Ekitundu 1
Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?
1, 2. Kibuuzo ki abantu kye beebuuza ku Katonda, era lwaki?
EKISEERA kimu mu bulamu bwo, oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako: ‘Obanga ddala waliyo Katonda atufaako, lwaki akkirizza okubonaabona okungi bwe kutyo?’ Fenna fenna tulabye ku kubonaabona oba tumanyi omuntu abonaabona.
2 Mazima ddala, mu byafaayo byonna abantu bakoseddwa era ne balumwa emitima olw’entalo, obumenyi bw’amateeka, obukambwe, obutali bwenkanya, obwavu, obulwadde, era n’okufiirwa abaagalwa baabwe. Mu kyasa kyaffe kino ekya 20 kyokka, entalo zifiiriddemu abantu abasukka mu bukadde 100. Abalala bukadde na bukadde batuusiddwako ebisago oba bafiiriddwa amaka gaabwe n’ebyabwe. Eby’entiisa bingi nnyo ebibaddewo mu kiseera kyaffe, ebivuddemu ennaku ey’amaanyi, amaziga mangi, era n’omuwendo gw’abantu ogutabalika okuggweeramu ddala essuubi.
3, 4. Abantu bangi bawulira batya ku kuba nga Katonda akkirizza okubonaabona?
3 Abamu basunguwavu nnyo era nga bawulira nti Katonda bw’aba nga gyali, ddala tatufaako n’akamu. Oba bayinza n’okugamba nti Katonda taliiyo. Ng’ekyokulabirako, omusajja omu eyabonaabona olw’okuyigganyizibwa kw’eggwanga lye okwavaamu okuttibwa kwa mikwano gye n’ab’omu maka ge mu Ssematalo I yabuuza nti: “Katonda yali ludda wa mu kiseera we twali tumwetaagira?” Omulala, eyawona obutemu bw’aba Nazi we battira obukadde bw’abantu mu Ssematalo II, yali munakuwavu nnyo olw’okubonaabona kwe yalaba n’atuuka okugamba nti: “Singa wandisobodde okukomba ku mutima gwange, gwandikusse.”
4 Bwe kityo, abantu bangi tebategeera nsonga lwaki Katonda omulungi yandibadde akkiriza ebintu ebibi okubaawo. Babuuza obanga ddala atufaako era obanga ddala gyali. Era abasinga obungi ku bo balowooza nti okubonaabona kujja kubeerawo ebbanga lyonna ery’okubeerawo kw’omuntu.
Wabula nga kiragiddwa obulala, Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa bivudde mu Baibuli ey’Oluganda eya 1968 ne mu New World Translation of the Holy Scriptures, 1984 (NW).