Manya Ekituufu
Obuzibu
Obusosoze emirundi mingi buva ku butamanya kituufu. Lowooza ku byokulabirako bino:
Abakozesa abamu mu bukyamu balowooza nti abakazi tebasobola mirimu girimu bya ssaayansi oba egyetaagisa obukugu.
Mu nsi emu eya Bulaaya, Abayudaaya baabawaayiriza nti baali bayiwa obutwa mu nzizi era nti baali basaasaanya endwadde. Mu kiseera ky’obufuzi bw’Abanazi, Abayudaaya baddamu okuwaayirizibwa. Ku luno baabawaayiriza nti be baali baviiriddeko eby’enfuna bya Bugirimaani okugootaana. Ebyo byaviirako Abayudaaya okusosolwa ennyo era n’okutuusa leero obusosoze obwo bukyeyoleka.
Abantu bangi balowooza mu bukyamu nti buli muntu aliko obulemu si musanyufu oba nti mwennyamivu.
Abantu ababa n’endowooza ng’ezo enkyamu bayinza okuwaayo n’ebyokulabirako oba okumenyayo bye batwala ng’obukakafu okulaga nti endowooza yaabwe ntuufu. Era balowooza nti omuntu yenna atakkiriziganya nabo ali mabega.
Amagezi Okuva mu Bayibuli
“Omuntu atalina kumanya si mulungi.”—ENGERO 19:2.
Kitegeeza ki? Bwe tutamanya kituufu, tusobola okusalawo mu ngeri enkyamu. Bwe tukkiriza ebintu ebitaliiko bukakafu, tusobola okufuna endowooza etali ntuufu ku balala.
Engeri Okumanya Ekituufu Gye Kituganyulamu
Bwe tumanya ekituufu ku bantu, kituyamba obutakkiriza bintu bya bulimba bangi bye baboogerako. Ate era bwe tumanya nti ebintu ebibadde byogerwa ku bantu ab’ekiti ekimu si bituufu, kituyamba okufaayo okumanya ekituufu ne ku bantu ab’ebiti ebirala, mu kifo ky’okukkiriza obukkiriza ebyo abalala bye baboogerako.
Ky’Oyinza Okukola
Kijjukire nti wadde ng’abantu bangi bayinza okuba nga bagamba nti abantu eb’ekika ekimu balina empisa embi, abantu abasinga obungi mu kika ekyo bayinza okuba nga si bwe batyo bwe bali.
Kimanye nti oyinza okuba ng’omanyi kitono nnyo ku bantu b’olowooza nti obamanyi bulungi.
Fuba okumanya ebibakwatako okuva mu nsonda ezeesigika.