LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 9/09 lup. 1
  • Onoddamu Otya?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Onoddamu Otya?
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Similar Material
  • Manya Engeri gy’Osaanidde Okuddamu Ebibuuzo
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Koppa Omuyigiriza Omukulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Okukozesa Obulungi Ebibuuzo
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukozesa Obulungi Ebibuuzo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 9/09 lup. 1

Onoddamu Otya?

1. Lwaki twandikoppye ekyokulabirako kya Yesu nga tubuuziddwa ebibuuzo?

1 N’okutuusa leero, abantu bakyewuunya engeri Yesu gye yaddangamu obulungi ebibuuzo. Bwe tuba tubuuziddwa ebibuuzo nga tuli mu buweereza, kiba kirungi ne tukoppa ekyokulabirako kya Yesu.​—1 Peet. 2:21.

2. Kiki ekiyinza okutuyamba okuddamu obulungi ekibuuzo ekiba kitubuuziddwa?

2 Sooka Owulirize Bulungi: Yesu yafangayo okutegeera endowooza y’oyo eyabanga amubuuzizza ekibuuzo. Oluusi okusobola okutegeera obulungi endowooza y’omuntu kiba kyetaagisa okumubuuza ebibuuzo. Omuntu bw’akubuuza nti, “Okkiririza mu Yesu?” ayinza okuba yeebuuza ensonga lwaki tokuza Ssekukkulu. Singa otegeera ekiviiriddeko omuntu okukubuuza ekibuuzo, kijja kukusobozesa okumuddamu obulungi.​—Luk. 10:25-37.

3. Biki ebiyinza okutuyamba okufuna eby’okuddamu ebimatiza okuva Baibuli?

3 Kozesa Ekigambo kya Katonda: Bulijjo kiba kirungi okukozesa Baibuli nga tuddamu ebibuuzo. (2 Tim. 3:16, 17; Beb. 4:12) Akatabo Reasoning n’ekitundu ekiri mu Baibuli y’Enkyusa ey’Ensi Empya ekirina omutwe “Eby’Okukubaganyaako Ebirowoozo mu Baibuli,” biyambye ababuulizi okuddamu obulungi ebibuuzo. Ne bwe kiba nti akubuuzizza ekibuuzo takkiririza mu Baibuli, mu ngeri ey’amagezi oyinza okumulaga ekyo Baibuli ky’eyigiriza. Mukubirize okulowooza ennyo ku magezi ageesigika agali mu Baibuli. Bw’onookoppa Yesu, ebyo by’onoddamu bijja kuba “ng’amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza”​—nga bya kitiibwa, birungi, era nga bya muwendo.​—Nge. 25:11.

4. Ddi lwe tutasaanidde kuddamu buli kibuuzo?

4 Twandizzeemu Buli Kibuuzo? Bw’oba tomanyi kya kuddamu mu kibuuzo ekiba kikubuuziddwa, tokwatibwa nsonyi kugamba nti: “Sikimanyi, naye nja kukinoonyerezaako era nkomewo nkubuulire kye naaba nzudde.” Obuwombeefu obw’engeri eyo era n’okufaayo kw’oba omulaze biyinza okumuleetera okukukkiriza okomewo omulundi omulala. Singa okizuula nti abo abakubuuzizza ekibuuzo baagala kukuba bukubi mpaka, oyinza obutabaddamu nga Yesu bwe yakola. (Luk. 20:1-8) Mu ngeri y’emu, singa omuntu alaga nti tayagala mazima ng’awakana buwakanyi, oyinza okukomya emboozi mu bukkakkamu era n’okozesa ebiseera ebyo okunoonya abantu abeesimbu.​—Mat. 7:6.

5. Yesu yatuteerawo kyakulabirako ki mu kuddamu ebibuuzo by’abantu?

5 Yesu yali akimanyi nti kikulu nnyo okwesiga Yakuwa okusobola okutuukiriza obulungi omulimu gwe ‘ogw’okuteegeza abantu amazima’ ogwali guzingiramu okuddamu ebibuuzo by’abo abeesimbu. (Yok. 18:37) Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okukoppa ekyokulabirako kya Yesu nga tuddamu ebibuuzo by’abo “abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo”!​—Bik. 13:48.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share