Abasumba Omusanvu, n’abantu Omunaana ab’ekitiibwa—be Baani Leero?
“Tulimuyimusizaako abasumba musanvu, n’abantu munaana ab’ekitiibwa.”—MI. 5:5.
1. Lwaki olukwe lwa kabaka wa Busuuli ne kabaka wa Isiraeri lwali teruyinza kuyitamu?
MU KYASA eky’omunaana E.E.T., awo nga wakati w’omwaka gwa 762 ne 759, kabaka wa Isiraeri ne kabaka wa Busuuli baalangirira olutalo ku bwakabaka bwa Yuda. Baalina kigendererwa ki? Baali baagala okulumba Yerusaalemi, baggye Akazi ku ntebe y’obwakabaka bateekeko omuntu omulala, oboolyawo ataali mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi. (Is. 7:5, 6) Naye olukwe lwabwe lwali teruyinza kuyitamu. Yakuwa yali yagamba nti entebe ya Dawudi yali ya kutuulwangako muntu ava mu lunyiriri lwa Dawudi, ate nga buli kimu Yakuwa ky’ayogera kiba kirina okutuukirira.—Yos. 23:14; 2 Sam. 7:16.
2-4. Obunnabbi obuli mu Isaaya 7:14, 16 bwatuukirira butya (a) mu kyasa eky’omunaana E.E.T.? (b) mu kyasa ekyasooka E.E.?
2 Mu kusooka, kabaka wa Busuuli n’owa Isiraeri baalabika ng’abaali bagenda okuwangula olutalo. Lumu batta abasajja ba Akazi abalwanyi 120,000, era ku olwo Maaseya, “mutabani wa kabaka,” yattibwa. (2 Byom. 28:6, 7) Naye ebyo byonna Yakuwa yali abiraba. Yajjukira ekyo kye yali yasuubiza Dawudi era n’atuma nnabbi Isaaya okutwala obubaka obuzzaamu amaanyi eri Akazi.
3 Isaaya yagamba nti: “Laba! Omuwala aliba olubuto, alizaala omwana ow’obulenzi, era alimutuuma erinnya Emmanweri. . . . Omwana oyo bw’anaaba tannamanya kugaana bibi n’okweroboza ebirungi, ensi ya bakabaka ababiri [owa Busuuli n’owa Isiraeri] b’otya ennyo erirekebwa.” (Is. 7:14, 16, NW ) Kya lwatu nti ekitundu ekisooka eky’obunnabbi obwo kikwata ku kuzaalibwa kwa Masiya. (Mat. 1:23) Kyokka okuva bwe kiri nti mu kyasa ekyasooka E.E., “bakabaka ababiri,” kabaka wa Busuuli n’owa Isiraeri, baali tebakyali ba bulabe eri Yuda, obunnabbi obukwata ku Emmanweri buteekwa okuba nga bwasooka kutuukirizibwa mu kiseera kya Isaaya.
4 Nga wayise ekiseera oluvannyuma lwa Isaaya okwogera obunnabbi obwo, mukyala we yafuna olubuto era n’azaala omwana ow’obulenzi ne bamutuuma Makeru-salalu-kasu-bazi. Omwana oyo ayinza okuba ye “Emmanweri” Isaaya gwe yali ayogeddeko.a Mu biseera Bayibuli we yawandiikirwa, omwana bwe yazaalibwanga yaweebwanga erinnya oboolyawo eryali likwataganyizibwa n’ekintu ekikulu kye baabanga baagala okujjukira, kyokka nga bazadde be n’ab’eŋŋanda ze bamuyita linnya ddala. (2 Sam. 12:24, 25) Tewali bukakafu bwonna bulaga nti Yesu yayitibwako ku linnya Emmanweri.—Soma Isaaya 7:14; 8:3, 4.
5. Kabaka Akazi yasalawo atya mu ngeri etaali ya magezi?
5 Isiraeri ne Busuuli bwe zaali ziteekateeka okulumba Yuda, Bwasuli nayo yali eteekateeka okuwamba ekitundu ekyo. Bwasuli yali egenda yeeyongera amaanyi era ng’eyolekedde okufuuka eggwanga kirimaanyi. Okusinziira ku Isaaya 8:3, 4, Bwasuli yali ya kutwala ‘obugagga bw’e Damasiko n’omunyago gw’e Samaliya’ nga tennaba kulumba bwakabaka bwa Yuda. Mu kifo ky’okukkiririza mu ebyo Katonda bye yali amugambye okuyitira mu Isaaya, Akazi yasalawo okukolagana ne kabaka wa Bwasuli. N’ekyavaamu, Abasuuli baatandika okufuga Yuda mu ngeri ey’obukambwe. (2 Bassek. 16:7-10) Akazi yalemererwa okukuuma abantu ba Yuda, bw’atyo n’akiraga nti teyali musumba mulungi. N’olwekyo buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Bwe mbaako ekintu kye nsalawo, obwesige bwange mbuteeka mu Yakuwa oba mu bantu?’—Nge. 3:5, 6.
OMUSUMBA OMUGGYA YEEYISA MU NGERI YA NJAWULO
6. Keezeekiya yayawukana atya ku Akazi?
6 Kabaka Akazi yafa mu 746 E.E.T., era mutabani we Keezeekiya ye yamuddira mu bigere. Mu kiseera ekyo, abantu ba Yuda baali baavu nnyo era baali balekedde awo okusinza Yakuwa. Kati olwo kiki Keezeekiya kye yasooka okukola? Yasooka kukola ku bya nfuna by’eggwanga lya Yuda ebyali bigootaanye ennyo? Nedda. Keezeekiya yali ayagala nnyo Yakuwa era yali musumba mulungi. Ekintu kye yasooka okukola kwe kuzzaawo okusinza okw’amazima n’okuyamba abantu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Bwe yategeera ekyo Katonda kye yali amwetaagisa, yatandikirawo okukikola. Nga Keezeekiya yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi!—2 Byom. 29:1-19.
7. Lwaki Abaleevi baali beetaaga obuwagizi bwa kabaka omuggya?
7 Abaleevi baalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi obw’okuyamba abantu okuddamu okusinza Yakuwa. Bwe kityo, Keezeekiya yayogerako nabo n’abasuubiza okubawagira. Abaleevi bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okuwulira nga kabaka waabwe abagamba nti: “Mukama abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga.” (2 Byom. 29:11) Abaleevi baali baweereddwa ekiragiro okuyamba abantu okusinza Katonda ow’amazima.
8. Kintu ki ekirala Keezeekiya kye yakola okuyamba abantu okuddamu okusinza Yakuwa, era biki ebyavaamu?
8 Keezeekiya yayita abantu ba Yuda ne Isiraeri bonna okukwata embaga ey’Okuyitako. Oluvannyuma lw’embaga eyo, abantu baakwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse okumala ennaku musanvu. Embaga eyo yabaleetera essanyu lingi ne kiba nti baagyongezaayo okumala ennaku endala musanvu. Bayibuli egamba nti: “Ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi: kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isiraeri tewabangawo ebifaanana ebyo mu Yerusaalemi.” (2 Byom. 30:25, 26) Okukwata embaga eyo kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo abantu amaanyi! Mu 2 Ebyomumirembe 31:1, wagamba nti: “Awo ebyo byonna bwe byaggwa, . . . ne bamenyaamenya empagi, ne batemaatema Baasera, ne bamenyera ddala ebifo ebigulumivu n’ebyoto.” Ebyo byonna byalaga nti eggwanga lya Yuda lyali litandise okudda eri Yakuwa. Ekyo kyabayamba okweteekerateekera ebyo ebyali binaatera okubaawo.
KABAKA YEETEEKERATEEKERA EBISEERA EBIZIBU
9. (a) Mu ngeri ki olukwe lwa Isiraeri gye lwagwa obutaka? (b) Mu kusooka buwanguzi ki Sennakeribu bwe yafuna mu Yuda?
9 Nga Isaaya bwe yali yagamba, Bwasuli yawamba obwakabaka bwa Isiraeri era n’etwala abantu baabwo mu buwambe. Ekyo kyalemesa Isiraeri okuteeka kabaka ataali mu lunyiriri lwa Dawudi ku ntebe y’obwakabaka bwa Yuda. Naye kiki ekirala Bwasuli kye yali eyagala okukola? Bwasuli yali eyagala kuwamba ne Yuda. Bayibuli egamba nti: “Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogwa Kabaka Keezeekiya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’atabala ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, n’abimenya.” Kigambibwa nti Sennakeribu yawamba ebibuga bya Yuda 46. Wandiwulidde otya singa wali obeera mu Yerusaalemi mu kiseera ekyo era ng’owulira nti eggye lya Bwasuli ligenda liwamba ebibuga bya Yuda kimu ku kimu era nga linaatera okutuuka ku kibuga mw’obeera?—2 Bassek. 18:13.
10. Lwaki ebigambo ebiri mu Mikka 5:5, 6 biyinza okuba nga byazzaamu Keezeekiya amaanyi?
10 Kyo kituufu nti Keezeekiya yali amanyi akabi akaali koolekedde eggwanga lye, kyokka mu kifo ky’okunoonya obuyambi mu mawanga agaali gatasinza Yakuwa nga kitaawe Akazi ataali mwesigwa bwe yakola, Keezeekiya yeesiga Yakuwa. (2 Byom. 28:20, 21) Keezeekiya ayinza okuba nga yali amanyi ebigambo bino nnabbi Mikka eyaliwo mu kiseera kye bye yayogera: ‘Omwasuli tulimuyimusizaako abasumba musanvu, n’abantu munaana ab’ekitiibwa. Nabo balirunda ensi ya Bwasuli n’ekitala.’ (Mi. 5:5, 6) Ebigambo ebyo biyinza okuba nga byazzaamu Keezeekiya amaanyi kubanga byali biraga nti eggye ery’amaanyi ennyo lyandirwanyisizza eggye lya Bwasuli ne liriwangula.
11. Ddi obunnabbi obukwata ku basumba omusanvu n’abantu omunaana ab’ekitiibwa lwe bwandituukiriziddwa ku kigero ekisingako?
11 Obunnabbi obukwata ku basumba omusanvu n’abantu omunaana ab’ekitiibwa (“abalangira,” The New English Bible) bwandituukiriziddwa ku kigero ekisingawo nga wayise ekiseera kiwanvu oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwa Yesu, ‘omufuzi mu Isiraeri.’ (Soma Mikka 5:1, 2.) Ekyo kyandibaddewo mu kiseera “Omwasuli” oba omulabe, mwe yandirumbidde abantu ba Yakuwa. Ggye ki, erinaakulemberwa Yesu, Yakuwa ly’anaakozesa okuwangula omulabe oyo? Tujja kufuna eky’okuddamu mu kibuuzo kino. Naye ka tusooke tulabe kye tuyigira ku ekyo Keezeekiya kye yakola ng’Abasuuli bamulumbye.
KEEZEEKIYA ALIKO KYE YAKOLAWO
12. Kiki Keezeekiya ne banne kye baakolawo okusobola okukuuma abantu ba Katonda?
12 Yakuwa mwetegefu okutuyamba okuvvuunuka ebizibu bye tutasobola kuvvuunuka mu maanyi gaffe, naye atwetaagisa okubaako kye tukolawo. Keezeekiya yateesa n’abalangira “n’abasajja be ab’amaanyi,” ne basalawo “okuziba amazzi ag’omu nzizi ezaali ebweru w’ekibuga.” Bayibuli egamba nti: “[Keezeekiya] n’aguma omwoyo n’azimba bbugwe yenna eyali amenyese n’amugulumiza okwenkana n’ebigo ne bbugwe omulala ebweru, . . . n’akola eby’okulwanyisa n’engabo bingi nnyo.” (2 Byom. 32:3-5) Okusobola okulunda abantu be n’okubakuuma mu kiseera ekyo, Yakuwa yakozesa abasajja ab’amaanyi, omwali Keezeekiya, abalangira, ne bannabbi abeesigwa.
13. Kintu ki ekikulu ennyo Keezeekiya kye yakola okusobola okuyamba abantu okwetegekera obulumbaganyi obwali bugenda okujja, era ebigambo bye byayamba bitya abantu?
13 Ng’oggyeko okuziba amazzi g’enzizi n’okuzimba bbugwe w’ekibuga, Keezeekiya alina n’ekintu ekirala kye yakola ekyali ekikulu ennyo. Olw’okuba Keezeekiya yali musumba mulungi, yakuŋŋaanya abantu n’abazzaamu amaanyi ng’agamba nti: “Temutya so temukeŋŋentererwa olwa kabaka w’e Bwasuli . . . , kubanga waliwo omukulu ali naffe okusinga abali naye. Wamu naye waliwo omukono ogw’omubiri; naye wamu naffe waliwo Mukama Katonda waffe okutuyamba n’okulwana entalo zaffe.” Keezeekiya yajjukiza abantu nti Yakuwa yali ajja kubalwanirira. Ekyo kyabayamba okwesiga Katonda n’okuba abavumu. Keezeekiya, abalangira, n’abasajja be ab’amaanyi, awamu ne nnabbi Mikka ne nnabbi Isaaya, baakiraga nti baali basumba balungi, era ekyo Yakuwa yali yakyogerako okuyitira mu nnabbi we.—2 Byom. 32:7, 8; soma Mikka 5:5, 6.
Ebyo Keezeekiya bye yayogera byazzaamu nnyo abantu amaanyi (Laba akatundu 12, 13)
14. Kiki Labusake kye yakola, naye kiki abantu kye baakola?
14 Kabaka wa Bwasuli n’eggye lye baasiisira mu Lakisi. Ng’ali eyo, yasindika ababaka basatu okulagira abantu b’omu Yerusaalemi okwewaayo mu mikono gye. Omwogezi we omukulu eyali ayitibwa Labusake, yakozesa obukoddyo obutali bumu. Ng’ayogera mu Lwebbulaniya, yakubiriza abantu okuva ku kabaka waabwe beeweeyo mu mikono gya kabaka wa Bwasuli, ng’abasuubiza okubatwala mu nsi gye bandibeeredde mu bulamu obulungi, kyokka ng’ekyo tekyali kituufu. (Soma 2 Bassekabaka 18:31, 32.) Era Labusake yagamba abantu nti nga bakatonda b’amawanga amalala bwe bataasobola kuyamba bantu baabwe, ne Yakuwa teyandisobodde kununula Bayudaaya mu mikono gy’Abasuuli. Abantu baayoleka amagezi ne batayanukula Labusake. Leero, abaweereza ba Yakuwa bakoppa ekyokulabirako kyabwe.—Soma 2 Bassekabaka 18:35, 36.
15. Kiki abantu b’omu Yerusaalemi kye baalina okukola, era Yakuwa yanunula atya ekibuga ekyo?
15 Kya lwatu nti Keezeekiya yatya, naye mu kifo ky’okunoonya obuyambi okuva mu mawanga amalala, yasalawo okwebuuza ku nnabbi Isaaya. Isaaya yagamba Keezeekiya nti: “[Sennakeribu] talituuka ku kibuga kino, so talirasaayo kasaale.” (2 Bassek. 19:32) Ekintu abantu b’omu Yerusaalemi kye baalina okukola kwe kwongera okwesiga Yakuwa. Yakuwa yandibalwaniridde, era ekyo yakikola. Bayibuli egamba nti: “Awo olwatuuka ekiro ekyo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuuli kasirivu mu obukumi munaana mu enkumi ttaano.” (2 Bassek. 19:35) Eky’okuba nti Keezeekiya yaziba enzizi z’amazzi era n’azimba bbugwe w’ekibuga, si kye kyasobozesa abantu ba Yuda okununulibwa, wabula baanunulibwa olw’okuba Yakuwa yabayamba.
BYE TUYIGA
16. Mu kiseera kyaffe (a) abantu b’omu Yerusaalemi be baani? (b) “Omwasuli” y’ani? (c) abasumba omusanvu n’abantu omunaana ab’ekitiibwa be baani?
16 Obunnabbi obukwata ku basumba omusanvu n’abantu omunaana ab’ekitiibwa butuukirira ku kigero ekya waggulu mu kiseera kyaffe. Abantu b’omu Yerusaalemi baalumbibwa Abasuuli. Mu kiseera ekitali kya wala, “Omwasuli” ajja kulumba abantu ba Yakuwa abalabika ng’abatalina bukuumi ng’ayagala okubasaanyawo. Ebyawandiikibwa byogera ku bulumbaganyi obwo, era byogera ne ku bulumbaganyi bwa ‘Googi ow’e Magoogi,’ ku bulumbaganyi bwa “kabaka w’obukiika obwa kkono,” ne ku bulumbaganyi bwa “bakabaka b’ensi.” (Ez. 38:2, 10-13; Dan. 11:40, 44, 45; Kub. 17:14; 19:19) Kyandiba nti obulumbaganyi obwo bwa njawulo? Buyinza obutaba bwa njawulo. Bayibuli eyinza okuba ng’eyogera ku bulumbaganyi bwe bumu naye ng’ekozesa ebigambo bya njawulo. Okusinziira ku bunnabbi bwa Mikka, ggye ki Yakuwa ly’anaakozesa okulwanyisa “Omwasuli”? Agenda kukozesa eggye abantu bangi lye batasuubira. Bayibuli egamba nti eggye eryo be ‘basumba omusanvu n’abantu omunaana ab’ekitiibwa’! (Mi. 5:5) Abasumba abo n’abantu ab’ekitiibwa (oba, “abalangira,” NEB) be bakadde mu kibiina. (1 Peet. 5:2) Leero, Yakuwa akozesa abakadde bangi abeesigwa okulunda n’okuzzaamu amaanyi abantu be basobole okwetegekera obulumbaganyi ‘bw’Omwasuli.’b Obunnabbi bwa Mikka bwalaga nti bajja kulunda ensi ya Bwasuli n’ekitala. (Mi. 5:6) Ekimu ku ‘by’okulwanyisa bye bakozesa mu lutalo lwabwe,’ ‘ky’ekitala eky’omwoyo,’ Ekigambo kya Katonda.—2 Kol. 10:4; Bef. 6:17.
17. Bintu ki ebina abakadde bye bayigira ku bintu bye tusomyeko mu kitundu kino?
17 Abakadde mu kibiina balina ebintu bye bayinza okuyigira ku ebyo bye tusomyeko mu kitundu kino: (1) Ekintu ekisinga obukulu kye bayinza okukola okwetegekera obulumbaganyi ‘bw’Omwasuli’ kwe kunyweza okukkiriza kwabwe n’okwa bakkiriza bannaabwe. (2) “Omwasuli” bw’anaalumba abantu ba Katonda, abakadde basaanidde okwesiga Yakuwa nti ajja kutuyamba. (3) Mu kiseera ekyo, obulagirizi bwe tunaafuna okuva mu kibiina kya Yakuwa buyinza okulabika ng’obutakola. Ffenna tulina okuba abeetegefu okukolera ku bulagirizi obwo, ka bube nga bunaalabika ng’obukola oba obutakola. (4) Kino kye kiseera abo bonna abatadde obwesige bwabwe mu buyigirize obw’ensi, mu by’obugagga, oba mu bibiina by’abantu okukyusa endowooza yaabwe. Abakadde basaanidde okukola kyonna ekisoboka okuyamba buli omu mu kibiina okwongera okwesiga Yakuwa.
18. Okufumiitiriza ku ebyo bye tuyize kinaatuyamba kitya mu biseera eby’omu maaso?
18 Ekiseera kijja kutuuka abaweereza ba Yakuwa balabike ng’abatalina bukuumi nga bwe kyali eri Abayudaaya abaali mu Yerusaalemi mu kiseera kya Keezeekiya. Ekyo bwe kinaabaawo, ebyo Keezeekiya bye yayogera bijja kutuzzaamu nnyo amaanyi. Yagamba nti: “Wamu [n’abalabe baffe] waliwo omukono ogw’omubiri; naye wamu naffe waliwo Mukama Katonda waffe okutuyamba n’okulwana entalo zaffe”!—2 Byom. 32:8.
a Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “omuwala” mu Isaaya 7:14 kiyinza okutegeeza omukyala omufumbo oba embeerera. N’olwekyo, ekigambo ekyo kisobola okukozesebwa ku mukyala wa Isaaya ne ku Maliyamu, omuwala Omuyudaaya eyali embeerera.
b Mu Byawandiikibwa, nnamba musanvu etera okukiikirira ekintu ekijjuvu. Nnamba munaana (esingako ku nnamba musanvu) etera okukiikirira ekintu ekingi ennyo.