoni” nga bategeeza ebizibu eby’amaanyi ebiba bireeteddwawo abantu. Ng’ekyokulabirako, Ssematalo eyasooka n’owokubiri baaziyita Kalumagedoni. Entalo ezo bwe zaggwa, abantu baatandika okweraliikirira nti Amerika ne Soviet Union zaali zigenda kulwana nga zikozesa ebyokulwanyisa bya nukiriya. Olutalo olwo olwali lusuubirwa, bannamawulire baaluyita “Kalumagedoni ow’eby’okulwanyisa bya nukiriya.” Leero, abeekenneenya abamu bagamba nti okwonoonebwa kw’obutonde kujja kukyusa embeera y’obudde, era balabula nti wanaatera okubaawo “Kalumagedoni ow’embeera y’obudde.”
Endowooza yaabwe eraga ki? Eraga nti abantu balina obuyinza obw’enkomeredde ku nsi ne ku bintu byonna ebiramu ebigiriko. Era nti gavumenti bwe zitafaayo ku butonde, ensi ejja kusaanawo.
Bayibuli ky’eyigiriza: Katonda tajja kuleka bantu kusaanyaawo nsi. Bayibuli etukakasa nti Yakuwaa yatonda ensi “obutaba ddungu.” Wabula, yagitonda “okutuulwamu.” (Isaaya 45:18) Mu kifo ky’okuleka abantu okusaanyaawo ensi, Katonda ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’—Okubikkulirwa 11:18.
2. KALUMAGEDONI KATYABAGA KA MU BUTONDE?
Oluusi bannamawulire bakozesa ekigambo “Kalumagedoni” nga boogera ku butyabaga obw’amaanyi obw’omu butonde. Ng’ekyokulabirako, lipoota emu eyali eyogera ku katyabaga akaagwawo mu ggwanga lya Haiti mu 2010, yalina omutwe ogugamba nti “‘Kalumagedoni’ mu Haiti.” Yali eyogera ku kubonaabona okwaliwo, ebintu ebyayonooneka, n’abantu abaafa, olwa musisi ow’amaanyi eyayita mu ggwanga eryo. Bannamawulire n’abazannyi ba firimu bakozesa ekigambo ekyo nga boogera ku bintu eby’entiisa ebimaze okubaawo n’ebyo bye basuubira okubaawo. Ng’ekyokulabirako, bakozesa ekigambo “Kalumagedoni” nga boogera ku kiyinja ekigambibwa nti kiri mu bwengula kye balowooza nti kijja kutomera ensi.
Endowooza yaabwe eraga ki? Eraga nti Kalumagedoni katyabaga akazikiriza abantu awatali kusosola. Tewali ky’oyinza kukola okuwona Kalumagedoni.
Bayibuli ky’eyigiriza: Kalumagedoni si katyabaga akazikiriza abantu awatali kusosola. Abantu ababi bokka be bajja okuzikirizibwa ku Kalumagedoni. Bayibuli esuubiza nti mu kiseera ekitali kya wala, “omubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo.”—Zabbuli 37:10.
3. KATONDA ANAAZIKIRIZA ENSI KU KALUMAGEDONI?
Bannaddiini abamu bayigiriza nti ku nkomerero ensi ejja kusaanyizibwawo. Okunoonyereza okwakolebwa ekitongole kya Princeton Survey Research Associates mu Amerika kwalaga nti abantu 40 ku buli kikumi bagamba nti ensi ejja kuzikirizibwa “ku lutalo Kalumagedoni.”
Enjigiriza eyo eraga ki? Eraga nti abantu baatondebwa nga si ba kubeera ku nsi emirembe gyonna, era nti ensi si ya kubeerawo emirembe gyonna. Katonda yatonda abantu nga bonna ba kutuusa ekiseera bafe.
Bayibuli ky’eyigiriza: Bayibuli ekiraga bulungi nti Katonda ‘yasimba emisingi gy’ensi, ereme okusagaasagananga emirembe gyonna.’ (Zabbuli 104:5) Ate era Bayibuli egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.
Kyeyoleka kaati nti endowooza abantu abasinga obungi gye balina ku Kalumagedoni, ekontana n’ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Kati olwo, amazima ge galuwa?
[Obugambo obuli wansi]
a Mu Bayibuli, Yakuwa lye linnya lya Katonda.