ESSOMO 55
Malayika wa Yakuwa Yakuuma Keezeekiya
Obwakabaka bwa Bwasuli bwali bwawamba obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi. Kati Sennakeribu kabaka wa Bwasuli yali ayagala okuwamba obwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri. Yatandika okuwamba ebibuga bya Yuda kimu ku kimu. Naye ekibuga kye yali asinga okwagala okuwamba yali Yerusaalemi. Kyokka Sennakeribu yali takimanyi nti Yakuwa yali akuuma Yerusaalemi.
Keezeekiya, kabaka wa Yuda, yawa Sennakeribu ssente nnyingi aleme kulumba Yerusaalemi. Wadde nga Sennakeribu yatwala ssente ezo, yasindika eggye ery’amaanyi okulumba Yerusaalemi. Abantu b’omu Yerusaalemi baatya nnyo, kubanga Abaasuli baali basemberedde ekibuga kyabwe. Keezeekiya yagamba abantu b’omu Yuda nti: ‘Temutya. Wadde ng’Abaasuli ba maanyi, Yakuwa ajja kutuyamba okubawangula.’
Sennakeribu yatuma omubaka we ayitibwa Labusake e Yerusaalemi atiisetiise abantu. Labusake yayimirira wabweru w’ekibuga Yerusaalemi n’atandika okwogerera waggulu nti: ‘Yakuwa tasobola kubayamba. Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba. Tewali katonda asobola kubawonya kuva mu mukono gwaffe.’
Keezeekiya yasaba Yakuwa amubuulire eky’okukola. Yakuwa yamuddamu nti: ‘Totya olw’ebigambo bya Labusake. Sennakeribu tajja kuwamba Yerusaalemi.’ Oluvannyuma Keezeekiya yafuna amabaluwa okuva eri Sennakeribu. Gaali gagamba nti: ‘Mweweeyo mu mikono gyaffe. Yakuwa tasobola kubanunula.’ Keezeekiya yasaba Yakuwa n’amugamba nti: ‘Tukwegayiridde Yakuwa, tulokole, abantu bonna bamanye nti ggwe wekka ggwe Katonda ow’amazima.’ Yakuwa yamugamba nti: ‘Kabaka wa Bwasuli tajja kuyingira mu Yerusaalemi. Nja kukuuma ekibuga kyange.’
Sennakeribu yali mukakafu nti ekiseera kyonna ekibuga Yerusaalemi kyandifuuse kikye. Naye lumu ekiro, Yakuwa yatuma malayika we okugenda okumpi ne Yerusaalemi abasirikale ba Sennakeribu we baali basiisidde. Malayika oyo yatta abasirikale 185,000! Sennakeribu yafiirwa abalwanyi be ab’amaanyi. Yali takyalina kya kukola era yaddayo buzzi ewuwe. Yakuwa yakuuma Keezeekiya n’ekibuga Yerusaalemi, nga bwe yali asuubizza. Singa wali mu Yerusaalemi, wandyesize Yakuwa?
“Malayika wa Yakuwa asiisira okwetooloola abo bonna abatya Katonda, era abanunula.”—Zabbuli 34:7