LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g20 Na. 3 lup. 12-13
  • Laga Okwagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Laga Okwagala
  • Zuukuka!—2020
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obuzibu
  • Amagezi Okuva mu Bayibuli
  • Ky’Oyinza Okukola
  • Baasobola Okweggyamu Obusosoze
    Zuukuka!—2020
  • Obusosoze—Obulina?
    Zuukuka!—2020
  • Ensi Omutali Busosoze​—Eneebaawo Ddi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Obusosoze​—Kizibu Ekiri mu Nsi Yonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
See More
Zuukuka!—2020
g20 Na. 3 lup. 12-13
Omukazi Omuyindi ng’ayamba omukazi omuzungu omuzeeyi okwambuka amadaala era ng’amusituliddeko n’ebintu.

Laga Okwagala

Obuzibu

Obusosoze tebwanguwa kuggwa mu muntu. Nga bwe kitwala ekiseera okulwanyisa akawuka akaleeta obulwadde, kitwala ekiseera okweggyamu obusosoze. Kiki ky’osobola okukola okweggyamu obusosoze?

Amagezi Okuva mu Bayibuli

Ebifaananyi: 1. Omusajja ow’omu Asiya ng’akwatiddeko oluggi omusajja omuddugavu akutte obukopo bwa caayi. 2. Omusajja omuddugavu awa ku bakozi banne caayi omuli n’omukazi Omuyindi alagiddwa waggulu.

“Mwambale okwagala kubanga kwe kunywereza ddala obumu.” ​—ABAKKOLOSAAYI 3:14.

Kitegeeza ki? Okukolera abalala ebirungi kigatta wamu abantu. Gy’okoma okulaga abalala okwagala gy’okoma obutabasosola. Bwe weeyongera okwagala abalala kikuyamba okulekera awo okubalowoozaako obubi.

Ky’Oyinza Okukola

Ebifaananyi: 1. Omukazi Omuyindi ng’ayamba omukazi omuzungu omuzeeyi okwambuka amadaala era ng’amusituliddeko n’ebintu. 2. Omukazi Omuzungu atwalidde muliraanwa we asibuka mu Asiya eby’okulya.

Lowooza ku ngeri gy’oyinza okulaga okwagala eri abantu ab’ekiti ekimu be walinako endowooza embi. Ebyo by’obakolera tebirina kuba binene nnyo. Gezaako okukola kimu oba bibiri ku bintu bino wammanga:

Buli lw’obaako ekintu ekyoleka okwagala ky’obakolera, weeyongera okuggwaamu obusosoze

  • Faayo ku bantu abo ng’obakwatira oluggi bayitewo oba ng’obaleka batuule mu kifo w’obadde otudde.

  • Gezaako okunyumyako nabo wadde nga tebamanyi bulungi lulimi lwo.

  • Bwe beeyisa mu ngeri gy’ototegeera, ba mugumiikiriza.

  • Bwe bakubuulira ku bizibu byabwe balumirirwe.

Ekyokulabirako Nazaré (Guinea-Bissau)

“Nnali saagala bagwira. Baŋŋambanga nti abagwira bangi baali balimba, gavumenti esobole okubawa ssente era nti bangi ku bo baali bamenyi ba mateeka. Ekyo kyandeetera obutabaagala. Kyokka nnali sikitwala nti nnali musosoze kubanga abantu bangi bwe batyo bwe baali batwala abagwira.

“Oluvannyuma nnakizuula nti endowooza gye nnalina ku bagwira yali eraga nti nnali mbasosola. Amagezi amalungi agali mu Bayibuli gannyamba okutandika okubalaga okwagala. Kati sikyabeewala. Mu kifo ky’ekyo, mbabuuza era njogera nabo. Nfuba okubamanya kinnoomu. Kati mbalinako endowooza ennungi era sibeekengera.”

“Nnali njagala okulwanyisa obutali bwenkanya”

Rafika Morris.

Rafika yeegatta ku kibiina ekimu okulwanyisa obusosoze mu langi. Naye bwe yagenda ku lukuŋŋaana olumu olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa, yalaba obumu bwe yali anoonya.

Laba vidiyo Rafika Morris: Nnali Njagala Okulwanyisa Obutali Bwenkanya. Ginoonye ku jw.org/lg.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share