“Totya; Nze Naakuyambanga”
YESU yalabula abagoberezi be nti: “Omulyolyomi ajja kusuulanga abamu ku mmwe mu kkomera, mugezesebwe mu bujjuvu.” Kyokka bwe yali tannabalabula ku ekyo, Yesu yagamba nti: “Totya bintu by’onootera okubonaabonamu.” Okuva bwe kiri nti Sitaani akola butaweera okulaba nti akomya omulimu gw’okubuulira Obwakabaka ng’asuula abaweereza ba Katonda mu makomera, tewali kubuusabuusa nti gavumenti zijja kweyongera okuyigganya Abakristaayo ab’amazima. (Kub. 2:10; 12:17) Kati olwo kiki ekinaatuyamba okweteekateeka okusobola okuziyiza enkwe za Sitaani ‘n’obutatya,’ nga Yesu bwe yagamba?
Kya lwatu nti abasinga obungi ku ffe twali twesanzeeko mu mbeera etuleetera okutya. Naye Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti Yakuwa mwetegefu okutuyamba tuleme kwekkiriranya olw’okutya. Atuyamba atya? Engeri emu Yakuwa gy’atuyambamu okweteekerateekera okuyigganyizibwa kwe kutulaga enkwe za Sitaani awamu n’abo baakozesa. (2 Kol. 2:11) Kino okusobola okukitegeera obulungi, ka tulabe ekyo ekyaliwo mu biseera bya Baibuli. Ate era tujja kulaba n’ebyokulabirako ebya bakkiriza bannaffe ab’omu kiseera kino abaasigala nga ‘banywevu nga baziyiza enkwe z’Omulyolyomi.’—Bef. 6:11-13.
Kabaka Atya Katonda Ayolekagana n’Omufuzi Omubi
Mu kyasa eky’omunaana ng’Embala Eno Tennatandika (E.E.T.), Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli yatuuka ku buwanguzi obw’omuddiriŋŋanwa ng’alwana n’amawanga agatali gamu. Ng’awulira nti wa maanyi nnyo, yayagala okulumba abantu ba Yakuwa awamu n’ekibuga kyabwe ekikulu, Yerusaalemi, ng’eyo Kabaka Keezeekiya eyali atya Katonda gye yali afugira. (2 Bassek. 18:1-3, 13) Tewali kubuusabuusa nti Sitaani yali ayagala kukozesa Sennakeribu okutuukiriza ekigendererwa kye eky’okusaanyawo okusinza okw’amazima ku nsi.—Lub. 3:15.
Sennakeribu yasindika ababaka be e Yerusaalemi okusaba abantu b’omu kibuga ekyo okuwanika. Mu babaka abo mwe mwali Labusake, eyakola ng’omwogezi wa kabaka omukulu.a (2 Bassek. 18:17) Labusake yalina ekigendererwa eky’okumalamu Abayudaaya amaanyi bawanike awatali kulwana. Labusake yakola ki okusobola okuleetera Abayudaaya okutya?
Baasigala Beesigwa nga Baawuliddwa
Labusake yagamba ababaka ba Keezeekiya nti: “Bw’atyo bw’ayogera kabaka omukulu kabaka w’e Bwasuli nti Bwesige ki buno bwe weesiga? . . . Laba nno weesiga omuggo ogw’olumuli luno olwatifu, ye Misiri; omuntu bw’aneesigama okwo, lunaayingira mu mukono gwe ne lugufumita.” (2 Bassek. 18:19, 21) Ebigambo Labusake bye yayogera byali bya bulimba, kubanga Keezeekiya yali takoze mukago na Misiri. Mu bigambo ebyo, Labusake yali ng’agamba Abayudaaya nti: ‘Tewali n’omu ajja kubayamba. Muli ku lwammwe—mwawuliddwa.’
Ne mu kiseera kyaffe, abo abaziyiza okusinza okw’amazima bagezaako okuleetera Abakristaayo ab’amazima okutya nga babaawula ku bannaabwe. Mwannyinaffe omu eyasibibwa mu kkomera olw’okukkiriza kwe era n’ayawulibwa ku bakkiriza banne okumala emyaka mingi, oluvannyuma yalaga ekyo ekyamuyamba obutekkiriranya. Yagamba nti: “Okusaba kwannyamba okusemberera Yakuwa . . . Nnajjukiranga ebigambo ebiri mu Isaaya 66:2, ebiraga nti Katonda afaayo ku oyo aba ‘abonaabona n’oyo alina omwoyo oguboneredde.’ Ekyo kyanzizangamu nnyo amaanyi era ne kimbudaabuda.” Mu ngeri y’emu, ow’oluganda eyamala emyaka mingi ng’asibiddwa yekka mu kaduukulu yagamba nti: “Nnakizuula nti omuntu ne bw’aba ng’asibiddwa mu kaduukulu akafunda ennyo, aba yeegazaanya kasita aba n’enkolagana ennungi ne Katonda.” Yee, okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kyayamba Abakristaayo bano ababiri okuguma nga baawuliddwa ku bannaabwe. (Zab. 9:9, 10) Kituufu nti abo abaali babayigganya baasobola okubaawula ku b’omu maka gaabwe, ku mikwano gyabwe, ne ku bakkiriza bannaabwe, naye Abajulirwa abo abaali basibiddwa baali bakimanyi bulungi nti abalabe baabwe baali tebasobola kubaawula ku Yakuwa.—Bar. 8:35-39.
N’olwekyo, nga kikulu nnyo okukozesa buli kakisa ke tufuna okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa! (Yak. 4:8) Bulijjo tusaanidde okwebuuza nti: ‘Yakuwa wa ddala gyendi? Bwe mbaako ne bye nsalawo mu bulamu, ka bibe bitono oba binene, nfuba okulowooza ku bulagirizi obuli mu Kigambo kye?’ (Luk. 16:10) Singa tufuba okusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Katonda, tewali nsonga yonna yandituleetedde kutya. Ng’ayogera ku lw’Abayudaaya abaali babonaabona, nnabbi Yeremiya yagamba nti: “N[n]akaabira erinnya lyo, ai Mukama, nga nnyima mu nju ey’obunnya eya wansi ennyo. . . . Wasembera ku lunaku kwe nnakukaabirira: n’oyogera nti Totya.”—Kung. 3:55-57.
Baalemererwa Okubaleetera Okubuusabuusa
Labusake yagezaako okukozesa obukujjukujju okusobola okuleetera abantu ba Katonda okubuusabuusa. Yagamba nti: “Si [Yakuwa] ye wuuyo Keezeekiya gw’aggidewo ebifo bye ebigulumivu n’ebyoto bye? . . . [Yakuwa] ye yaŋŋamba nti Tabaala ensi eno ogizikirize.” (2 Bassek. 18:22, 25) Mu kwogera atyo, Labusake yakiraga nti Yakuwa teyandirwaniridde bantu Be olw’okuba baali bamunyiizizza. Naye ekyo tekyali kituufu. Yakuwa yali asiima Keezeekiya awamu n’Abayudaaya abaali bakomyewo mu kusinza okw’amazima.—2 Bassek. 18:3-7.
Ne leero, abo abatuyigganya bayinza okukozesa obukujjukujju ne boogera ebintu ebirabika ng’ebituufu nga balina ekigendererwa eky’okutuleetera okubuusabuusa. Ng’ekyokulabirako, abamu ku baganda baffe ne bannyinnaffe ababa basibiddwa mu makomera batera okugambibwa nti omu ku b’oluganda abatwala obukulembeze mu ggwanga lyabwe yeegaanye okukkiriza kwe era nti tekiba kibi nabo okukola kye kimu. Kyokka Abakristaayo abeegendereza tebayinza kukkiriza bigambo ng’ebyo kubaleetera kubuusabuusa.
Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku mwannyinaffe mu kiseera kya Ssematalo II. Bwe yali mu kkomera, baamulaga ekiwandiiko ekyali kiraga nti ow’oluganda atwala obukulembeze mu nsi ye yali yeegaanyi okukkiriza kwe. Oyo eyali amubuuza ebibuuzo yamubuuza obanga yali akkiririza mu Mujulirwa oyo. Mwannyinaffe yaddamu nti, “Oyo muntu buntu atatuukiridde.” Yagattako nti olw’okuba abadde akolera ku misingi gya Baibuli, Katonda abadde amukozesa. “Naye okuva ekiwandiiko kye bwe kiraga nti avudde ku misingi gya Baibuli, takyali mwannyinaze.” Mwannyinaffe oyo omwesigwa yakolera ku bigambo bino: “Temwesiganga balangira, newakubadde omwana w’omuntu, omutali buyambi bwonna.”—Zab. 146:3.
Okuba n’okumanya okutuufu okuli mu Kigambo kya Katonda era n’okukolera ku bulagirizi obukirimu kijja kutuyamba okwewala endowooza ez’obulimba eziyinza okutulemesa okugumiikiriza. (Bef. 4:13, 14; Beb. 6:19) N’olwekyo bwe tuba ab’okusalawo obulungi nga tugezesebwa, kitwetaagisa okweteekateeka obulungi, nga tufuba okusoma Baibuli era n’okwesomesa buli lunaku. (Beb. 4:12) Yee, kino kye kiseera okunyweza okukkiriza kwaffe n’okwongera ku kumanya kwe tulina. Ow’oluganda omu eyamala emyaka emingi ng’asibiddwa yekka mu kaduukulu yagamba nti: “Nkubiriza buli omu okukozesa obulungi emmere yonna ey’eby’omwoyo etuweebwa, okuva bwe kiri nti tetumanyi ngeri gy’ejja kutuyambamu mu biseera eby’omu maaso.” Mu butuufu, singa tusoma n’obwegendereza Ekigambo kya Katonda n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, omwoyo omutukuvu gujja ‘kutujjukiza’ ebintu bye tuyiga kati, bwe tunaatuuka mu mbeera enzibu.—Yok. 14:26.
Baakuumibwa nga Batiisibwatiisibwa
Labusake yagezaako okutiisatiisa Abayudaaya. Yagamba nti: “Nkwegayiridde, muwe emisingo mukama wange kabaka w’e Bwasuli, nange naakuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe ku bubwo bw’onooyinza okuziteekako abazeebagala. Kale onooyinza otya okukyusa amaaso g’omwami omu ku abo abasinga obuto ku baddu ba mukama wange?” (2 Bassek. 18:23, 24) Mu ndaba y’obuntu, Keezeekiya n’abantu be baali tebasobola kuwangula ggye ly’Abasuuli.
Ne leero, abo abatuyigganya bayinza okulabika ng’ab’amaanyi ennyo, naddala bwe baba nga bawagirwa gavumenti. Bwe kityo bwe kyali ku Banazi mu kiseera kya Ssematalo II. Baagezaako okutiisatiisa abaweereza ba Katonda. Ow’oluganda omu, eyasibibwa okumala emyaka mingi, oluvannyuma yannyonnyola engeri gye yatiisibwatiisibwangamu. Lumu, omusirikale yamubuuza nti: “Walabye engeri muganda wo gye yakubiddwamu amasasi? Ekyo kyakuyigirizza ki?” Ow’oluganda yamuddamu nti: “Nze ndi Mujulirwa wa Yakuwa era nja kusigala nga nkyali.” Omusirikale yagamba nti: “Kati nno ggwe oddako okukubibwa amasasi.” Wadde kyali kityo, muganda waffe yasigala nga munywevu era omulabe oyo yalekera awo okumutiisatiisa. Kiki ekyamuyamba okusigala nga munywevu wadde nga yatiisibwatiisibwa nnyo? Yagamba nti: “Obwesige bwange nnabussa mu Yakuwa.”—Nge. 18:10.
Bwe tussa obwesige bwaffe bwonna mu Yakuwa, tuba ng’abakutte engabo ennene esobola okutuyamba okuziyiza ekintu kyonna Sitaani ky’ayinza okukozesa okututuusaako akabi mu by’omwoyo. (Bef. 6:16) N’olwekyo, tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okunyweza okukkiriza kwaffe. (Luk. 17:5) Ate era twetaaga okukozesa obulungi ebintu byonna bye tufuna okuyitira mu muddu omwesigwa, kituyambe okunyweza okukkiriza kwaffe. Bwe tuba tutiisibwatiisibwa, okujjukira ebigambo Yakuwa bye yagamba nnabbi Ezeekyeri, eyalina okutwala obubaka eri abantu abaali abakakanyavu, kituzzaamu nnyo amaanyi. Yakuwa yamugamba nti: “Nkalubizza amaaso go awali amaaso gaabwe, n’ekyenyi kyo nkikalubizza awali ekyenyi kyabwe. Nfudde ekyenyi kyo ng’alimasi okukaluba okusinga ejjinja ery’embaalebaale.” (Ez. 3:8, 9) Bwe kiba kyetaagisa, Yakuwa asobola okutufuula abagumu ng’ejjinja nga bwe yakola ku Ezeekyeri.
Okuziyiza Ebikemo
Abalabe baffe bwe bakola kyonna kye basobola naye ne bigaana, bayinza okugezaako okukozesa ebirabo okwagala okutulemesa okukuuma obwesigwa bwaffe. Ekyo Labusake naye yakikola. Yagamba abantu b’omu Yerusaalemi nti: “Bw’atyo bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti Mutabagane nange mu[jj]e gye ndi . . . okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano n’omwenge, ensi ey’emigaati n’ensuku ez’emizabbibu, ensi ey’amafuta aga zeyituuni n’omubisi gw’enjuki, mube balamu muleme okufa.” (2 Bassek. 18:31, 32) Eky’okulya emigaati emirungi n’okunywa omwenge omusu kirina okuba nga kyali kisikiriza nnyo eri abo abaali bazingiziddwa mu kibuga!
Akakodyo kano lumu kaakozesebwa ku muminsani eyali asibiddwa. Baamugamba nti baali bagenda kumutwala mu “maka amalungi” agali mu “kifo ekirabika obulungi” abeere eyo okumala emyezi mukaaga nga bwe yeerowooza. Kyokka ow’oluganda oyo yanywerera ku misingi gy’Ekikristaayo n’agaana okwekkiriranya. Kiki ekyamuyamba okusigala nga munywevu? Oluvannyuma yagamba nti: “Nnafumiitirizanga nnyo ku ssuubi ly’Obwakabaka. . . . Okumanya okukwata ku bwakabaka bwa Katonda n’obutabaamu kubuusabuusa kwonna nti bujja kujja, byannyamba nnyo okusigala nga ndi munywevu.”
Obwakabaka bwa Katonda bwa ddala gye tuli? Ibulayimu, omutume Pawulo, ne Yesu kennyini baasobola okugumira okugezesebwa okw’amaanyi olw’okuba Obwakabaka bwali bwa ddala gye bali. (Baf. 3:13, 14; Beb. 11:8-10; 12:2) Bwe tweyongera okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe era ne tufumiitiriza ku mikisa egy’ekitalo gye bunaaleeta, naffe kijja kutuyamba obutekkiriranya olw’okwagala okufuna obuweerero obw’akaseera obuseera.—2 Kol. 4:16-18.
Yakuwa Tajja Kutwabulira
Wadde nga Labusake yakola kyonna ky’asobola okutiisatiisa Abayudaaya, Keezeekiya n’abantu be baateeka obwesige bwabwe bwonna mu Yakuwa. (2 Bassek. 19:15, 19; Is. 37:5-7) Yakuwa yaddamu okusaba kwabwe ng’asindika malayika eyatta abasajja abalwanyi 185,000 mu lusiisira lw’Abasuuli mu kiro kimu kyokka. Enkeera waalwo, Sennakeribu yaddayo mu kibuga kye, Nineeve, mu buswavu obw’ekitalo ng’asigazaawo abasajja abalwanyi batono nnyo.—2 Bassek. 19:35, 36.
Kyeyoleka bulungi nti Yakuwa teyayabulira abo abaamussaamu obwesige. Ne leero, ebyokulabirako bya baganda baffe ne bannyinnaffe abasigala nga beesigwa nga boolekagana n’okugezesebwa biraga nti Yakuwa tayinza kwabulira baweereza be. Eyo y’ensonga lwaki Kitaffe ow’omu ggulu atugamba nti: “Nze Mukama Katonda wo naakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya; nze naakuyambanga.”—Is. 41:13.
[Obugambo obuli wansi]
a “Labusake” kyali kitiibwa ekyaweebwanga omu ku bakungu mu bwakabaka bwa Bwasuli. Erinnya ly’omusajja oyo teryogerwako mu Baibuli.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 13]
Emirundi egisukka mu 30 mu Kigambo kye, Yakuwa kennyini agamba abaweereza be nti: ‘Temutya’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Obukodyo Labusake bwe yakozesa bufaanana butya obwo abalabe b’abantu ba Katonda bwe bakozesa leero?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Enkolagana ennungi ne Yakuwa etuyamba okukuuma obugolokofu bwaffe nga tugezesebwa