Kya Bulijjo Omuntu Okwewulira bw’Ati?
OMWAMI omu eyali afiiriddwa yawandiika bw’ati: “Ng’omwana Omungereza, nnayigirizibwa obutooleka nneewulira zange mu bantu. Nzijukira taata wange eyali yawummula mu magye ng’aŋŋamba, nga bw’alumye n’emba nti, ‘Tokaaba!’ bwe waabangawo ekintu ekyali kindeetedde obulumi. Sijjukira oba nga maama alina omwana gwe yanywegerako oba gwe yagwako mu kifuba (twali abaana bana). Taata wange we yafiira, nnali mpeza emyaka 56. Nnalumwa nnyo. Kyokka, mu kusooka ssaakaaba.”
Mu bitundu ebimu, abantu booleka enneewulira zaabwe mu lujjudde. Ka babe nga basanyuse oba nga banyiize, abalala bamanya engeri gye beewuliramu. Ku luuyi olulala, mu bitundu ebimu eby’ensi, naddala mu bukiika kkono bwa Bulaaya ne mu Bungereza, abantu, okusingira ddala abasajja, bakubirizibwa obutooleka nneewulira zaabwe. Naye bw’oba ofiiriddwa omwagalwa wo, kiba kikyamu okwoleka ennaku yo? Kiki Baibuli ky’egamba?
Abo Abaakaaba Aboogerwako mu Baibuli
Baibuli yawandiikibwa Bebbulaniya abaali babeera e buvanjuba w’ennyanja Meditereniyani, era nga baali bantu abooleka enneewulira. Erimu ebyokulabirako bingi eby’abantu abaayoleka ennaku yaabwe mu lujjudde. Kabaka Dawudi yakungubaga olw’okufa kwa mutabani we Amunoni. Mu butuufu, ‘yakaaba nnyo nnyini.’ (2 Samwiri 13:28-39) Era Dawudi yanakuwala omwana we Abusaalomu ow’enkwe, eyali agezaako okwezza obwakabaka, bwe yafa. Baibuli etugamba bw’eti: “Awo [Dawudi] ne yeeraliikirira nnyo n’alinnya n’agenda mu nju eri ku wankaaki n’akaaba amaziga: awo ng’agenda n’ayogera bw’atyo nti Ai, mwana wange Abusaalomu, mwana wange, mwana wange Abusaalomu! Singa nkufiiridde, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!” (2 Samwiri 18:33) Dawudi yakungubaga nga taata omulala yenna bwe yandikungubaze. Mirundi emeka abazadde gye bawulidde nti be bandifudde mu kifo ky’abaana baabwe! Kirabika nga si kya bulijjo omwana okusooka muzadde we okufa.
Yesu yakola atya nga mukwano gwe Lazaalo afudde? Yakaaba amaziga ng’anaatera okutuuka ku ntaana ye. (Yokaana 11:30-38) Ne Malyamu Magudaleene yakaaba ng’ali kumpi n’entaana ya Yesu. (Yokaana 20:11-16) Kyo kituufu nti, Omukristaayo amanyi essuubi eriri mu Baibuli ery’okuzuukira takungubaga kisukkiridde ng’abantu abatamanyi Baibuli ky’eyogera ku mbeera y’abafu. Naye era, ng’omuntu alina enneewulira, Omukristaayo ow’amazima, alina n’essuubi ery’okuzuukira, anakuwala era n’akungubaga ng’afiiriddwa omwagalwa we.—1 Abasessalonika 4:13, 14.
Okukaaba oba Obutakaaba
Ffe tweyisa tutya nga tufiiriddwa? Muli tuwulira nga tuzibuwalirwa oba nga tuswala okwoleka engeri gye twewuliramu? Kiki abawi b’amagezi kye bagamba? Emirundi egisinga, amagezi ge bawa, Baibuli eba yagawa dda. Bagamba nti tusaanidde okwoleka enneewulira zaffe so si okuzizibiikiriza. Kino kitujjukiza abasajja ab’edda abeesigwa, nga Yobu, Dawudi, ne Yeremiya, abalagibwa mu Baibuli nga booleka ennaku yaabwe. Awatali kubuusabuusa, tebaakweka ngeri gye baali beewuliramu. N’olwekyo, tekiba kya magezi okweyawula ku balala. (Engero 18:1) Kya lwatu, mu nsi nnyingi abantu bakungubaga mu ngeri za njawulo, era ng’oluusi n’enzikiriza zaabwe zirina kye zikola ku ngeri gye bakungubagamu.a
Kiba kitya singa owulira nti oyagala kukaaba? Kya mu butonde omuntu okukaaba. Era, jjukira nti Lazaalo bwe yafa, ne Yesu ‘yasinda mu mwoyo n’akaaba amaziga.’ (Yokaana 11:33, 35) N’olwekyo, yakiraga nti kya bulijjo omuntu okukaaba ng’afiiriddwa omwagalwa we.
Kya bulijjo okunakuwala n’okukaaba ng’omwagalwa afudde
Obutuufu bw’ensonga eno bulagibwa mu ekyo ekyaliwo ku maama omu ayitibwa Anne, eyafiirwa omwana we Rachel ekibwatukira. Bbaawe yagamba: “Ekyewuunyisa kiri nti, nze ne Anne tetwakaaba nga tufiiriddwa. Abantu abalala bonna baakaaba.” Anne yayongerezaako: “Ekyo kituufu, naye amaziga ge nkaabye ga bantu babiri. Olumu bwe nnali nzekka mu nju oluvannyuma lwa wiiki ntono nga tumaze okufiirwa, nnawulira obulumi obw’amaanyi. Nnakaaba olunaku lulamba. Naye, nsuubira nti kyannyamba kubanga oluvannyuma nnawulira bulungi. Nnalina okukungubagira omwana wange. Mazima ddala abantu abanakuwadde musaanye okubaleka ne bakaaba. Wadde nga kya bulijjo abantu okugamba nti ‘Tokaaba,’ naye ekyo tekiyamba.”
Engeri Abamu gye Beeyisaamu
Abamu beeyisizza batya nga bakungubaga olw’okufa kw’omwagalwa waabwe? Lowooza ku kyokulabirako kya Juanita. Amanyi bulungi engeri omuntu gy’aba awuliramu ng’afiiriddwa omwana omuwere. Yafuna embuto ttaano naye nga zonna zivaamu. Oluvannyuma yafuna olubuto olulala. Bwe yaweebwa ekitanda oluvannyuma lw’okufuna akabenje k’emmotoka, yali mweraliikirivu nnyo. Oluvannyuma lwa wiiki bbiri yafuna ebissa, kyokka ng’olubuto lukyali luto. Oluvannyuma lw’akaseera katono, yazaala akaana akawala ke yayita Vanesa, nga tekaweza wadde kilo emu. Juanita agamba: “Nnasanyuka nnyo, kubanga kati nnali nfuuse maama!”
Naye, essanyu lye lyamala akaseera katono. Oluvannyuma lw’ennaku nnya Vanessa yafa. Juanita agamba: “Nnalumwa nnyo. Nnali sikyali maama. Nnawulira nga nnina ekimbulako. Kyali kya bulumi nnyo okudda eka mu kisenge kye twali tutegekedde Vanessa n’okutunuulira obugoye bwe nnali mugulidde. Mu myezi egyaddako, nnakubanga akafaananyi k’olunaku lwe nnamuzaalirako. Nnali ssaagala kwesembereza muntu yenna.”
Yanakuwala ekisukkiridde? Abamu bayinza okuzibuwalirwa okukitegeera, naye abo abayiseeko mu mbeera ng’eya Juanita bagamba nti baanakuwalira omwana waabwe omuwere nga bwe bandinakuwalidde omuntu akuze. Kigambibwa nti, ng’ekyabula ekiseera omwana azaalibwe, bazadde be baba bamwagala nnyo. Wabeerawo omukwano ogw’amaanyi wakati wa maama n’omwana. Omwana oyo bw’afa, maama awulira nti afiiriddwa omuntu yennyini. Era ekyo abalala kye balina okutegeera.
Engeri Obusungu n’Okulumirizibwa gye Biyinza Okukukwatako
Maama omulala yayoleka enneewulira ye bwe baamugamba nti mutabani we ow’emyaka omukaaga yali afudde mbagirawo olw’obulwadde bw’omutima. Agamba: “Nnasannyalala, saakikkiriza, nnalumirizibwa, era nnasunguwalira omwami wange n’omusawo olw’obutamanya nti obulwadde bwali bwa maanyi.”
Akabonero akalala akooleka ennaku kwe kuwulira obusungu. Omuntu ayinza okusunguwalira abasawo ng’alowooza nti bandibadde bakola ekisingawo mu kujjanjaba omugenzi. Oba ayinza okusunguwalira ab’emikwano n’ab’eŋŋanda abayinza okulabika ng’aboogera oba abakola ebintu ebikyamu. Abamu basunguwalira omuntu aba afudde olw’okulagajjalira obulamu bwe. Stella agamba bw’ati: “Nzijukira nga nnanyiigira omwami wange olw’okuba nnali nkimanyi nti yali asobola okuwona. Yali mulwadde nnyo, kyokka n’atassa mu nkola amagezi agaali gamuweereddwa abasawo.” Oluusi, omufu ayinza okunyiigirwa olw’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bw’aba alekedde abasigaddewo.
Abamu balumirizibwa olw’okuwulira obusungu—bayinza okwesalira omusango olw’okuba bawulira nti basunguwavu. Abalala bawulira nti be baviiriddeko okufa kw’omwagalwa waabwe. Bayinza okugamba: “Teyandifudde, singa nnali mututte mangu ew’omusawo,” oba “singa nnali mututte ew’omusawo omulala,” oba “singa nnali mukubirizza okufaayo ku bulamu bwe mu ngeri esingawo.”
Kiba kya nnaku nnyo okufiirwa omwana—abazadde bwe basaasirwa mu bwesimbu kibayamba nnyo
Abalala balumirizibwa mu ngeri esingawo, naddala singa omwagalwa waabwe aba afudde mbagirawo oba nga tekisuubirwa. Batandika okujjukira ebiseera lwe baanyiigira oyo aba afudde oba lwe baafuna obutategeeragana naye. Oba bayinza okuwulira nti oyo aba afudde bandimuyisizza mu ngeri esingawo obulungi.
Ekiseera ekiwanvu bamaama bangi kye bamala nga banakuwadde olw’okufa kw’omwana waabwe kiraga obutuufu bw’ekyo bakakensa bangi kye bagamba. Bagamba nti, okufa kw’omwana kuleka eddibu ery’amaanyi mu bulamu bw’abazadde, naddala maama.
Munno mu Bufumbo bw’Afa
Kiba kikangabwa kya maanyi nnyo bw’ofiirwa munno mu bufumbo naddala singa mwembi muba mubadde mukolagana bulungi. Era ebintu, gamba, ng’okutambulirako awamu, okukolera awamu emirimu, okusanyukirako awamu, n’okukolaganira awamu biba bikomye.
Eunice annyonnyola ekyaliwo omwami we bwe yafa embagirawo obulwadde bw’omutima. “Mu wiiki eyasooka nnawunga ng’ebitundu byange eby’omubiri biri ng’ebiffudde. Nnali sisobola kulega oba okuwunyiriza. Kyokka, nnali ntegeera naye ng’ebintu ebimu sibikwataganya bulungi. Olw’okuba nnali n’omwami wange ng’abasawo bagezaako okumujjanjaba, saafuna kubuusabuusa kwonna bwe yafa. Wadde kyali kityo, nnawulira nga nsobeddwa. Nnali ng’atunuulira emmotoka eri ku kagulungujjo ng’egenda kugwa mu lukonko oluwanvu, naye nga sirina kye nnyinza kukolawo.”
Yakaaba? Addamu bw’ati: “Nnakaaba, naddala bwe nnali nsoma ebikumi n’ebikumi bya kaadi ze nnafuna ezaalimu ebigambo ebibudaabuda. Buli kaadi gye nnasomanga nga nkaaba. Ekyo kyannyambanga okuyita mu lunaku. Naye, okumbuza enfunda n’enfunda engeri gye nnali nneewuliramu tekirina kye kyannyamba. Kya lwatu, nnali munakuwavu nnyo.”
Kiki ekyayamba Eunice okuyita mu mbeera eyo ey’ennaku? Agamba bw’ati: “Mpolampola, nnasalawo okugenda mu maaso n’obulamu bwange. Kyokka, ekikyannuma kwe kuba nti omwami wange eyali ayagala ennyo obulamu takyaliwo kubweyagaliramu.”
“Tokkiriza Balala Kukusalirawo . . . ”
Abawandiisi b’ekitabo ekiyitibwa Leavetaking—When and How to Say Goodbye bagamba: “Tokkiriza balala kukusalirawo ngeri gy’olina kweyisaamu. Buli muntu anakuwala mu ngeri ya njawulo. Abalala bayinza okukutegeeza nti onakuwadde ekisukkiridde, oba nti tonakuwadde kimala. Basonyiwe era ebyo obyerabire. Okugezaako okweyisa, oba okukola ng’abalala bwe baagala, kikuviirako okulwawo okutereera mu birowoozo.”
Kya lwatu, abantu banakuwala mu ngeri ya njawulo. Tetugezaako kugamba nti engeri emu y’esinga endala. Kyokka, wayinza okubaawo akabi singa omuntu alemererwa okugumira embeera gy’alimu. Mu mbeera ng’eyo, kiyinza okwetaagisa mikwano gye okumuyamba. Baibuli egamba: “Ow’omukwano ayagala mu biro byonna, era ow’oluganda yazaalirwa obuyinike.” N’olw’ekyo, totya kunoonya buyambi, kwogera, n’okukaaba.—Engero 17:17.
Kya bulijjo okunakuwala ng’ofiiriddwa omwagalwa wo, era si kikyamu abalala okukulaba ng’oli munakuwavu. Naye ebibuuzo ebirala byetaaga okuddibwamu: ‘Nnyinza ntya okugumira ennaku yange? Kya bulijjo okulumirizibwa oba okuwulira obusungu? Nnyinza kukola ntya nga nnina enneewulira nga zino? Kiki ekiyinza okunnyamba okugumira okufiirwa n’ennaku?’ Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo n’ebirala.
a Ng’ekyokulabirako, Abayoruba abasangibwa mu Nigeria bakkiriza nti omuntu bw’afa abbulukukira mu muntu omulala. N’olw’ensonga eyo, maama bw’afiirwa omwana we, wabaawo okunakuwala okw’amaanyi naye nga kutwala akaseera katono; anti enjogera yaabwe egamba nti: “Amazzi ge gaba gayiise. Endeku eba teyatise.” Okusinziira ku Bayoruba, kino kitegeeza nti, endeku ebaamu amazzi ye maama, era nti asobola okuzaala omwana omulala—oboolyawo nga mu oyo mwe mujja okubbulukukira oli afudde. Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiririza mu kalombolombo konna akeesigamiziddwa ku ndowooza enkyamu ezigamba nti omuntu bw’afa wabaawo ekiwonawo oba nti abbulukukira mu bulamu obulala. Era endowooza zino tezeesigamiziddwa ku Baibuli.—Omubuulizi 9:5, 10; Ezeekyeri 18:4, 20.