LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g19 Na. 3 lup. 4-5
  • Okuba Abalamu Obulungi mu Mubiri

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuba Abalamu Obulungi mu Mubiri
  • Zuukuka!—2019
  • Subheadings
  • Similar Material
  • LABIRIRA BULUNGI OMUBIRI GWO
  • WEEWALE EMIZE EMIBI
  • AMAGEZI AMALALA AGALI MU BAYIBULI
  • 1 Kuuma Obulamu Bwo
    Zuukuka!—2022
  • Beera n’Endowooza ya Baibuli ku Bujjanjabi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
Zuukuka!—2019
g19 Na. 3 lup. 4-5
Omusajja ng’alya enva endiirwa

Okuba Abalamu Obulungi mu Mubiri

Bayibuli si kitabo kya bya bulamu. Naye erimu amagezi agatuyamba okuba abalamu obulungi. Lowooza ku gamu ku magezi agali mu Bayibuli agasobola okutuyamba okuba abalamu obulungi.

LABIRIRA BULUNGI OMUBIRI GWO

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Tewali muntu yali akyaye mubiri gwe, naye aguliisa era agulabirira.”—Abeefeso 5:29.

KYE KITEGEEZA: Amagezi ga Bayibuli ago gatukubiriza okukola kyonna ekisoboka okulabirira omubiri gwaffe. Okunoonyereza okumu kulaga nti endwadde nnyingi ziva ku ebyo bye tukola mu bulamu. N’olwekyo bwe tukola ebintu ebirungi kituyamba okuba n’obulamu obulungi.

BY’OSOBOLA OKUKOLA:

  • Emmere. Ffaayo ku ndya yo, ng’olya emmere erimu ekiriisa era ng’onywa amazzi agamala.

  • Kola dduyiro. Okukola dduyiro kiyamba omubiri gwo, k’obe wa myaka emeka, oba k’obe ng’oliko obulemu, oba ng’olina obulwadde obw’olukonvuba. Wadde ng’ab’eŋŋanda zo, mikwano gyo, oba abasawo basobola okukuwa amagezi okukola dduyiro, ggwe kennyini olina okufuba okulaba nti okola dduyiro!

  • Weebake ekimala. Bw’omala ekiseera kiwanvu nga teweebaka kimala, kisobola okukuviirako okufuna endwadde ez’amaanyi. Abantu bangi tebeebaka kimala kubanga basalawo okukola ebintu ebitali bimu mu budde mwe balina okwebakira. Naye bw’ofuba okwebaka ekimala, oba n’obulamu obulungi.

WEEWALE EMIZE EMIBI

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo.”​—2 Abakkolinso 7:1.

KYE KITEGEEZA: Tuba n’obulamu obulungi bwe twewala okukozesa ebintu ebyonoona emibiri, gamba nga ssigala, kubanga ebintu ebyo bimanyiddwa okuba nga bivaako endwadde nnyingi.

BY’OSOBOLA OKUKOLA: Ssaawo olunaku lw’ojja okuva ku ssigala era lulambe ku kalenda yo. Ng’olunaku olwo lunaatera okutuuka, weggyeeko ssigala yenna gw’olina, ebintu by’okozesa okumukoleeza, n’ebintu ebirala byonna ebirina akakwate n’omuze ogwo. Weewale okugenda mu bifo omuli abantu abeenyigira mu mize egifaananako n’ogwo. Buulira mikwano gyo n’ab’omu maka go ku ekyo ky’osazeewo, nabo basobole okukuyamba.

AMAGEZI AMALALA AGALI MU BAYIBULI

Omusajja ng’asoma Bayibuli

Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo basobola okukuyamba okufuna Bayibuli

WEEWALE EBINTU EBIVAAKO OBUBENJE.

“Bw’ozimbanga ennyumba, waggulu ku nnyumba eyo oteekangako omuziziko, oleme kuleeta ku nnyumba yo musango gwa kuyiwa musaayi singa wabaawo awanukayo n’agwa.”​—EKYAMATEEKA 22:8.

FUGA OBUSUNGU.

“Omuntu alwawo okusunguwala aba mutegeevu, naye atali mugumiikiriza ayoleka obusirusiru bwe.”​—ENGERO 14:29.

WEEWALE OKULYA ENNYO.

“Tobanga mu abo . . . abeevuubiika ennyama.”​—ENGERO 23:20.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share