LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • my olugero 72
  • Katonda Ayamba Kabaka Keezeekiya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda Ayamba Kabaka Keezeekiya
  • Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Similar Material
  • Abasumba Omusanvu, n’Abantu Omunaana ab’Ekitiibwa​—Be Baani Leero?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Malayika wa Yakuwa Yakuuma Keezeekiya
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • “Ai Yakuwa, . . . Nneesiga Ggwe”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
my olugero 72

OLUGERO 72

Katonda Ayamba Kabaka Keezeekiya

OMANYI lwaki omusajja ono asaba Yakuwa? Lwaki atadde ebbaluwa zino mu maaso g’ekyoto kya Yakuwa? Omusajja ono ye Keezeekiya. Ye kabaka w’obwakabaka obw’omu maserengeta obw’ebika ebibiri ebya Isiraeri. Era ali mu buzibu bwa maanyi nnyo. Lwaki?

Kubanga amagye ga Bwasuli gamaze okuzikiriza obwakabaka obw’ebika 10 obw’omu mambuka. Yakuwa yakkiriza kino okubaawo kubanga abantu abo baali babi nnyo. Era kati amagye ga Bwasuli gazze okulwana n’obwakabaka obw’ebika ebibiri.

Kabaka w’e Bwasuli yaakaweereza Kabaka Keezeekiya amabaluwa. Gano ge mabaluwa Keezeekiya g’atadde mu maaso ga Katonda. Amabaluwa ganyooma Yakuwa, era zigamba Keezeekiya okulekulira. Eno ye nsonga lwaki Keezeekiya asaba: ‘Ai Yakuwa, tuwonye okuva ku kabaka w’e Bwasuli. Awo amawanga gonna gajja kukimanya nti ggwe Katonda wekka.’ Yakuwa anaawuliriza Keezeekiya?

Keezeekiya kabaka mulungi. Talinga bakabaka ababi ab’obwakabaka obw’ebika 10 ebya Isiraeri, oba nga kitaawe omubi Kabaka Akazi. Keezeekiya agondedde amateeka ga Yakuwa gonna. Bwe kityo, Keezeekiya bw’amala okusaba, nnabbi Isaaya amuweereza obubaka buno okuva eri Yakuwa: ‘Kabaka w’e Bwasuli tajja kuyingira mu Yerusaalemi. Tewali n’omu ku baserikale be ajja kukisemberera. Tebajja kulasa kasaale n’akamu ku kibuga.’

Tunuulira ekifaananyi ku lupapula luno. Omanyi abaserikale bano bonna abafudde? Basuuli. Yakuwa yatuma malayika we, era mu kiro kimu malayika yatta abaserikale Abasuuli 185,000. Bwe kityo, kabaka w’e Bwasuli alekulira n’addayo ewaabwe.

Obwakabaka obw’ebika ebibiri buwonawo era abantu baba n’emirembe okumala akaseera. Naye Keezeekiya bw’amala okufa, mutabani we Manase afuuka kabaka. Manase ne mutabani we Amoni amuddira mu bigere bakabaka babi nnyo. Era ensi eddamu okujjula obumenyi bw’amateeka n’ettemu. Kabaka Amoni bw’atemulwa abaweereza be, mutabani we Yosiya afuulibwa kabaka w’obwakabaka obw’ebika ebibiri.

2 Bassekabaka 18:1-36; 19:1-37; 21:1-25.

Ebibuuzo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share