LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g21 Na. 3 lup. 14-15
  • Kikulu Okumanya Obanga Eriyo Omutonzi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kikulu Okumanya Obanga Eriyo Omutonzi
  • Zuukuka!—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ojja kuba n’obulamu obw’amakulu
  • Ojja kufuna amagezi agajja okukuyamba mu bulamu obwa bulijjo
  • Ojja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo by’olina
  • Ojja kufuna essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso
  • Amazima Agakwata ku Katonda ge Galuwa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Bayibuli Etuwa Essuubi
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Bayibuli Etuwa Essuubi
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Amasomo Agatandikirwako mu Kuyiga Bayibuli
  • Katonda y’Ani?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
See More
Zuukuka!—2021
g21 Na. 3 lup. 14-15
Abantu nga batunuulira ebinyonyi ebiri ku muti.

Kikulu Okumanya Obanga Eriyo Omutonzi

Lwaki kikulu okumanya obanga eriyo Omutonzi? Bw’ofuna obukakafu obulaga nti Katonda gyali, ojja kwagala okufuna obukakafu obulaga nti ye yaluŋŋamya abo abaawandiika Bayibuli, era ojja kufuna emiganyulo gino wammanga.

Ojja kuba n’obulamu obw’amakulu

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Katonda abakolera ebintu ebirungi, gamba, ng’abawa enkuba okuva mu ggulu, ng’abaza emmere mu biseera byayo, ng’abawa emmere mu bungi, era ng’ajjuza emitima gyammwe essanyu.’​—Ebikolwa 14:17.

KYE KITEGEEZA: Buli kimu ky’olabako mu butonde, kirabo ekyatuweebwa Omutonzi. Ojja kweyongera okusiima ebirabo ebyo singa okukitegeera nti oyo eyabikuwa akufaako nnyo.

Ojja kufuna amagezi agajja okukuyamba mu bulamu obwa bulijjo

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Ojja kutegeera eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya, enkola yonna ey’ebintu ebirungi.’​—Engero 2:9.

KYE KITEGEEZA:Olw’okuba Katonda ye yakutonda, amanyi bye weetaaga okusobola okuba omusanyufu. Bw’osoma Bayibuli, oyiga ebintu bingi ebisobola okukuyamba mu bulamu.

Ojja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo by’olina

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Ojja kuvumbula okumanya okukwata ku Katonda.’​—Engero 2:5.

KYE KITEGEEZA: Okukimanya nti eriyo Omutonzi, kisobola okukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu mu bulamu, gamba nga bino: Obulamu bulina kigendererwa ki? Lwaki waliwo okubonaabona kungi? Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde? Bayibuli eddamu ebibuuzo ebyo mu ngeri ematiza.

Ojja kufuna essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso

BAYIBULI KY’EGAMBA: “‘Kye ndowooza okubakolera nkimanyi,’ Yakuwa bw’agamba, ‘ndowooza kubaleetera mirembe so si kubaleetako kabi, musobole okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi era n’essuubi.’”​—Yeremiya 29:11.

Laba vidiyo, Tukakasa Tutya nti Bayibuli Ntuufu? ne Ani Yawandiika Bayibuli? ku jw.org/lg. Okusobola okutuuka vidiyo ezo we ziri, wandiika ebigambo “tukakasa tutya” oba “yawandiika Bayibuli” awali ekigambo “Noonya.”

KYE KITEGEEZA: Katonda asuubiza nti mu biseera eby’omu maaso, ajja kuggyawo ebikolwa ebibi, okubonaabona, awamu n’okufa. Bw’oba okkiririza mu bisuubizo bya Katonda, kikuyamba ogumira ebizibu by’oyitamu kati.

Engeri abamu gye baganyuddwa mu kukkiriza nti eriyo Omutonzi

Cyndi.

“Kinneewuunyisa nnyo bwe ndaba engeri Katonda gy’atuyambamu. Atuyamba okumanya ebintu ebisinga obukulu mu bulamu, engeri y’okukolaganamu n’abalala, era n’engeri y’okufuuka mikwano gye.”​—Cyndi, Amerika.

Elise.

“Okukkiriza nti eriyo Omutonzi kinnyambye okuba n’obulamu obw’amakulu era obw’essanyu. Olw’okuba buli kiseera mbaako bye njiga ebimukwatako, ebikwata ku bitonde, era ne ku Kigambo kye Bayibuli, mba n’eby’okukola bingi ebindeetera essanyu.”​—Elise, Bufalansa.

Peter.

“Okukolera ku ebyo Omutonzi waffe by’atuyigiriza mu Bayibuli, kinnyambye okuba omusanyufu. Kinnyambye obutanoonya nsobi mu balala, okubafaako, n’okuba omumativu. Ate era kinnyambye okuba omuzadde omulungi.”​—Peter, Budaaki.

Liz.

“Bwe nnali sinnayiga bikwata ku Katonda, ebintu byokka bye nnali nkola kwe kulya, okwebaka, n’okweyuna okutuuka ku mulimu mu budde. Saali musanyufu n’akatono. Naye kati obulamu mbutwala ng’ekirabo eky’omuwendo Katonda bwe yatuwa tusobole okubunyumirwa.”​—Liz, Estonia.

Adrien.

“Ndi muntu eyeeraliikirira ennyo. Naye okukimanya nti ebintu ebibi, obutali bwenkanya, n’okubonaabona bijja kuggwaawo, kinnyamba okugumiikiriza.”​—Adrien, France.

Laba engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebikulu abantu bye beebuuza mu bulamu. Laba vidiyo, Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share