Manya Engeri gy’Osaanidde Okuddamu Ebibuuzo
EBIBUUZO ebimu bisobola okufaananyizibwa ku nvubu eri mu mazzi. Bw’eba ng’eri mu mazzi, ekitundu kyayo ekisinga obunene kiba tekirabika. Emirundi mingi ensonga yennyini ereetera omuntu okubuuza ekibuuzo eba nkulu okusinga ekibuuzo kyennyini ekiba kibuuziddwa.
Ne bwe kiba nti oyo abuuzizza ekibuuzo ayagala omuddemu amangu ago, kikwetaagisa okumanya by’osaanidde okwogera n’engeri y’okubyogeramu. (Yok. 16:12) Emirundi egimu, nga Yesu bwe yakyoleka eri abatume be, omuntu ayinza okwagala okumanya ebintu by’atateekeddwa kumanya, oba ebitajja kumuganyula.—Bik. 1:6, 7.
Ebyawandiikibwa bitukubiriza: ‘Ebigambo byammwe bibeerenga n’ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanyenga engeri gye musaana okwanukulanga buli muntu.’ (Bak. 4:6) N’olwekyo, nga tetunnaddamu kibuuzo, tulina okusooka okumanya eky’okuddamu n’engeri y’okukiddamu.
Fuba Okumanya Endowooza y’Oyo Akubuuzizza
Abasaddukaayo baali baagezaako okusuula Yesu mu katego, bwe bamubuuza ekibuuzo ekikwata ku kuzuukira kw’omukazi eyali afumbiddwa emirundi egiwerako. Kyokka, Yesu yali akimanyi nti baali tebakkiririza mu kuzuukira. N’olwekyo, yaddamu ekibuuzo kyabwe ng’ayanika endowooza enkyamu eyali abaleetedde okubuuza ekibuuzo ekyo. Ng’abannyonnyola mu ngeri ey’amagezi era ng’akozesa ebyawandiikibwa bye baali bamanyi obulungi, yabategeeza ekintu kye baali batalowoozangako, kwe kugamba, yabawa obukakafu obulaga nti Katonda ajja kuzuukiza abafu. Bye yaddamu byewuunyisa nnyo abantu abo abaali bamuwakanya ne kiba nti baatya n’okumubuuza ekibuuzo ekirala.—Luk. 20:27-40.
Mu ngeri y’emu, okusobola okumanya engeri y’okuddamu omuntu akubuuzizza ekibuuzo, olina okutegeera endowooza ye era n’ekimuli ku mutima. Ng’ekyokulabirako, muyizi munno oba mukozi munno ayinza okukubuuza lwaki tokuza Ssekukkulu. Lwaki abuuzizza ekibuuzo ekyo? Ddala ayagala kumanya nsonga lwaki tokuza Ssekukkulu, oba ayagala bwagazi kumanya obanga okkirizibwa okusanyukako? Okusobola okumanya ekituufu, kiyinza okukwetaagisa okusooka okumubuuza ensonga emubuuzisizza ekibuuzo ekyo. Awo n’olyoka omuddamu ng’osinziira ku ekyo ky’akuzzeemu. Era oyinza n’okukozesa akakisa ako okumulaga nti okugoberera obulagirizi bwa Baibuli kutuwonya okukuza ennaku ezireetedde abantu okukaluubirizibwa era ezibafuukidde omugugu.
Ka tugambe nti osabiddwa okwogera eri bayizi banno ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma lw’okwogera nabo, bayinza okukubuuza ebibuuzo. Singa ebibuuzo byabwe biba bya bwesimbu, biddemu mu ngeri ennyangu era ng’otuuka ku nsonga. Ebibuuzo bwe biba byoleka engeri gye batutunuuliramu obubi mu kitundu, oyinza okusooka okwogera ku ekyo ekiviirako abantu okuba n’endowooza ng’ezo era n’ensonga lwaki Abajulirwa ba Yakuwa balondawo okugoberera emitindo gya Baibuli. Emirundi mingi, kiba kirungi okutunuulira ebibuuzo ebyo ng’ebyoleka ensonga ezibali ku mutima, so si ng’ebibuuziddwa olw’okukuwakanya obuwakanyi, wadde nga bayinza okubikubuuza mu ngeri esoomooza. N’olwekyo, ng’oddamu, ofuna akakisa okutereeza endowooza y’abakuwuliriza, okubabuulira ekituufu ekitukwatako, era n’okubalaga Ebyawandiikibwa enzikiriza zaffe kwe zeesigamiziddwa.
Onooyogera otya ne mukama wo atayagala kukuwa lukusa kubeerawo mu lukuŋŋaana olunene? Okusooka, gezaako okutunuulira ensonga mu ngeri ye gy’agitunuuliramu. Kinaayamba singa omugamba nti oli mwetegefu okusasula ebiseera ebyo by’otoobeerewo? Kinaaba kya muganyulo singa omunnyonnyola nti bye tuyigirizibwa mu nkuŋŋaana ezo bituyamba okubeera abakozi abeesigwa? Singa okiraga nti ofaayo ku ebyo ye by’atwala nti bikulu, oboolyawo naye ajja kufaayo ku ekyo ky’omutegeeza nti kikulu nnyo mu bulamu bwo. Naye kiba kitya singa aba ayagala okole ekintu ekikyamu? Mutegeeze kaati nti tosobola kukikola era omunnyonnyole n’ensonga lwaki, nga weeyambisa Ebyawandiikibwa. Kiyinza n’okuba eky’omuganyulo okumutegeeza nti omuntu omwetegefu okumulimbira oba okumubbira era aba asobola n’okumulimba oba okumubba.
Ku luuyi olulala, oyinza okuba ng’oli muyizi atayagala kwenyigira mu mikolo egikontana n’Ebyawandiikibwa egibeerawo ku ssomero. Kijjukire nti endowooza y’omusomesa wo yandiba ng’eyawukana ku yiyo ate nga buvunaanyizibwa bwe okulaba nti ebiragiro by’essomero bigobererwa. By’osaanidde okukola bye bino: (1) Okumulaga nti ofaayo ku ebyo by’ayagala, (2) okumunnyonnyola enzikiriza yo mu ngeri ey’ekitiibwa, era ne (3) okunywerera ku ekyo ky’omanyi nti kijja kusanyusa Yakuwa. Kiyinza n’okukwetaagisa okumunnyonnyola ekiwanvuko ku bikwata ku ebyo by’okkiriza. (Nge. 15:28) Bw’oba ng’okyali mwana muto, taata wo oba maama wo ajja kukuyamba okuteekateeka ky’onooyogera.
Oluusi kiyinza okukwetaagisa okusambajja ebikuvunaanibwa omuntu ali mu buyinza. Owa poliisi, omukungu mu gavumenti, oba omulamuzi ayinza okwagala okumanya lwaki togondera mateeka agamu, lwaki tolina ludda lw’owagira mu bya bufuzi, oba endowooza gy’olina ku mikolo egikubiriza mwoyo gwa ggwanga. Wandimuzzeemu otya? Okusinziira ku Baibuli, twandimuzzeemu ‘mu buwombeefu n’okutya.’ (1 Peet. 3:15) Ate era, weebuuze lwaki ensonga ezo bazitwala nga nkulu. Oluvannyuma kiki ekyandiddiridde? Omutume Pawulo yayogera ku ddembe lye yali alina okusinziira ku mateeka g’Abaruumi, era naawe oyinza okwogera ku ddembe ly’olina okusinziira ku mateeka agafuga ensi yo. (Bik. 22:25-29) Oboolyawo okutegeeza omukungu oyo ku ebyo ebyakolebwanga Abakristaayo abaasooka era n’ebyo ebikolebwa Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi, kiyinza okumuyamba okufuna ekifaananyi ekituufu. Oba oyinza okumutegeeza nti abantu bwe bamanya Katonda kibakubiriza okugondera amateeka. (Bar. 13:1-14) Bw’onoomutegeeza ebyo, ayinza okukkiriza ensonga z’omuwa okuva mu Byawandiikibwa ng’omunnyonnyola ennyimirira yo.
Endowooza Oyo Akubuuzizza gy’Alina ku Byawandiikibwa
Nga tonnaddamu kibuuzo, kiyinza okukwetaagisa okusooka okumanya endowooza oyo akubuuzizza gy’alina ku Byawandiikibwa Ebitukuvu. Ekyo kyennyini Yesu kye yakola bwe yali ng’addamu ekibuuzo ky’Abasaddukaayo ekikwata ku kuzuukira. Ng’akimanyi nti baali bakkiririza mu bitabo ebyo byokka Musa bye yawandiika, Yesu yabannyonnyola ng’asinziira ku ebyo ebiri mu Bitabo ebyo Ebitaano Ebisooka, era n’abagamba: “Okumanya ng’abafu bazuukira, ne Musa yakiraga.” (Luk. 20:37) Mu ngeri y’emu, kiyinza okuba eky’omuganyulo singa ojuliza ebimu ku byawandiikibwa oyo akuwuliriza by’akkiririzaamu era by’amanyi obulungi.
Kiba kitya singa akuwuliriza Baibuli tagitwala ng’ekintu ekikulu? Weetegereze engeri omutume Pawulo gye yayogeramu ng’ali mu Aleyopaago, nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 17:22-31. Yategeeza abamuwuliriza amazima g’omu Byawandiikibwa nga tajulizza Baibuli butereevu. Bwe kiba kyetaagisa, naawe oyinza okukola bw’otyo. Mu bitundu ebimu kiyinza okukwetaagisa okusooka okukubaganya ebirowoozo n’omuntu emirundi egiwerako nga tonnajuliza butereevu mu Baibuli. Bw’omutwala mu Baibuli, kiyinza okuba eky’amagezi okusooka okumulaga ensonga lwaki kirungi okugisoma mu kifo ky’okusooka okumugamba obugambi nti Kigambo kya Katonda. Ekiruubirirwa kyo kwe kuwa omuntu oyo obujulirwa obukwata ku kigendererwa kya Katonda, ate oluvannyuma omulage Baibuli ky’egamba. Baibuli esobola okukubiriza omuntu okubaako ky’akolawo okusinga ekintu kyonna kye tuyinza okwogera.—Beb. 4:12.
‘Bibeerenga bya Kisa’
Nga kituukirawo nnyo abaweereza ba Yakuwa, Katonda ow’ekisa, okugambibwa nti ebigambo byabwe ‘bibeerenga bya kisa ennaku zonna era nga binoze omunnyo’! (Bak. 4:6; Kuv. 34:6) Kino kitegeeza nti tusaanidde okwogera mu ngeri ey’ekisa ne bwe kiba nti oyo gwe twogera naye tagwanidde kulagibwa kisa. Twandyogedde mu ngeri ennungi, etali ya bukambwe era nga twegendereza.
Abantu bangi banyigirizibwa nnyo, era bavumibwa buli lunaku. Bwe tutuukirira abantu ng’abo, bayinza okwogera mu ngeri ey’obukambwe. Twandibazzeemu tutya? Baibuli egamba: “Okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.” Okuddamu mu ngeri ng’eyo, kisobola okukkakkanya omuntu alina endowooza eyawukana ku yaffe. (Nge. 15:1; 25:15) Abantu abatera okuyisibwa obubi bayinza okuwuliriza amawulire amalungi ge tubatwalira singa twogera nabo mu ngeri ey’ekisa.
Tetwagala kuwakana n’abo abataagala mazima. Wabula, kye twagala kwe kukubaganya ebirowoozo ku Byawandiikibwa n’abantu abasiima obubaka bwaffe. K’ebeere mbeera ki gye twolekagana nayo, tulina okuddamu abantu mu ngeri ey’ekisa, era nga tubalaga nti tuli bakakafu nti ebisuubizo bya Katonda byesigika.—1 Bas. 1:5.
Bye Tusalawo Kinnoomu era n’Ensonga Ezikwata ku Muntu ow’Omunda
Singa omuyizi wa Baibuli oba mukkiriza munno akubuuza ky’asaanidde okukola mu mbeera emu, wandimuzzeemu otya? Ggwe oyinza okumanya kye wandikoze. Naye buli muntu alina okwettika obuvunaanyizibwa obw’okwesalirawo. (Bag. 6:5) Omutume Pawulo yakubiriza abantu be yabuulira okuba ‘abawulize olw’okukkiriza.’ (Bar. 16:26) Ekyo kyakulabirako kirungi eky’okugoberera. Omuntu asalawo ekintu kyonna ng’ayagala kusanyusa busanyusa oyo amuyigiriza Baibuli oba omuntu omulala yenna, aba aweereza bantu, era taba na kukkiriza. (Bag. 1:10) N’olwekyo, okuddamu obutereevu omuntu oyo ng’omutegeeza ky’asaanidde okukola kiyinza obutamuganyula.
Kati olwo wandimuzzeemu otya mu ngeri etuukagana n’obulagirizi bwa Baibuli? Oyinza okumutegeeza emisingi n’ebyokulabirako ebituukirawo okuva mu Baibuli. Mu mbeera ezimu, oyinza n’okumulaga engeri y’okunoonyerezaamu asobole okwezuulira emisingi n’ebyokulabirako ebyo. Muyinza n’okukubaganya ebirowoozo ku misingi egyo n’omugaso gw’ebyokulabirako bye muzudde naye nga tobikwataganya na ky’abuuzizza. Mubuuze obanga mu byo alabamu ekiyinza okumuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Mukubirize okulowooza ku misingi egyo n’ebyokulabirako ebyo asobole okusalawo ekyo ekinaasanyusa Yakuwa. Mu ngeri eyo, oba ‘omutendeka okwawulangawo ekituufu n’ekikyamu.’—Beb. 5:14.
Okuddamu Ebibuuzo mu Nkuŋŋaana z’Ekibiina
Emirundi mingi, enkuŋŋaana z’ekibiina Ekikristaayo zituwa omukisa okwoleka okukkiriza kwaffe mu lujudde. Engeri emu gye tukikolamu kwe kuddamu ebibuuzo. Twandizzeemu tutya? Nga tugulumiza Yakuwa oba nga tumwogerako ebirungi. Ekyo Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli kye yakola ‘ng’ali mu bibiina by’abantu.’ (Zab. 26:12) Ate era tulina okuddamu ebibuuzo mu ngeri ezzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi, nga tubakubiriza ‘okulaga okwagala n’ebikolwa ebirungi,’ ng’omutume Pawulo bwe yatukubiriza. (Beb. 10:23-25) Okutegeka nga bukyali, kijja kutuyamba okutuukiriza kino.
Bwe bakulonda okuddamu, ddamu mu bimpimpi era mu ngeri etegeerekeka obulungi. Toddamu byonna ebiri mu katundu, wabula nokolayo ensonga emu. Bw’oyogera ensonga emu, kijja kuwa abalala akakisa okwogera ku nsonga endala. Naddala, kya muganyulo okwogera ku byawandiikibwa ebijuliziddwa mu katundu. Bw’oba oyogera ku byawandiikibwa ebyo, n’okolamu ensonga ekwatagana n’ekyo ekiba kyogerwako. Yiga okuddamu mu bigambo byo mu kifo ky’okusoma obusomi obutereevu okuva mu katundu. Toggwaamu maanyi singa ky’oba ozzeemu tekiggyayo bulungi nsonga. Ekyo kitera okutuuka ku buli muntu.
Kya lwatu nti okumanya engeri gye tusaanidde okuddamu tekikoma ku kumanya bumanya kya kuddamu. Kyetaagisa okukozesa amagezi. Naye nga kizzaamu nnyo amaanyi by’oddamu bwe biba biviira ddala ku mutima era ne bituuka ku mitima gy’abalala!—Nge. 15:23.