OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Engeri y’Okuddamu Obulungi mu Nkuŋŋaana
Bwe tuwulira eby’okuddamu ebirungi nga tuli mu nkuŋŋaana, tuzimbibwa mu by’omwoyo. (Bar 14:19) N’oyo aba azzeemu obulungi naye aganyulwa. (Nge 15:23, 28) N’olwekyo, tusaanidde okufuba okuddamu waakiri omulundi gumu mu buli lukuŋŋaana. Olw’okuba tuyinza obutalondebwa buli lwe tuwanika omukono, kiba kirungi okutegeka eby’okuddamu ebiwerako.
Eky’okuddamu kiba kirungi . . .
nga kiri mu bigambo bitonotono era nga kyangu okutegeera. Emirundi egisinga kiyinza okuba kya butikitiki 30 oba obutawera
ng’oyo addamu tasoma kisome mu katabo
ng’oyo addamu tayogera ku ebyo abalala bye bamaze okwogerako
Bw’oba nga ggwe asoose okulondebwa . . .
ddamu butereevu ekibuuzo ekibuuziddwa
Ekibuuzo bwe kiba nga kiddiddwamu, oyinza . . .
okulaga engeri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa gye kikwatagana n’ensonga eyogerwako
okulaga engeri esonga eyogerako gy’etukwakako
okunnyonnyola engeri gye tusobola okukolera ku ekyo kye tuyize
okuwaayo ekyokulabirako ekimpimpi ekikwatagana n’ensonga enkulu